Kiddiridde emikutu gya Vision Group omuli ne Bukedde okulondoola engeri omusajja ono gy’abadde akolamu emirimu gye erudde nga yeemulugunyizibwako.
Stephen Kulemu ye yakwatiddwa era n’asimbibwa mu kkooti esookerwako e Mbale mu maaso g’omulamuzi Dorcas Zako ku Lwokusatu n’asomerwa emisango gw’okwenyigira mu kukusa abantu mu bitundu by’obuvanjuba bwa Iganga.
Ono era yasomeddwa omusango gw’okujingirira sitampu z’ekitongole kivunaanyizibwa ku ntambula z’abantu ekikolera ku nsalo ye Lwakhakha era nga ze yakozesa okukusa omuwala Christine Nambereke era oluvannyuma omulamuzi n’amusindika ku limandi mu kkomera e Maluku.
Ensalo ye Lwakhakha eyogerwako esangibwa mu disitulikiti ye Namisindwa era eyogerwako nga disitulikiti esingamu ebikolwa eby’okukukusa abantu.
Okuviira ddala ku bakulembeze b’ekitundu kino omuli nab’ebyokwerinda beenyigira butereevu mu bizinensi y’okukukusa abantu kuba efuna kiralu ng’omuntu akukusibwa ali wakati wa doola 2000 ne 7000.
Kigambibwa nti guno ssi gwe mulundi ogusoose omusajja ono okukwatibwa n’asindikibwa mu kkomera wabula tabugumyayo mbooge n’afuluma era n’atandikira we yakoma mu kukukusa abantu.
Erinnya ly’omusajja ono lizze lirabikira mu kukukusa Bannayuganda naddala abawala ng’abatwala mu Buwalabu, wabula ne kizuulibwa ng’ekitonmgole kya poliisi ekikola ku kunoonyereza kibadde ensonga kizikwasa bunafu.
Okunoonya omusajja ono okwamaanyi kwabalukawo oluvannyuma lw’okukukusa omuwala Christine Nambereke 31, ng’amuyisa ku nsalo ye Lwakhakha n’amuyingiza Kenya n’amutwala mu Oman gye yafiira.
Mariam Mwiza y’omu ku beesowoddeyo okulwanyisa okukukusa Bannayuganda naddala abatwalibwa mu Buwalabu.
Yasooka n’aggulawo omusango ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli, era ne balagira Kulemu n’akwatibwa nga May 15 omwaka guno.
Baamukwatira ku kyalo Bukiaba ne bamuggalira e Lwakhakha oluvannyuma gye yaggyibwa n’aleetebwa ku poliisi y’e Mbale ng’ebiragiro biva Kibuli.
Waaliwo entegeka ey’okusindika abaserikale okugenda e Mbale okubaako ebibuuzo bye bamubuuza kyokka ne babulwa ssente ezipakira abaserikale.
Newankubadde Mwiza yasalawo okupakira omusirikale n’agenda naye wabula ekyabeewuunyisa baasanga Kulemu poliisi ye Mbale yamuyimbudde nga tetegeezezza b’e Kibuli abaawa ebiragiro ebimukwata.
Charles Twine omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekikola ku gw’okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu ggwanga yagambye nti omuze guno ogwokukukusa abantu Kulemu aludde ng’agukola era ng’akozesa amakubo agenjawulo.
Yayongeddeko nti omulundi gwe yakwatibwa mu May w’omwaka guno, bambega okuva e Kibuli baali bawadde aba poliisi ye Mbale ebiragiro obutayimbula musajja ono ku kakalu kaayo kuba alina amaka wano ne Kenya nga kyali kisobola okuzibuwaza okuddamu okumukwata naye tebaawuliriza.
Kulemu yali yafuna omuwalabu mu gwanga lya Oman gwe yaguza Nambereke doola 2,000 (bwe bukadde musanvu mu zaawano) era baazimuwa mu buliwo.
Nambereke yali waakusasulwa emitwalo 80 buli mwezi era emyezi esatu egyasooka ensimbi z’omusaala gwa Nambereke zajjanga butereevu ku akawunti ya Kulemu n’azirya.
Nambereke bwe yakolera omuwalabu okumala akabanga yawulira ng’emirimu mingi tajja kugisobola n’asaba akomezebwewo e Uganda, wabula omuwalabu n’agaana era n’amutegeeza nga bwe yalina okusooka okukolera emyezi mwenda amaleyo ssente ze yamugula.
Nambereke yagumira emirimu emingi newankubadde yali anyigirizibwa, wabula oluvannyuma lw’ekiseera mu March w’omwaka guno yaweereza akatambi nga kali mu maloboozi ag’olugisu ng’alaajanira famire ye ng’abantu baakolera bwe baagala okumutta. Oluvannyuma lw’akaseera katono yafa mu ngeri etaategeerekeka era obutambi ng’alaajana ne Bukedde yasobodde okufunako ku maloboozi.
Oluvannyuma lwa Nambereke okufa, Kulemu yagaana okuyambako mu kuzza omulambo era Mwiza ye yabayambako okuguzza ne gutwalibwa e Mulago okwekebejjebwa okuzuula ekyamutta.
Lipoota eyafulumizibwa abasawo b’e Mulago yalaga nti Nambereke yakubwa kintu ekyamaanyi ekyamuviirako okufa ate lipoota eyava mu Omani yalaga nti yafa kabenje.
Mwiza annyonnyola nti bwe yalagira ab’ebyokwerinda okukwata Kulemu aggalirwe yatandika okufuna amasimu okuva mu bannabyabufuzi okuva mu disitulikiti ye Namisindwa nga bamusaba basisinkane boogere ng’abantu.
Yagaana okukkiriza okugonjoola ensonga ezirimu okuzza emisango egya Nnaggomola okutuusa embeera bwe yagenda ng’etabuka n’atandika n’okufuna amasimu agamutiisatiisa era ng’emu ku nnamba ezaamukubiranga 0753 484445 yagambye nti yagezaako okunoonya nnannyini ssimu eyo ng’akozesa mobile money naye yagaana okulaga amannya.
Mwiza yagambye nti emirundi egisinga abantu abaamukubiranga amasimu baakozesanga amannya nga Mark Kato, Matovu oluusi James, wabula ffe bwe twakebedde amannya essimu mweyawandiisibwa twakizudde nti yali yawandiisibwa mu mannya ga Kule Muthaisuka.
Wabula bwe twabuuzizza aba kkampuni y’amasimu eya Airtel ensonga lwaki amasimu agatali mawandiise gakola ate ng’abantu bangi basaliddwaako yatuzzeemu nti okusalako amasimu kukyagenda mu maaso wabula nga kukolebwa mu mitendera naddala amasimu agali ku 0753 tegannaba kukwatibwako era baawadde Mwiza amagenzi ensonga azitwale ku poliisi.
Ennaku zino abakukusa abantu bakozesa nnyo omukisa gw’okufuna abantu abatategeera Lungereza ne babakozesa okussa emikono ku ndagaano ezibasindika mu kukola obuddu abamu ne batuuka n’okufiirayo nga tebamanyi.
Bannabyabufuzi okwetooloola eggwanga bavuddeyo n’amaanyi ebiseera ebisinga okulwanirira abakukusa bannayuganda nga bagamba nti bayambako kulwanyisa bbula ly’emirimu nga babafunira ebyokukola e Mitala w’amayanja.
ABALALA ABAKWATIDDWA
Nga September 12 ne 13 emirambo gy’abavubuka etaano abaali batwalibwa amakampuni okuli era Rama Africano Ltd ne Sport light gyakomezeddwaawo ekitongole ekikulirwa Lt. Nakalema era ne gikwasibwa abehhanda okugenda okugiziika.
Emirambo gy’abavubuka abaakomezeddwaawo, abasatu baafiiride Kuwait okuli John Torres Mujuzi, Moses Kiwanuka ne Charles Bekalaze.
Bano baatwalibwa kkampuni ya Sport Light era kyategeerekese nti babadde bakolera kkampuni eno eyitibwa Aber United Group. Sylvia Mutoni yafiira Saud Arabia yatwalibwa Rama Africano Ltd ne Sharon Achen eyafiira mu Oman.
Bano emirambo gyabwe olwatuusiddwa ku kisaawe e Ntebe, abakulira amakampuni agaabatwala baakwatiddwa ekitongole kya CID era ne batandikirawo okunoonyereza ku bantu abo n’engeri gye battibwamu.
Twine ayogerera CID yategeezezza Bukedde nti abasibe abaali baakwatibwa okuli Musa Higenyi owa Rama n’omulala akulira Sport Light baasazeewo okubayimbula wabula ng’okunoonyereza ku kyagenda mu maaso okuzuula ekituufu ekyatta abavubuka.
Yagambye nti “ Okunoonyereza okwo tukukola wakati mu bwegendereza obwekika ekyawaggulu kuba yadde emirambo bwe gyali gikomezebwako kwajjirako amabaluwa agalala ekyabatta naye naffe tuba tulina okufuna ebbaluwa ezaffe okuva ku bakugu abaffe okuva wano” Twine bweyalambuludde.
Yagasseeko nti mu kiseera kino nga poliisi balinze lipoota eziva e Mulago bazitunuulire balyoke baveeyo n’ekye- nkomeredde era alina essuubi nti emisango gino gijja kuggwa kuba gyaddizibwa wano mu Kampala ate n’abateeberezebwa okugizza weebali.
Ku kya Kulemu, Twine yagambye nti baagenze okumukwata nga balina obukakafu bwonna obumuluma era akakasa nti mu kkooti bagenda kulaga bwino akakasa emisango gye yakola era avunaanibwe mu mateeka.
Era gye buvuddeko Poliisi yakwata Bob Nankunda akulira kampuni etwala abantu ebweru eya The Eagle Super Vision esangibwa e Lubaga n’asimbibwa ku kkooti ya Mwanga II e Mengo era omulamuzi n’amusindika e Luzira okumala ekiseera oluvannyuma lw’abavubuka abasoba mu 80 okuvaayo ne bamulumiriza nga bwe yabasuubiza okubatwala e bweru okukola emirimu wabula n’atabatwala Oluvannyuma lw’okumussaako obukwakkulizo okusasula abavubuka bonna be yaggyako ensimbi kkooti yamuyimbudde.
Emboozi zino ziri wansi w’entegeeragana eyakolebwa wakati wa Vision Group ne Democratic Governance Facility okuyambako abantu okwanguyirwa okufuna obwenkanya n’okutumbula eddembe ly’obuntu.