Kamuswaga w’e Kooki. Ku ddyo nga awubira abantu be, ate era ne Katikkiro (owookubiri ku kkono) n’abakungu b’e Mmengo nga batuuka e Kooki.
‘‘Nze Katikkiro wa Buganda, ate ndi looya, mmanyi kye njogerako. Sizannya mizannyo gya kyana kito ate simala gazannyirwako ntyo.
E Kooki eyo eriyo abantu abatayagala butebenkevu era mmanyi n’abantu b’e Kampala bwe beerimbalimba”, Katikkiro Mayiga bwe yategeezezza. Okutuuka okuva mu mbeera yabadde ayogerera mu Lukiiko lwa Buganda ku Bulange e Mmengo ku Mmande.
Kyaddiridde olugendo lwe yabaddeko mu ssaza lya Buganda ery’e Kooki olwabuzeeko akatono okugwa obutaka olw’emisanvu abeebyokwerinda gye baamusuulidde mu kkubo.
Yattottodde ebyamutuuseeko ku lugendo lw’e Kooki nga November 27, 2018, abeebyokwerinda bwe baasoose okumugaanira e Masaka okweyongerayo nga kigambibwa nti Kamuswaga yabadde yeemulugunya nti teyategeezeddwaako mu kukyala kwa Katikkiro.
Mu lukiiko lwa Buganda, Mayiga yakangudde ku ddoboozi n’ategeeza nti eriyo abaagala okwawulayawula mu Buganda kyokka n’abakontola nti beerimba kubanga endagaano Mmengo gye yakola ne gavumenti eya wakati, erambika bulungi nti Kooki, n’ebitundu nga Bugerere ne Buluuli bya Buganda.
Kabaka Ronald Mutebi II ne Pulezidenti Museveni bassa emikono ku ndagaano nga August 1, 2013 mwe bakkaanyizza ku nsonga ezaali zirudde nga zigulumbya Buganda ne gavumenti eya wakati era mu nnyingo ebintu omukaaga gavumenti bye yeeyama mwalimu n’okussa ekitiibwa ku buwaayiro bwa Konsitityusoni okuwa Kabaka eddembe okutambula wonna w’ayagala mu Uganda awatali amukuba ku mukono.
Gavumenti bwe yamala okuzzaawo Obwakabaka nga July 31, 1993, Kabaka Mutebi II lwe yatikkirwa, Pulezidenti yayogerera mu lukiiko lwa Buganda olwatuula nga August 2, 1993 mu Bulange e Mmengo n’awabula gavumenti ya NRM ezzizzaawo Obwakabaka okugatta so ssi kutemaatema mu bantu.
ENTEESEGANYA EZADDIRIDDE KATIKKIRO MAYIGA OKUGENDA E KOOKI
Mayiga yasula Masaka mu Brovad Hotel ku Mmande nga November 26, nga yeetegekera olugendo lw’e Kooki mu disitulikiti y’e Rakai enkeera ku Lwokubiri nga November 27, 2018 okukyalira abalimi ab’enjawulo mu nteekateeka eya “Emmwaanyi Terimba”.
Nga tannasimbula yafuna obubaka okuva ew’omuduumizi wa poliisi mu ttunduttundu ly’e Masaka, Latif Zaake nga bwe waliwo obutali butebenkevu gy’alaga nti obugenyi bwe e Kooki bwali bwolekedde okusajjula embeera n’asaba basooke boogeremu ku nsonga zino.
Olwo Poliisi yali eyiye basajja baayo abawanvu n’abampi mu Masaka n’e Kooki ng’abalala bali ku wooteeri Brovad.
Ebimotoka bya Poliisi ebigumbulula okwekalakaasa n’ebifuuwa ttiyaggaasi nga biri bulindaala. Zaake, n’ab’ebyokwerinda abalala nga Dan Atwine, Maj. Livingstone Luttamaguzi akola nga RISO w’ekitundu kino n’abalala baagenda ku wooteeri eno okusisinkana Katikkiro n’ekibinja kya baminisita kye baali nakyo.
Minisita w’Ebyobulimi, Vincent Ssempijja n’omuduumizi w’enkambi y’amagye ey’e Kasajjagirwa nabo oluvannyuma beegatta mu kafubo akaamala essaawa ssatu ng’enjuyi zonna zigulumba n’ensonga.
Mu kusalira ensonga eno amagezi, Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda yakubirwa essimu bwatyo n’alagira abeebyokwerinda okuleka Mayiga agende e Kooki.
Ensonda zaategeezezza nti Katikkiro Rugunda yasooka kwebuuza ku Pulezidenti Museveni eyasalawo nti Mayiga agende mu maaso n’olugendo lwe kasita abeebyokwerinda bakakasa nti tewaliiwo mbeera eyinza kuvaamu kuyiwa musaayi n’okutabangula emirembe.
Kigambibwa nti kino kyakkaanyizibwako ku ssaawa nga 5:00 ez’oku makya kyokka poliisi teyasooka kussa kiragiro kino mu nkola nga bagamba nti balinda kufuna kiragiro kya Minisita w’ensonga z’omunda, Gen. Jeje Odongo.
Ekibinja kya Katikkiro kyayongera okubalemerako nga bwe waliwo ekiragiro kya Dr. Rugunda. Ku ssaawa nga 7:00 ez’emisana, Mayiga yasimbula okuva e Masaka okwolekera Kooki.
Mu kitoogo e Namujjuzi ng’ofuluma Masaka, poliisi yali esuddewo emisanvu kyokka obudde gye bwali bugenda ng’abantu batandise okwekuhhaanyizaawo.
E Kawenda ku nsalo ya Kooki ne Buddu ku kkubo erifubutaka e Sanje okutuuka e Mannya waali wateereddwaawo emisanvu egyalemesa abaserikale ba Kabaka abasooka okwetegereza embeera mu bitundu Katikkiro gyabeera agenda okukyala. Bano nabo baawalirizibwa okuddayo e Masaka ku wooteeri.
Ku lidda e Kiganda wakati wa Mityebiri ne Kasasa, ate emirala gyateekebwa e Lwanda awali ensalo ya Buddu ne Kooki byonna nga bigendereddwaamu okulemesa Katikkiro okutuuka e Kooki.
KATIKKIRO MAYIGA AWANDA MULIRO
Bino bye bigambibwa okuba ebigambo Katikkiro Mayiga bye yayayogeredde mu lukiiko lwa Buganda ku Mmande ng’attottola ebyamutuukako mu lugendo lw’e Kooki. “Mwenna mumanyi enteekateeka eyo ey’Emmwaanyi Terimba.
Tulwanyisa bwavu nga tukubiriza abantu okutandikira kwebyo bye basobola. Mu Buganda omuntu wa bulijjo asobola kulima na kulunda. Waliyo abasobola okusuubula n’abakola mu ofiisi.
Naye okutwaliza awamu mu Buganda omulimu ogusookerwako gwa kulima n’okulunda. Tutuuse mu masaza mangi nga Kabaka agaba endokwa.
Tukola ne Coffee Development Authority era Minisita avunaanyizibwa ku by’obulimi, Hajji Amisi Kakomo ne Ssenkulu wa BUCADEF, Hajji Badru Sserwadda be tutambula nabo mu nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba.
Tugenda tuzzaamu abantu naddala abavubuka amaanyi baleme kuggwaamu ssuubi bakole beeyimirizeewo.
Enteekateeka eno emanyiddwa bulungi. Wabula weewuunya omuntu ava ku biyamba abantu nadda mu buzannyo obwekyana ekito.
Nze sizannya mizannyo gya kyana kito ate simala gazannyirwako ntyo. E Kooki eriyo abantu abatayagala butebenkevu n’enkulaakulana.
Mu butuufu abantu abo tebalina bwagazi eri muntu waabulijjo. Kambabuulire lwaki njogera bwentyo:
‘‘Nze Katikkiro wa Buganda, Munnamateeka omutendeke ne nva mu ofiisi Kabaka gye yampa eva eno okutuuka eri ne hhenda okulya enfuufu.
Nandibadde nkima ki mu nfuufu? Nze saagalira ddala bintu bya nfuufu mu bulamu bwange, abammanyi bakimanyi naye hhenda ntya mu nfuufu nga nvudde mu ntebe eriko obwebonga n’empewo ensengejje ezinnyogoga hhende mu nsozi z’e Kooki nga njagala kukola mirimu Kabaka gye yampa oli n’agamba nti tojja kujja wano.
Taba mu mizannyo gya kito. Oyo abantu abaagala? Nze ndowooza bw’olaba akukaabirako nga naawe okaaba.
Ebyembi abantu bano abatayagala butebenkevu n’enkulaakulana era abatalina bwagazi eri abantu baabulijjo, balina banywanyi baabwe e Kampala ababadde bagezaako okubawagira mu nteekateeka zino ez’okututawaanya.
Munno bw’akugamba ekintu ekitayamba omugamba nti naye gundi kino. Ndowooza engeri gye sitera kuyombayomba balowooza nti ndi awo waakutiisibwatiisibwa.
Bwe tunnamugamba nti togenda nga naye abivaako ng’adduka. Nze Charles Peter Mayiga (eeeh..eeehh)-(Katikkiro naasekawo).
Nneebaza abaamagye, abapoliisi ne ISO abaluhhamizibwa abakulembeze abakitegeera nti ffe okugenda e Kooki kigasa Kooki, Buganda ne Uganda.
Yategeezezza nti, ‘‘e Kooki twayaniriziddwa mu ssanyu lingi ddala era n’emmwaanyi bangi bazirimye.
Njagala okwebaza Oweekitiibwa Gertrude Nakalanzi Ssebuggwawo omukwanaganya w’emirimu gya Kabaka e Kooki, olw’okumalirira okukola emirimu gya Kabaka era tujja kwongera tugikole.
Abamu bwe bawulira endagaano zino ze twakola ne gavumenti, balina okukimanya nti tekutulanga Kooki ku Buganda oba Buluuli oba Bugerere. Buganda ekyali wamu ne mu Ssemateeka mweri.
Ayagala okukutula mu Buganda yeesibe enkoba ssatu si lumu, si lumu si bbiri wabula ssatu.
Nb
Sikukuuma bulamu bwoka naye nokukuuma ebintu byabwe ebyobugagga, embeera zobudde, obujjanjabi bwokulwala nokuzaalibwa, okukuuma ettaka lya batuuze era nebirala bingi nyo ddala ebiwa bananyini nsi okwenyumiririza mu nsi yabwe nokujagala era nokujagaliza abaana nabazzukulu!
Wano ensonga za Buganda banamatteeka webazifulidde ezokusajiramu nga ebya baana abato so si ebyabantu abakulu abalina obuvunanyizibwa eri okukuuma obulamu bwa bantu ba Tonda.
Kibi nti buli ensi Buganda bwekola endagaano nabantu abagala ensi ya Buganda, bigenda okuggwa nga Ssabasajja mukwate, Katikkiro adduse nga nendagano ziyuziddwa nezitekebwa mu kasero akasulibwamu ebisasiro.
Mpozzi Ssekabaka Mwanga yali afuga okutuuka e Tanganyika 1890 Jjajjawe Suuna jeyali akomeza Obuganda? Awo e Bukoba mu Kagera region Mwanga weyekweka nga Abazunga bamuli bubi okumutwalako ensi ya Bajajja be!