Katikkiro wa Buganda ayagala Governmenti ya Uganda efulumye lipooti ku ttemu eriyinze okukolebwa wano e Buganda:

By Dickson Kulumba

 

Added 11th February 2018

 

 

Lumbemaliba1 703x422

 

Minisita w'Amawulire e Mmengo, Noah Kiyimba ng'abuuza ku Musika wa Maliba Mugerwa (mu katono) nga ye Joseph Lukwago. Olumbe lw'omugenzi lwabaddewo nga February 10,2108 ku kyalo Lunene mu ggombolola y'e Mpenja- Gomba. Ku kkono bebakulembeze e Gomba.

 

 

MMENGO esabye gavumenti eyongere amaanyi mu kunoonyereza ku bakola ettemu ku bantu ensangi zino ekintu ekikuumidde eggwanga mu kutya era nga kyolekedde okuzing'amya enkulaakulana.

Bino byabadde mu bubaka Katikkiro Charles Peter  Mayiga bwe yatisse minisita w’ebyamawulire era omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba mu kwabya olumbe lw’omugenzi;

 Godfrey ‘Hassan’ Mugerwa Maliba,

ku kyalo Lunene mu Muluka gw’e Nkoma e Mpenja- Gomba ku Lwomukaaga February 10, 2018 n'agamba  nti Bannayuganda batambulira mu kutya nga tebamanyi bye bakola.

“Tusaba gavumenti ensonga y’okutta abantu mu ngeri y’ekyeyonoonere ekitwale ng’ekikulu, ekole okunoonyereza okw’ekikugu kituyambe okuzuula abali emabega w’ekittabantu. Okugeza e Lwengo abantu baabalaalikanga misana ttuku ate ne bajja ne mu bitundu ebirala bwe batyo. Kati omwaka guweze bukya munnaffe ono Maliba attibwa naye poliisi tevangayo na kyonna kye yazuula ku kufa kwe era tukyagitunuulidde nkaliriza eveeyo n’ebitutuusa ku ani yamutta,” Kiyimba bwe yatuusizza obubaka bwa Katikkiro.

Mu lumbe luno, Kiyimba mwe yategeerezza abakungubazi nga Kabaka bwe yasiimye okuweerera abaana ba Maliba okuli; Joseph Lukwago (eyamusikidde) ne Sharuwa Namuli okutuusa lwe balifuna ddiguli era abantu ne bakubirizibwa okunyiikira okusomesa abaana nga beeyambisa bbasale Obwakabaka ze bwateekawo.

Maliba eyali omutandisi w’ekibiina ky’abavuzi ba pikipiki eziwerekera Kabaka ekiyitibwa Kabaka Mwenyango yasangibwa ng’attiddwa nga February 4, 2017 ng’omubiri gwe gugudde okuliraana essundiro ly'amafuta erya Kobil ku luguudo lwa Bombo nga tonnatuuka ku bitaala by’e Wandegeya.

Ku lw’ekibiina kya Kabaka Mwenyango, ssentebe omuggya, Ismail Mboggoli yeebazizza Obwakabaka olw’okubakwatizaako mu mbeera ey’okusomoozebwa gye babaddemu n’okubakwatizaako nga bategeka omukolo guno.

Omukolo gwetabiddwaako omwami w’eggombolola y’e Mpenja saako n’omukiise w’e Gomba mu Lukiiko lwa Buganda nga bonna basabye abasigadde nga balabirira abaana okuli Ssenga Sandra Namuddu okubakuliza mu mpisa ennungi.

 

Nb

 

Buganda tejja nakamu kufugibwa bwetyo! Eyo si Civilization omuzungu gyeyatusanga nayo nga bajjajja baffe bagigoberera obukubirire mu nonno zabwe

 

Ssematteeka akakasa atya? Nti no bwemulaba nga omufuzi wa Uganda aganidde mubuyinza awatali kusiima kwa bantu ba Uganda, mukwate emundu mutingane okutuusa omufuzi oyo bwanadduka nga ava mubufuzi!

 

Ebivudde mukusirikira okuttibwa kwa banaffe kakati emyaka giweze 50 bukya Buganda yefuga teri atabimanyi. Era asinga okutta abantu yawangula entalo za wano e Buganda, nga ne Ssematteeka wa Uganda bwakakasa.

 

Kirabika kyeere nga yo governmenti ya wakati efayo nyo okusasira nokuziika abafu okusinga okufayo okukuuma abalamu! Kibi nyo.

 

Tuwulira governmenti eno teyagala nakamu abantu abakuma omuliro mubanabwe bwebesanga nga bagudde mubuzibu deka busa. Kiba nga okugamba nti kumenya mateeka okwekubira enduulu eri balirwaana wano mubyalo e Buganda singa wesanga nga ogudde mumutawaana.

 

Abaganda tunamala kugwawo Sebo Kattikiro olyoke wevemu OKULAGIRIRA(oba okukuma mu muliro) governmenti yawakati okufayo eri abafiirwa abantu babwe nebintu byabwe olutatadde wano e Buganda?