Kizito abadde maneja mu kkampuni ya Ntakke eya Ntake Group of Companies, yasangiddwa mutabani we ng’alengejjera mu kinaabiro ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi ku Lwokuna nga yeeyimbyemu omuguwa.
Omwana yadduse n’ayita omukozi eyabadde ebweru era baagenze okumutuukako nga yakaze dda. Mu kiseera ekyo mukayalawe Maureen Ntakke era muwala w’omugagga Ntakke yabadde akyali ku mulimu.
Ennyumba omugenzi mwe yeetugidde esangibwa Seguku mu Zooni 5 ku lw'e Ntebe.
Ennyumba eno etemya ng’omuntu etudde ku ttaka eddene era obwedda buli muntu atuukawo nga yeebuuza ekizibu ekyasukkiridde ku mugagga.
Poliisi oluvannyuma yazze n’etwala omulambo ku ssaawa 3:00 ez’ekiro mu ddwaaliro e Mulago okwongera okugwekebejja.
Ensonga eyaleetedde Kizito okwetuga ekyali ya matankane ng’abamu bawanuuza nti, yandiba ng’abadde talina ssanyu mu maka.
Kyokka era eriyo n’abalowooza nti poliisi ekole okunoonyereza kubanga asobola n’okuba nga yattiddwa buttibwa, kubanga omuntu okwetugira mu kinaabiro nakyo si kyangu nnyo.
Kizito ne muwala wa Ntakke baagattibwa mu bufumbo obutukuvu mu 2017 nga babadde balina abaana bana, kyokka nga waliwo omukazi eyazze mu lumbe okuva e Mityana n’abaana babiri n’ategeeza nti ba mugenzi.
Paul Bukenya ow’ebyokwerinda ku LC1, yagambye nti Kizito abadde mutuuze mulungi nga tebamulinaako buzibu. Ekikolwa ky’okweggya mu nsi kyabakanze nnyo kuba babadde tebamanyi nti alina oguzibu ogumutuulidde.
Nnamwandu wa Kizito ow'e Seguku ebigambo byamuweddeko nga talina ky’ayogera okuggyako okukulukusa amaziga era ab'awaka baawadde ekiragiro obutakkiriza munnamawulire yenna kuyingira mu nnyumba.
Kyategeezeddwa nti omugenzi waakuziikibwa e Butambala leero ku Lwomukaaga ku ssaawa 8:00 ez’omu ttuntu.
Abantu bangi okuli ab’emikwano n’abooluganda baakuhhanye mu bungi mu maka g’omugenzi nga bwe basaasira bamulekwa ne Nnamwandu.
Abagagga b’omu Kampala abaakulembeddwaamu Lule Ntakke be bamu ku baayanguye okutuuka mu maka g’omugenzi.
Kizito abadde musajja eyakola ssente ze ne ziwera era nga bw’otunuulira amaka ge kw’okomya amaaso olwamatiribona ge yateekako.
Yasooka kukolera ku kyeyo e Bungereza era nga kigambibwa nti n’abantu be bangi gye bali, eno gye yava okukomawo. Abadde n’amayumba g’abapangisa e Namulanda ng’avuga n'emmotoka ez’ebbeeyi.
Ate waliwo okwebuza nga tewali kumanya ekiseera Project yokukola ensi Uganda bweyatekebwawo nga 9 October 1962: