Bashir 75, eyaggyiddwa mu buyinza ku Lwokuna oluwedde alina ssente obuwumbi bwa doola mwenda (9000 million dollars) eziterekeddwa mu bbanka ezenjawulo. Kigambibwa nti zonna yazinyaga mu Gavumenti naddala mu kutunda amafuta.
Abadde azinyaga ng’aziyisa mu bitongole by’ebyokwerinda ebirina enkizo ng’ensaasaanya yaabyo tetunulwamu.
Bwe kituuka ku bitongole ebikessi ebiri wansi w’amaka ga Pulezidenti ne ofiisi ye, Bashir abadde alagira ne ziweebwa baganda be Abdallah Hassan al-Bashir ne Al-Abbas Hassan al-Bashir. Bombi baakwatiddwa ku misango gy’enguzi n’okunyaga ensimbi za Gavumenti.
The Islamic State of Sudan with its humbled diposed President
Bashir alina baganda be abamanyiddwa bataano. Okukwatibwa kwabwe kwalangiriddwa omwogezi wa Gavumenti ey’ekiseera Lieutenant General Shamseddine Kabbashi, ku Lwokusatu ekiro.
“Bavunaanibwa nguzi n’okunyaga ensimbi za Gavumenti okumala emyaka 30. Twagala bakomyewo ssente z’omuwi w’omusolo zonna ze baanyaga,” bwe yategeezezza.
Oba no omugagga Omwafrica ono, musolo ki gwabade asasula aba Revenue Authority, alyoke asigazewo omusimbi ogwo gwonna?
Abeekalakaasi abaavuddeko Bashir okugwa bakyalemeddeko nga baagala bannamagye obuyinza babukwase abantu baabulijjo kubanga nabo (bannamagye) kitundu ku Gavumenti ya Bashir.
Okukwata baganda ba Bashir kitunuuliddwa nga kaweefube wa bannamagye okukkakkanya abeekalakaasi nga bwe bagenda okukola ku nsonga ze baludde nga beemulugunyako naddala enguzi.
Bashir abadde amaze myaka 30 mu buyinza, yaggyiddwa mu kifo gy’abadde akuumirwa n’aggalirwa mu kkomera ery’amaanyi erya Kober mu Khartoum eno nga naye Bashir gye yasibiranga abamuwakanya.
en. Abdel Fattah al-Burhan, akulira Sudan kati yeeyamye nga bw’atagenda kuttira ku liiso muntu yenna eyabba ssente za Gavumenti.
Alagidde ebitongole bya Gavumenti byonna okuwaayo akawunti kwe bitereka ensimbi munda mu Sudan n’ebweru zeetegerezebwe. Era yatuuzizza olukiiko lw’amagye ne lusalawo obubinja bwonna obw’abalina emmundu obwassibwawo Bashir okuyambako okukuuma emirembe, buzzibwe wansi w’amagye.
Kyokka amagye gaasazeewo Bashir kumuwozeseza mu Sudan olw’emisango gy’okutta abantu n’okutyoboola eddembe lyabwe e Darfur.
Wabula ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya ‘Amnesty International’ kyawabudde Bashir atwalibwe mu kkooti y’Ensi Yonna eya International Criminal Court etuula mu Hague ekya Nertherlands.