BAZUUKULU BA BUGANDA RADIO INTERNET.COM 88.8/89.2
AKULIRA ekitongole ky’ebyettaka mu bwakabaka ekya Buganda Land Board (BLB):
Kyewalabye Male, alabudde abaami ba Kabaka abagenda okwenyigira mu kuwandiisa ebibanja by’abasenze ku ttaka ly’Obwakabaka beewale obukumpanya n’emivuyo kuba bayinza okusibwa.
Yagambye nti wadde ng’enteekateeka eno egenderedde kuyamba bantu ba Ssaabasajja kufuna biwandiiko ebituufu mu mateeka ku bibajnja byabwe, wandibaawo bannakigwanyizi abayinza okukozesa omukisa guno okwenoonyeza ebyabwe.
Bino Male, eyabadde n’abakozi ba BLB ne katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Lubega Mutunzi, yabyogedde mu kuggalawo omusomo ogwetabiddwaamu Abaamagombolola, Abeemiruka n’Abatongole mu ssaza ly’e Kyaggwe ku mbuga ya Ssekiboobo e Mukono ogwategekeddwa okubabangula ku nkola gye bagenda okugoberera nga basomesa n’okuwandiisa abasenze ku ttaka ly’Obwakabaka. Enteekateeka eno yatandika nga May 4, 2015.
Ssekiboobo Benjamin Kigongo yagambye nti ebibanja ebitalambuddwa si bya kuwandiikibwa olw’okwewala enkaayana. Nb
Ekizibu ky'abaami ba Ssabasajja kyelaga kyoka. Baddidde abobuyinza babiri babateese mu kalo ka Buganda akedda. Ebyawandiikibwa bitugamba ki? Toyinza kuwuliriza bakama bo babiri. Oleka ko omu okumuwulira nowulira omulala. Tugambe ki? Mufumbiro bwemufumbiramu abafumbiro abangi Mmere kiki eyo evayo?
Genda mukalo kafe wano e Buganda. Owe Gombolola atuuka okubuuza ettaka lye kitebe kye werikoma. Bamugamba kimu. LC 1 yaliteekako ba Investor abava e Buyindi. Ate ekubo elyaffe eryedda elyayita wano ku Saza lya Kangawo. Olwo Kangawo abuuza: Bamugamba kimu. Disi yasibawo Sengenge ensonga zino ziri mu National Land Board. Okunsiba Sebo Mwami tekulimu. Tonda bwatakuuma abakuuma bakumira bwerere Jjajja. Kugwa mubunya bwewesimira nga olaba. Kitalo nyo.
Bazudde obulyazama
nyi bwe ttaka lya Buganda mu ofiisi ze Wakiso:
By Rogers Kibirige
Added 30th September 2016
Ying. Sabiiti (owookubiri ku ddyo) ne babaka banne nga baliko bye babuuza omukozi mu minisitule y’ebyetta e Wakiso (ku ddyo).
EMIVUYO egiri mu ofiisi ya minisitule y’ebyettaka esangibwa e Wakiso ku kitebe kya disitulikiti giwuniikirizza ababaka.
Ng’oggyeeko okuba ng’abakozi abamu tebasobola kunnyonnyola ngeri gye bakolamu emirimu, bangi mu ofiisi zaabwe bawunyamu mpunye. Batuuka kikeerezi ate bwe ziwera 6:00 ez’omu ttuntu ng’abamu bannyuka.
Bakozesa bboggo eri abatuuze ate abalala empapula zaabwe teziwera. Ono ye kacica muyite cculugu ababaka ba palamenti abaalambudde ofiisi za minisitule y’ebyettaka zino ku Lwokusatu gwe baasanzeeyo.
Ababaka abaakulembeddwa ssentebe w’akakiiko akalondola enkola y’emirimu aka (Physical infrastructure Committee) Ying. Denis Sabiiti (Rubanda) baategeezezza nti kyannaku okulaba ng’abakozi ba Minisitule ab’e Wakiso babonyabonya abantu ne babatambuzanga okubakolera ku nsonga z’ettaka kyokka bwe bamala ne babamma ebyapa.
Sabiiti yayongeddeko nti baazudde nti abakozi ba Minisitule balina obutakkaanya n’abakola mu ofiisi y’ebyettaka eya disitulikiti y’e Wakiso ekireetedde entambuza y’emirimu okuzingama.
Kwe kusaba minisitule n’abakulembeze ba disitulikiti okugonjoola ensonga eno mu bwangu.
Yayongeddeko nti n’abakozi abasangibwa mu kifo abantu we batuukira, engeri gye bakwatamu bakasitoma n’abagenyi eraga nti si batendeke kimala era beetaaga okuddamu okubangulwa mu bwangu.
Yategeezezza nti byonna bye baasanze e Wakiso, bagenda kubikolamu lipooti bagitwale mu palamenti y’eggwanga ekubaganyizibweko ebirowoozo.
Baalabudde nti ssinga minisitule y’ebyettaka tetereeza bizibu biri Wakiso, eggyibwewo kuba ebeera tegasa Bannayuganda.
Ye ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika yategeezezza nti ebbanga lyonna abadde yeemulugunya ku ngeri abakozi ba minisitule gye bakolamu emirimu nga teri avaayo.
Yasabye nti ababaka bye bazudde bireme kukoma mu lipooti, wabula abavunaanyizibwa ku mivuyo egiri mu minisitule ne ofiisi y’e Wakiso, bakolweko.
Nb
Abakozi bano batukiriza mulimu gwa Bible ogwayogerwa ko Jjajja Isa Masiya 10/40 AD. E Buganda nakatono kolina nako kalikujjibwako nekaweebwa alina ekingi enyo.
EKIKA NJOVU.
OMUZIRO:NJOVU
AKABBIRO
NVUBU.
OMUTAKA
MUKALO
OBUTAKA
KAMBUGU
Buliji.
ESSAZA
BUSIRO
OMUBALA
Esimbye amasanga, Nakate ajja.
EKIKA MBWA
OMUZIRO:MBWA
AKABBIRO
Kyuuma kye basiba mu Mbwa.
OMUTAKA
MUTASINGWA.
OBUTAKA
KIGGWA
ESSAZA
BUSUJJU.
OMUBALA
Goba Omukazi oleete Embwa.
African Traditional Revenue and Taxation:
Money in dollar bills seized from a home of the Commissioner General of the Tanzania Revenue Authority is pictured down: Over 20 bags of it:
OBULANGO
Oluguudo Lwa Kabaka Njagala, Mubweenyi
bw'enju ya Kisingiri ewa Musolooza.
Telephone::
Ssentebe - 256 712845736 Kla
Muwanika -256
712 810415 Kla
UGANDA.
Email Links:
info.bazzukulu
babuganda
@gmail.
com.
OMUZIRO:
NKEREBWE
AKABBIRO
Kikirikisi-Mmese etera okuzimba mu kitooke.
OMUTAKA
KIDIMBO.
OBUTAKA
BUDIMBO.
ESSAZA
SSINGO
OMUBALA:
Nkerebwe nkulu esima nga eggalira
Olukiiko lwa Buganda lwanjudde embalirira ya buwumbi 7
Posted Friday, 27 May, 2016
By the Monitor, Uganda
Kabaka Mutebi (centre) with Mr Patrick Makumbi (right) and Dr Colin Sentongo (left) at the book launch at Bulange in Mengo, Kampala.
The book titled The Brave King, revisits the stories of Muteesa’s exiling, first between 1953 and 1955, and again from 1966 to 1969 when he died in London. The author, Mr Patrick Makumbi, drew from the documents preserved by his father, 99-year-old Thomas Makumbi, who was an official at Mengo, Buganda’s power capital.
“I was very happy to write the preface to this book,” Kabaka Mutebi said, adding: “It will help the readers understand what Kabaka Muteesa went through in those days.”
When Mutesa was exiled in 1953, the older Makumbi, the father of the author, led a team of six Buganda officials to negotiate with the British about the king’s return to Buganda, which was secured in 1955. The other members of the team were Mr Apollo Kironde, Mr Matayo Mugwanya, Mr Amos Sempa, Mr Eridadi Mulira and Mr Ernest Kalibbala.
Kabaka Mutebi, while officiating at the function, called on more people to document what they saw during those days, saying “it is a good thing” that some of those who witnessed or participated in the events are still alive. Muteesa himself wrote about the period in question in his autobiography, The Desecration of my Kingdom, and Kabaka Mutebi’s endorsement of Mr Makumbi’s new book will be seen as an extension of the kingdom’s bid to manage the narrative.
Mr Apollo Makubuya, Buganda’s third deputy Katikkiro, at the launch held at Bulange-Mengo said there have been attempts to misrepresent history by “those who do not like us”.
Accusations and counter accusations of betrayal between Buganda Kingdom and Obote are rooted in a rather happy start, when Buganda’s party Kabaka Yekka (KY) teamed up with Obote’s Uganda People’s Congress to defeat the Democratic Party and form government at independence in 1962.
But the two centres of power soon quarrelled violently and were involved in what many have regarded as a critical turning point in Uganda’s history. The army, on Obote’s orders, stormed Muteesa’s palace on May 24, 1966, killing multitudes and forcing the king-president into exile.
Mr Makubuya said his grandfather was among those killed during the attack, an occasion the kingdom commemorates yearly on May 24. He said in addition to explaining how Buganda and Muteesa suffered during that period, Mr Makumbi’s book will clarify a number of other issues, including how colonialism thwarted Buganda’s development efforts.
He said Buganda stiffly resisted colonialism and the demands of colonial governor Andrew Cohen in particular, to the extent of winning a court case in London against the exiling of Muteesa. In all its efforts, Mr Makubuya said, Buganda was consistently seeking autonomy, and that the kingdom can “never” lose sight of this objective.
Mr Makumbi, the author, said his father could not attend the launch due to old age.
The publication of the book was financed by Dr Colin Sentongo, who said at the launch that KY, which ceased to exist in the 1960s, is the only political party he has ever belonged to.
The fathers of Mr Makumbi and Dr Sentongo met with Muteesa as students at Kings College Budo, from where, Mr Sentongo said, the three men forged a life-long friendship. It is probably much for this reason that Kabaka Mutebi warmed up to Mr Sentongo and Mr Makumbi at the launch.
emukiibi@ug.
nationmedia.com
Fiscal Budget y'Ensi Buganda ebiro bino:
Posted 7th July, 2014
By Dickson Kulumba
Omuwanika wa Buganda, Eve Nagawa Mukasa
Omukyala Eve asomye embalirira y’Obwakabaka bwa Buganda eya 2014/2015 nga ya buwumbi 7 (7,411,638,600/-) .
Embalirira eno eri wansi w’omulamwa 'Okwolesebwa n’Ebigendererwa' egendereddwamu okutumbula enkulaakulana okuli; okumaliriza Amasiro g’e Kasubi ne Wamala, Masengere, okulongoosa Ennyanja ya Kabaka, okussawo etterekero ly’ebyedda, okukulaakulanya ettaka ly’e Kigo ne Makindye 'State Lodge', okuzimba olubiri lw’omulangira Juma Katebe, okuzimba olubiri lwa Namasole, okuddaabiriza embuga z’Amasaza wamu n’okuzimba eddwaliro ly’abakyala.
Nagawa yagambye nti ensimbi zino zisuubirwa okuva mu Buganda Land Board, Amasomero, Minisitule ez’enjawulo, mu bupangisa, amakampuni g’Obwakabaka, ebitongole ebigaba obuyambi n’obuwumbi buna okuva mu Gavumenti eya wakati.
Ng’ayogera mu lukiiko luno, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasabye abantu okutambulira ku kiragiro kya Kabaka eky’abantu okujjumbiro ebifo by’obulambuzi era n'ategeza nti pulojekiti zonna Obwakabaka ze butandiseeko ssi zaakukoma mu kkubo, zirina okumalirizibwa n’olwekyo enkola y’okunoonya Ettoffaali ekyagenda mu maaso kubanga Kabaka ayitibwa mufumbya Gganda n'antabalirira batyabi- ensimbi zikyetaagisa.
Olukiiko luno lwetabiddwamu abakiise bangi ddala ne baminisita ba Kabaka nga lwakubiriziddwa, Sipiika Nelson Kawalya eyagambye nti embalirira eno abakiise basaanye okugenda n’ekiwandiiko kino, bwe banakomawo mu lukiiko luno basobole okugiyisa.