ABASUUBUZI b'omu Kampala abeegattira mu bibiina ebyenjawulo beekokkola embeera ey'ebyobufuzi eriwo naddala ebyokulonda bye bagamba nti bibanyize nnyo mu myezi omukaaga egiyise.
Nga bayita mu bibiina byabwe okuli; Kampala City Trader's Association -KACITA, Kampala Arcader's Advocacy FORUMKAAFO ne United Arcades Traders Enteprenuer's Association -UATEA omwegattira abasuubuzi abakolera mu maduuka n'akeedi ezenjawulo mu Kampala n'ebitundu by'eggwanga ebyenjawulo, baalaze engeri embeera y'okulonda gy'ekosezzaamu bizinensi zaabwe.
Mu bimu ku bye baakoonyeeko mulimu; 1. Obunkenke obuleeteddwaawo amagye ne poliisi ebiyiiriddwa mu kibuga wakati. 2. Obwavu obweyongedde mu basuubuzi olw'okwekalakaasa n'okwekuumira awaka mu biseera by'okulonda. 3. Okulemesa abasuubuzi ab'enjawulo okusuubulira ebweru w'eggwanga. 4. Okuleka abatembeeyi okuyiwa emmaali yaabwe ey'enjawulo mu kibuga wakati. 5. Ebbula ly'emirimu n'abaguzi.
Abasuubuzi okwabadde ssentebe wa KACITA, Everesto Kayondo ne munne bwe baafaanaganya emirimu mu KAAFO, Hussein Kato baanokoddeyo ensonga omuli; ey'okuyiwa amagye mu kibuga wakati n'okuleka abatembeeyi okuyiwa emmaali yaabwe ku nguudo ez'enjawulo nga bwe bikyalemesezza abasuubuzi abakolera mu maduuka n'akeedi okutambuza emirimu gyabwe, amabanja ga bbanka, emisolo, ssente z'obupangisa, amasannyalaze, kasasiro.
Bagamba nti ssente ezikozesebwa abasuubuzi nnyingi nga kiwalirizza n'abamu okusuulawo bizinensi ekikosezza eby'obusuubuzi mu kibuga.
Nb
Bano abakaaba magulu meeru abayita have your cake and eat it. Kikoffiira ebyo abadde ajja abikola nga baliira mukavuyo. Agaddewo ne social media abasirikale be ne police baleke kulaba mazima agaliwo bamugobe. Kakati weeks bbiri namba.
Ho!!Kati nno mugenda kuwolomera ddala nga mpologoma kubanga kikofiira si musanyufu nti mu Kampala temwamukombya ku kalulu yadde!Agenda kubassa obwavu namwe mukitegeere.Mugya kumattira nti omutima talina!
Obusuubuzi bwensi nyingi ebiro bino butambulira nyo ku internet ne social media. Obanga bigaddwawo munsi enamba, mwe abasuubuzi munasobola mutya okwekolera emirimu gyammwe ate ne governmenti eno nga eyagala nyo omusolo oguva mumirimu gyemukola? Era mpozzi nga mulinga abakaaba amazima gagoonya kakati emyezi mukaaga!