Abazanyi nga begabula emmere mu State House
PUEZIDENTI Yoweri Kaguta Musevini akoledde bannabyamizannyo akabaga akabasiima n’abasaba okwekumira ku mutindo okusobola okugaggawala. Yategeezezza nti emizannyo kati kya bugagga eri kati agimanyi obulungi ate kati giyamba okussa eggwanga ku mutindo era singa beyongera okulaga obukugu bwabwe ensimbi bagenda kubeera babifeekera mu ssente.
Pulezidenti Museveni yakyazizza ttiimu nnya (4) okuli Crested Cranes,Uganda University Netball Team,Uganda Kobs ne Sand Cranes ezannya omupiira gw’okumusenyu nga zonna zirimu abazannyi abakunukkiriza 200 era katono bafe essanyu bwe yawadde buli omu emitwalo 500,000/- begende basanyukemu ne bazadde babwe.
Akabaga kabaddeko okulya,okunywa,okunyenyamu n’abazinyi okuva mu bibiina eby’enjawulo abasanyudde abagenyi. Ku bugenyi abakungu okuva mu kakiiko ke by’emizannyo National Council of Sports (NCS) n’aba FUFA bwe bakyalidde amaka g’obwapulezidenti ku lw’okuna ekiro,Museveni yakalaatidde bannabyamizannyo okwekumira ku mutindo kuba abazannyi bazannyira eddakiika 90.
“ Ndi musanyufu okubasisinkana kuba buli lwe muzannya obulungi nga kw’otadde n’empisa,muweesa eggwanga ekitiibwa era kino mulina okukikola mu buli muzannyo gw’onna gwe muzannya kuba mwegombesa abantu bangi mu ggwanga.”
Pulezidenti Museveni yasabye Minista w’ebyengigiriza n’ebyemizannyo okw’ongera enteekateeka mu by’emizannyo naddala nga baviira ddala ku Disitulikiti kuba ebitone bingi bibeera eyo nga naye tebemanyi,kuba tulina bannabyamizannyo abavudde mu disitulikiti ez’enjawulo nga batuweesa ekitiibwa nga Stephen Kiprotich n’abalala.
Ku bugenyi buno,Charles Bakkabulindi yategezezza nti kya mukisa munene bannabyamizannyo okusisinkana Pulezidenti kuba abamu babadde tebamulabangako saako n’okuwayaamu naye nga era abamu ebirooto byabwe bitukiridde.
Kapiteni wa Uganda Cubs eyabatasussa myaka 17,Gavin Kizito Mugweri yasubizza pulezidenti okusitukira mu mpaka za AFCON omwaka ogujja e Tanzania,oluvannyuma lw’okusitukira mu mpaka za CECAFA e Tanzania.
Nb
Tewali atalaba mumawulire ekisawe kye Lira ekyatekebwawo governmenti ekitali kumulembe nakamu ate nga kyamalawo sente nyingi nyo ddala.
Balemeddwa okumugamba abakakase ebifo byebisaawe awakoleddwa ebisawe nawagenda okukolebwa ebisawe mubuli district omukulu ono zagenda atekawo mu Uganda yonna. Ate no buli District mukifo kyokulinda sente za governmenti kubyemizanyo zisobola okukozesa bulungi bwansi nezifuna ebisawe ebyomulembe.