Ebbibiro lya Isimba erinaatera okuggulwawo. Mu katono ye Ying. Kiggundu
Ebbibiro lya Isimba, Gavumenti ly’ezimbye lisuubirwa okuggulwawo mu October omwaka guno kuba ebitundu 80 ku 100 biwedde.
Ebbibiro lino lizimbiddwa Abachina nga lyali lyakumalirizibwa mu August omwaka guno.
EBBIBIRO LISANGIBWA WA
Lisangibwa ku mugga Kiyira ku kyalo Bugobero mu muluka gwa Kasana mu ggombolola y’e Busaana mu disitulikiti ya Kayunga.
Lyesudde kkiromita 15 okuva mu kibuga Kayunga. Oyita mu bubuga obutonotono omuli Busaana ne Kasana okutuuka we liri.
Ebbibiro lino liriraanye omwalo, ekidyeri ekiyunga Kayunga ku Busoga we kisimbula n’okugobera.
Oluguudo olutuukayo terunnaba kukubibwamu koolaasi wabula nga baalulima bulungi era temuli binnya.
OBUSOBOZI BWA KKAMPUNI EYAWEEBWA KONTULAKITI
Gavumenti yakola endagaano ne kkampuni ya China International Water & Electric Corporation mu 2013.
Kkampuni eno erina akakwate n’eya China Three Gorges Corporation eyazimba Three Gorges Dam esinga obunene mu nsi yonna esangibwa e China.
Kino kyoleka obumanyirivu, abali ku mulimu gw’okuzimba Isimba bwe balina.
Isimba Dam egenda kuba nga ekwata ekifo kyakuna mu bunene ku mabibiro agali mu Uganda.
Yatandika okuzimbibwa nga April 30, 2015 yadde endagaano yakolebwa mu 2013.
Ekyalwisa omulimu okutandika, baalina okulinda gavumenti ya Uganda okusooka okuliyirira abatuuze abaalina okusengulwa ku byalo ebyasendebwa.
Gavumenti yakola enteekateeka z’okusengula abantu okuva mu byalo bisatu omuli Nampanyi, Nakakandwa ne Kiteredde. Abatuuze baalinako ennimiro, amaka n’ebifo ebisanyikirwamu.
Emmere bagiguza abakozi b’omu Isimba.
OBUNENE BW’EBBIBIRO LYA ISIMBA
Ying. Badru Kiggundu, eyali ssentebe w’akakiiko k’Ebyokulonda y’avunaanyizibwa ku kuzimba amabibiro n’okufulumya amasannyalaze mu ggwanga.
Yagambye nti ebbibiro lino kuliko emiryango gya mirundi ena nga kuliko ekyuma obwaguuga ekikuba amazzi agagenda okuvaamu amasannyalaze agenkanankana ‘Mega watts’ 183.
Pulojekiti eno ewemmense ddoola obukadde 550 nga za bbanja eryaweebwa Uganda okuva mu bbanka emu mu China.
Wabula emiryango ebiri gye gigenda okusooka okuggulwawo olwo egisigadde giggulwewo mu March wa 2019.
Kiggundu yasuubizza nti ebbibiro lino ligenda kuyambako okwongera ku bungi bw’amasannyalaze mu ggwanga lyonna n’okukendeeza ku bbeeyi yaago.
Kino kitegeeza nti ebitundu ebibadde tebirina masannyalaze nabyo bigenda kugafuna olwo enkulaakulana yeeyongere.
Yawadde amagezi abantu bonna amasannyalaze gano gye gayita okwetandikirawo emirimu emitonotono egikozesa amasannyalaze galeme okubayitako ate gagende awalala bagaganyulwemu.
ABATUUZE BAFUNYE EMIRIMU
Ebbibiro lino liwadde abantu emirimu. Abakozi bonna awamu basoba mu 3,000. Ku bano kuliko Bannayuganda 2,708 abakola emirimu egyenjawulo okuli okwokya ebyuma, okubajja, okuzimba, bamakanika n’abakola ebyamasannyalaze, abafumbi n’abalongoosa.
Joseph Lutalo: Nali mulimi naye ebirime bibeera bya sizoni. Nasaba omulimu mu kkampani eno era nayigira ku mulimu nga nsasulwa 10,000/- buli lunaku.
Emirimu gye tukola gya maanyi kubanga okola omugongo ne gukufuuyirira. Kati nafuuka kafulu mu kuzimba. Olw’obukugu bwe nfunye wano, kati abantu bampa n’okuzimba amayumba gaabwe.
Ebbanga ery’emyaka ebiri lye maze wano nfunyemu. Nange nsobodde okwegulirayo ekibanja we hhenda okuzimba amaka gange. Wycliff Bwire, mukuumi: Batusasula wakati wa 6,000/- ne 7,000/- buli lunaku.
Okutandika okukola wano kyannyamba kubanga saalina mulimu gwa nkalakkalira. Kati nsobola okuyimirizaawo amaka gange.
Omu ku bakulira emirimu Li HongXu, yagambye nti batendese Bannayuganda mu mirimu egyenjawulo.
Bayinginiya ba Uganda 40 baabasindika e China bongere okubangulwa mu mirimu egy’enjawulo.
Ebikozesebwa ng’enkokoto basooka kugikebera mu ggezeserezo lya ssaayansi (laboratory) ne bapima seminti alina okukozesebwa, obuzito enkokoto bw’erina okwetikka n’obugumu bwayo okwo ne bagattako okugyekebejja okukakasa nti bwe bamala okuzimba ate tefuna nnyaafa.
Bayiwako amazzi buli kiseera okukikuuma nga kiweweevu.
Omwalo gwa Kasana okuli ekidyeri ekigenda mu Jinja.
DDAAMU ENNENE
Isimba eriko obuwanvu bwa kkiromita 42. Yaakuyungibwa ku Bujagali bongere ku bungi bw’amasannyalaze agafuluma n’ebbeeyi esobole okukkako wansi eri abo abakozesa amasannyalaze.
Ate ddaamu ennene zino zaakuliikirizibwa ddaamu entono ezizimbiddwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okuli: Kisizi (0.26MW), Bugoye (13MW), Buseruka (9MW), Nyagak 1 (3.5MW), Mpanga (18MW) ne Ishasha (6.5MW).
BYE BAKOZE OKUKUUMA OBUTONDE
- Bataddemu ebyuma ebikwata amaloboozi okukendeeza ebireekaana ebiyinza okutaataaganya abantu abaliraanye ebbibiro.
- Baakuzimba oluguudo olunene emmotoka ezibadde zisala ku kidyeri nga kwe ziyita.
- Baakuzimbawo ekifo we bakunganyiza kasasiro, okumusunsula n’okumukolamu ebintu eby’omugaso.
- Okuzimbawo ebitangira ettaka okutwalibwa amazzi naddala mukoka.
EKITONGOLE EKIVUNAANYIZIBWA KU BUTONDE BW’ENSI KYOGEDDE
Tony Achidria, omwogezi wa NEMA, ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi yagambye nti, “Nga tetunnaba kuwa kkampuni eno lukusa okuzimba ebbibiro lino twasooka kunoonyereza ku mbeera y’ekitundu kino.
Twatunuulira embeera yaakyo ne tukuba ne ttooci mu biyinza okuddirira ng’ebbibiro limaze okuzimbibwa.
Twasangawo amaka, ennimiro n’ekifo ekisanyukirwamu nga byonna byalina okuvaawo. Era abakola ebbibiro lino gavumenti yalina okubawa ejjinja ery’okwasa basobole okufuna amayinja agasobola okuzimba ebbibiro. Ejjinja baalifuna wansi mu ttaka mu kifo kino kyennyini.
EBYENNYANJA BISENGUSE
Ekitundu we bazimbye ebbibiro baavubangawo ebyennyanja ebyenjawulo omuli empuuta, engege, ekisinja (kino kibeera ne langi eyeefaananyirizaako kyenvu oba golodi).
Wabula byataataaganyizibwa ne biddukawo olw’amaloboozi agava mu mayinja agayasiddwa. Ebyennyanja bitya nnyo ekintu kyonna ekibikanga era kino kyabiwaliriza okusenguka.
Nb
Twabagamba dda nti Uganda nga bweri mu tropics ematizze ensi nyingi okulaba nga efuna amasanyalaze agava mu solar energy afubutuka mumusana buli lunnaku. Awo no amasanyalaze agava kumazzi nago agava kumusana bweganegatta ebbeyi yamasanyalaze wagya kubawo esuubi lingi bbeyi yago okukka wansi enyo. Olwo no Omuntu wabulijjo ave mukukozesa amanda nokutema ebibira okwagala okubimalawo mu ggwanga.
Kizibu nyo okusuubira nti nga waliwo okusasula ebbanja eddene bwelityo erya dollars 500 ate ebbeyi ya masanyalaze nayo neka wansi. Mpozzi nga waliwo okusubira nti mumwaka 2060 nga nabazzukulu bayambye ko okusasula olwo no ebbanja lino nerilyoka liggwayo okulisasula!
This gentleman says that the citizens of this country do not understand why if given shillings 10,000 to buy energy to run ones domestic need such a proposition would uplift their standard of living.
He goes on to put down the people of this country that they would rather destroy their God given natural forestry 62 percent so that they can continue to use non-sustainable power source other than try to start using a very cheap and sustainable electricity.