GAVUMENTI y’e Switzerland etunze emmotoka za mutabani wa Pulezidenti wa Equatorial Guinea ez’ebbeeyi ku nnyondo, ng’egamba nti yazigula mu nsimbi za muwi wa musolo.
Teodoro Nguema Mangue, nga mutabani wa Teodoro Obiang, afugidde Equatorial Guinea emyaka 40, ye yawambibwako emmotoka ze 25, oluvanyuma lwa gavumenti ya Switzerland okukola okunoonyereza n’ekizuula nti yazigula mu nsimbi za muwi wa musolo mu ggwanga lye.
Emmotoka zino ezitunula ng’omuntu aboobuyinza mu Switzerland baategeezezza nti zaavuddemu obukadde obusukka mu 20 obwa ddoola, nga zino zaakuzzibwa mu Equatorial Guinea ziweebwe ebibiina by’obwannakyewa ebiyamba abantu baabulijjo abatalina mwasirizi.
Nguema ye mumyuka wa kitaawe Obiang, wabula ssente z’eggwanga baazifuula za kwejalabya nga bagula ebintu omuli emmotoka, amayumba, engoye n’ebirala naye nga bannansi beerya nkuta.
Okutunda emmotoka zino kwabadde ku Bonmont Golf & Country Club mu Cheserex okuliraana ekibuga Geneva.
Bino okubaawo, kyaddiridde aboobuyinza mu Switzerland okulangirira mu February w’omwaka guno nti baali bamaze okukola okunoonyereza ku Nguema ne banne abalala babiri kuby’okudiibuuda n’okukumpanya ensimbi z’omuwi w’omusolo era emmotoka ze amatiribona ne ziboyebwa.
Emmotoka zino zaabadde zisuubirwa okuvaamu obukadde 15.2 obwa Euro wabula gye byaggweeredde nga muvuddemu obukadde 21.9 obwa pawundi.
EMMOTOKA EZAATUNDIDDWA
Emmotoka ezaatundiddwa ku nnyondo, za bbeeyi nnyo nga muno mwabaddemu ebika nga Lamborgin, Ferrari, Rolls Royce n’ebirala.
Emmotoka ekika kya Lamborgin Veneno Roadster, y’emu ku zaatundiddwa era nga yabadde esuubirwa okuvaamu obukadde buna n’okusoba obw’ensimbi za Bungereza (pawundi), kubanga yali yaakavugibwako mayiro 201 zokka.
Emmotoka endala ekika kya Ferrari ‘LaFerrari’ yabadde esuubirwa okuvaamu obukadde bubiri n’okusoba obwa pawundi.
Ebika ebirala ebyatundiddwa mwabaddemu;
- Bugatti Veyron EB 16.4 Coupe sit. (yafulumizibwa mu 2016)
- Ferrari F12tdf ( ya nzigi bbiri nga yafulumizibwa mu 2015)
- Aston Martin One-77 Coupe, nga yaakafulumizibwa yali egulwa ssente ezikunukkiriza mu kakadde akamu aka Pawundi.
- Koenigsegg One:1 (yafulumizibwa 2015).
ENGERI NGUEMA GY’AZZE YEEJALABYA
Mutabani wa pulezidenti wa Equatorial Guinea ate era nga ye mumyuka we guno ssi gwe mulundi ogusoose nga babowa ebyobugagga bye mu nsi endala naddala eza Bulaaya.
Omwaka oguwedde aboobuyinza e Brazil baawamba ensimbi ezibalirirwamu obukadde 16 obwa doola n’amasaawa ag’omulembe ebyaggyibwa ku ttiimu y’abagenyi gye yali akulembeddemu, nga babateebereza okuba nga baali baziggye mu ggwanika lya ggwanga.
Mu 2017, kkooti mu kibuga Paris ekya Bufalansa yasingisa Nguema omusango nga taliiwo ogw’okubba obulindo n’obulindo bw’ensimbi mu ggwanika lya Equatorial Guinnea. Yasalirwa emyaka esatu mu kkomera n’okusasula obukadde 35 obwa doola. Kkooti era yawamba ebyobugagga bye mu Bufalansa ebibalirirwamu obukadde 100 obwa Euro. Wabula Nguema yajulira mu musango guno.
Akatabo ka Forbes Magazine kaakola okunoonyereza mu 2006 ne kakizuula nti Teodoro Obiang ebyobugagga bye bibalirirwamu obukadde 600 obwa doola, era nga y’omu ku bakulembeze abagagga ffugge.
Mu 2007, America yatandika okumunoonyerezaako, olw’okulya enguzi n’okudiibuuda ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Akozesa ensimbi z’eggwanga amayumba amatiribona n’okugula ebintu by’okwejalabya ng’ali ne famire ye. Kigambibwa ye ne mutabani we balina ebyobugagga ebirimu obulindo bw’ensimbi mu Bufalansa.
Mu 2011, America ne Bufalansa zaawamba ebyobugagga bya Obiang ne mutabani we omuli amayumba n’emmotoka.
Mu 2012, ekitongole kya Transparancy Internantional kyakola okunoonyereza ne kizuula nti Equatorial Guinea y’emu ku nsi ezisingamu obuli bw’enguzi.
Obiang yafuna obukulembeze bw’eggwanga lino mu 1979, oluvannyuma lw’okumaamulako kkojjaawe, Francisco Macias Nguema.
Okuva olwo eggwanga azze alifugisa omukono ogw’ekyuma era mu 2013.
Yeerangirira ko lumu eri abantu Abafrica bafuga nti ye; "Katonda alina amaanyi ku bantu n’ebintu ebiri ku nsi"!
Eggwanga lya Equatorial Guinea lye limu ku mawanga agasima amafuta munsi yonna, wabula nga ssente eziva mu mafuta zigabanibwa abantu aboolubatu abalya Obiang mu ngalo.
Bannansi abasinga obungi baavu lunkupe, abaana bangi bafa tebannaweza myaka etaano, nga n’amazzi amayonjo okugafuna kwa bulumi, ekibasibyeko endwadde eziva ku bicaafu.
Nb
Abatuuze bensi y'Africa kabakikute abaniriza abafuzi abeyongeza okufuga nga bagamba nti bebasobola bokka okufuga obulungi amawanga g' Africa. Yeno abafuzi bano, bagenda nebewaana nga bo bwebafuga so si kubanga bagala nyo okugaggawala naye kubanga balumirwa nyo ensi yabwe.
Ate no ensi eno Switzerland elabika nga esazewo okukwata emmotoka zino kubanga abagagga bano ensimbi enyingi bwezityo mukifo kyokuziteeka mu bank zabazungu bano ate bagenze kuziteeka mu bimotoka. Switzerland yensi mu Europe esinga okuteleka mu bank, ensimbi zabagagga abafunye ensimbi mubuli ngeri zonna munsi zonna. Elabika nga ekutte ebintu bino nezzayo ensimbi zino munsi y'Africa eno enjavu, naye nga emanyi nti ensimbi zino zakukomawo nga zirina kudda nga ziyita mu bank balyoke basobole okuzifuna mu amagoba agawera.