Ettaka lino lisangibwa ku bbuloka 495 poloti 9 Buswa- Ssisa- Busiro nga liwerako yiika ttaano. Ekyapa kino Katikkiro Charles Peter Mayiga yakikwasiza Jjajja w’Obusiraamu mu Uganda, Omulangira Kassim Nakibinge.
“ Emabegako awo mwawulira ensonga z’Omuzikiti mu Lubiri e Mmengo. Sirowooza nti waliwo Omusiraamu ataaziwulirako. Omulangira Nakibinge n’abakulembeze b’Obusiraamu tubadde tuwuliziganya bulungi ku nsonga eyo era byonna bye tubadde twogeraganya mbadde mbyanjula ewa Ssaabasajja Kabaka. Bwatyo nno Ssaabasajja yasiima okufunira
Abasiraamu ettaka eddene obulungi basobole okuzimbako omuzikiti n’ebyokwekulaakulanya ng’amasomero n’amalwaliro. Olwaleero nnina essanyu okukwasa Omulangira Kassim Nakibinge ekyapa ky’ettaka Ssabasajja kye yasiima okuwa
Abasiraamu olw’ensonga eyo,” Mayiga bwe yalambuludde okusiima kwa Kabaka.
Omuzikiti guno gwali mu Lubiri e Mmengo, gugambibwa okumenyebwa okuva mu Lubiri e Mmengo ku ntandikwa ya 2013 era Abasiraamu bangi bakissa ku Mayiga ebiseera ebyo eyali Minisita w’ebyamawulire e Mmengo okuba mu kkobaane ly’okuggyamu omuzikiti guno.
Bino byabadde Bulange - Mmengo ku Lwokutaano May 26, 2018 ku mukolo Obwakabaka kwe bwasiibululidde Abasiramu mu kiseera kino eky’ekisiibo kyabwe nga guno gwabadde mulundi gwa kutaano ng’ekikolwa kino kikolebwa.
Nakibinge ye yabadde Omugenyi omukulu ku mukolo guno era mu kwogera kwe yasambazze ebyogerwa abantu nti Kibuli ne Mmengo tebikwatagana wabula n’akiggumiza nti ye tasobola kubeera ‘mujinga’ bwatyo kubanga enjawukana bw’ebeerawo ekirya omu ate bwe kimumala kidda ku mulala.
“ Waaliwo ebigambo bingi ku nsonga y’Omuzikiti guno naye twatuula emyaka ena egiyise ne tukkiriziganya era Mmengo y’ebadde etubanja nti ‘ewandiise ekyapa kino mu mannya ki?’ Twali tumanyi nti ensonga z’Obusiraamu eziri mu mikono gya Gavumenti ziritereera wabula ne kirwawo.
Ekirala, twalwawo kubanga ensonga eno yakwata ku biwayi by’Abasiraamu byonna ne kiba nti bwe tugamba nti tubiteeke mu kiwayi ekimu, ate ekirala kijja kuwulira bubi,” Omulangira Nakibinge bwe yannyonnyodde.
Nakibinge yategeezezza nti bakiriziganyizza okuteeka ekyapa kino mu linnya Uganda Young Muslim Men Association era bwatyo naye yakikwasizza Ssentebe w’ekibiina kino.
Nb
Kakati no ne Butambala ne Mawokota Amakanisa ge ki Christayo gatandike okuzimbibwayo nga bwekinaba kisobose! Kitalo kino nti Busiro ebadde emanyi kukuuma Masiro ga ba Ssekabaka ba Buganda. Mpozzi era kwekutawanyizibwa kwa Masiro agazimbiddwa mu Kyadondo awo e Kasubi.
Interesting videos these days: