Catherine Kusasira omuyimbi, president gweyalonze okumuwa kumagezi kubavubuka wano mu Uganda.
CATHERINE Kusasira bwe yatuuse e South Africa yayaniriziddwa mu ssanyu abategesi b’olukuηηaana lwa NRM olugenda okwogererwamu Pulezidenti Museveni. Ebintu byatabuse ku Ssande ekiro bwe yagenze okuyimba mu kivvulu kya Bannayuganda ekyabadde e Santon mu Johannesburg.
Bwe yasuddeemu oluyimba lwa “Lino ssi ddogo, nnina mukisa bukisa”, olwo aba NRM ne bamuyiira ssente wakati mu nduulu n’emizira. Kyokka aba People Power abagambibwa nti be baabadde basinga obungi kino baakitutte ng’okubajooga. Ne beekunga okumulemesa okwongera okuyimba.
Baatandise okulekaana nti “twakoowa, mubbye eggwanga. Vvaayo, sirika, tetwagala by’oyimba”. Baabadde ng’abakkakkana ate Kusasira n’abasaanuula bwe yagambye: Nze ndi mwana wa misambwa. Temulina kye mujja kunkola.
Mwenna aboogera muli eno South Afrika mu kweyagala. Ani kummwe eyali alabyeko ku mirambo egyali mu Uganda? Ensi evudde wala okutuuka we tuli kati. Eyo gye twava gye mwagala tudde? Muwagire NRM n’enteekateeka za Museveni. Bakira ayogera bwe bamwanukula ng’abaduumire nti “vva ku siteegi.
Twabakoowa” n’ebirala. Mu kubasirisa, Kusasira yalagidde eyabadde akuba ekidongo (DJ) n’amuteeramu oluyimba lwa “Pokopoko” ng’omuzindaalo gwogerera waggulu. Kusasira yatandise okuyimba n’okuzina ne yeegattibwako abakyala bakira abamufuuwa ssente n’okuzina naye. Aba NRM olwo nabo baabadde balekaana “NRM oyee, jjuu! People Power ‘chini’” n’ebirala. Kusasira yayimbye n’amalako ennyimba ze.
Pulezidenti Museveni asuubirwa e South Afrika gy’anaayogerera mu lukuηηaana lw’aba NRM e Johannesburg ku Lwomukaaga. Entegeka z’amaanyi era waliwo abakungu ba NRM abenjawulo abaasitula edda okuttaanya enteekateeka.
Joel Ssennyonyi (kuddyo) omwogezi w'ekiwayi kya People Power ate era ne munakibiina kya NUP nga abuliriza ku Inspector General wa government kunguzi ezigenda mumaaso ku ttaka lya Buganda ne Bunyoro mu land office ya Uganda.
Aba NRM beegattira mu NRM African Chapter. Mu kiseera kye kimu, aba Bobi Wine nabo bategese olukuηηaana. Bobi asuubirwa kusitula nkya ku Lwokuna okugenda mu lukuηηaana luno omunaabeera n’okusonda ensimbi z’okumuyambako mu kalulu ka 2021. Enteekateeka za Bobi Wine zikuliddwa eyakazibwako Jjajja Ibrahim.
Kusasira yategeezezza Bukedde ku ssimu nti aba People Power okumulumba baalowoozezza nti agenze kulemesa lukuη− ηaana lwa Bobi Wine. Ekyo kikyamu kubanga ekyamutwala e South Afrika kusangulawo bulimba n’okukyusa Bannayuganda abaabula nga balimbiddwa nti Museveni mubi. “Ogwantutte ngukoze.
Balinze Museveni bamulabeko era abawe ekifaananyi ekituufu na wa Uganda gy’eraga okwawukanako n’ebibalimbiddwa okuyita ku mikutu gya yintaneti”, bwe yagambye.
Omu ku Bannayuganda abakuba ekyeyo e South Afrika, Peter Sentongo amanyiddwa nga Taata Santon abeera e Santon yategeezezza Bukedde eggulo nti basobeddwa kubanga abantu abaagenda okupakasa ate eby’okunoonya ssente babivuddeko obudde babumalidde mu kakuyege wa NRM ne People Power.
Alowooza nti aba Bobi Wine okugezaako okulemesa Kusasira baayagadde kutataaganya kukyala kwa Museveni kye batasobola kubanga oli mugenyi wa ggwanga lya South Afrika alina obukuumi bwa Gavumenti. Alowooza nti wadde Bobi alagiddwa ng’agenda e South Afrika okuyimba, kyokka agenda lwa byabufuzi.
Lwaki olukiiko lwa People Power lwakubaayo Lwamukaaga nga December 7 ate nga bamanyi nti n’aba NRM bategese olwabwe ku lunaku lwe lumu?
ABATEGESI BYE BOOGERA Franc Muhangi, Ssentebe wa NRM Youth Brigade wansi w’ekibiina kya NRM Southern African Chapter agamba nti ekyabayisa Museveni abakyalire kwagala kumusemba nga ye yekka alina okwesimbawo mu 2021 ku lwa NRM. Aba People power bwe baawulira ng’agendayo nabo ne bayita Bobi Wine.
Yalabudde aba People Power nti bwe baba bategeka kubatabula, South Afrika y’amateeka era bajja kuvunaanibwa. Poliisi ya Southern Africa Police Services (SAPS) emanyi enteekateeka zonna era ejja kubawa obukuumi obwetaagisa. Agamba nti Bobi Wine e South Afrika agenzeeyo kuyimba n’agattamu ebyobufuzi era okumulaba bagenda kusasula Rand 200, eza Uganda 45,000/-
. N’agamba nti tebatidde kubanga Kusasira naye ajja kuyimba zaabike emipiira. Omukulembeze wa NRM omulala, Boris Bede Ssentebe w’ekibiina kya Yellow Family Soldiers (YFS) ekigatta abavubuka b’e Durban e South Afrika yagambye nti bagenda kusaba Museveni akkirize ekifaananyi kye kiteekebwe ku ssente z’eggwanga ng’akabonero k’okumusiima by’akoledde Uganda.
Omwogezi wa People power Joel Ssenyonyi yategeezezza Bukedde nti, abawagizi ba NRM bakitegeere nti bo tebalina budde bwa kugoberera Museveni kubanga nabo balina bingi eby’okukola.
Agamba nti e South Africa, Bobi n’ekibinja kye baayitiddwa baweebwe engule y’okumusiima by’akoledde eggwanga n’okumuzzaamu amaanyi olw’ebyo by’akoze. Era kino baakiteekateeka dda nga tebamanyi nti ne Museveni agenda kubeera e South Africa.
Era nabo baakyekanze bwekanzi nga Museveni naye agenda. Akwanaganya People Power e South Afrika, Jjajja Ibrahim agamba nti Bobi Wine ajja kusisinkana Julius Malema akulira ekibiina kya Economic Freedom Fighters (EFM) ekimu ku biwakanya Gavumenti y’e South Afrika.
Ku Lwokutaano ab’ekibiina kya African Freedom Fighters Association bagenda kumuwa engule y’okulwanirira eddembe mu Afrika. Ku Lwomukaaga akube olukuηηaana lw’ebyobufuzi bwe lunaggwa abakube n’omuziki.
Agattako nti, aba NRM be baabayingiridde kubanga olukuηηaana lwabwe lwasooka kutegekebwa November 23, 2019 ate baagenze okulaba nga baluzizza nga , December 7, nabo kwe balina olwabwe
Nb
Kyewunyisa nyo abaddugavu bano okukyala e South Africa nebatagendako e Sharpeville abafuzi bamatwaale ate nga mwalimu nabaddugavu abasirikale mu mwaka 1960, 21 March, bwebakuba abaana abato abatanatuuka na mu University amasasi nebatta 69 abaali bekalakasa. Ate oluvanyuma yo ensi ya Uganda bi lorry bya Police eno embi enyo eye South Africa, nebigula nebitwala e Kampala. Tewali atamanyi mulimu ebimotoka bino gwebikoze wano e Kampala.
Kyetagisa okumanya obanga African Freedom Fighters Association kibiina mu Africa ekirwanira Abaddugavu be South Africa okulaba nga balina eddembe nokweddiza ettaka lyabwe nokuwona obwavu? Oba balwanira okununula abaddugavu okufuna okulonda okwobwenkanya okwa Democracy ate nga kwaddembe (free and fair) okulonda abakulembeze mu Africa. Kubanga obufuzi obwokufuga amatwaale bwo bwaggwawo dda munsi y'Africa omwali okulinyirira eddembe lyobuntu bwabatuuze b'Africa nokubanyagako ettaka lyabwe.
Online services have come to stay in the normal technology of the human life. It is like what the current saying goes that human life must start to learn to live with the pandemic of COVID19 as any other disease other than getting locked up in doors in the hope that such disease will eventually go away.