ENGERI abantu gye bawambibwa n’okuttibwa mu ggwanga kikuleetera okwebuuza nti “ddala ani anaaluyitako?”
Ye abaffe bino binaakomawa? Omwaka bukya gutandika emisango egisukka 50 giroopeddwa ku poliisi egyabantu ababuziddwawo abamu ne basangibwa oluvannyuma nga battiddwa naddala abakazi.
Ekibi nti abakwatiddwa ba lubatu. Abalala tebatawaana kugenda ku poliisi ensonga bazimala na bazigu abawamba. Abawamba okumanya beesomye , babaggya awaka, ku mirimu ne mu kibuga wakati mu ppaaka za ttakisi awali abantu abangi. Okunoonyereza kwa Poliisi kulaga nti abawamba abamu bakikola kufuna ssente, okusadaaka, okwagala okutta, okwewamba n’ensonga endala.
Eby’okuwamba abantu n’okubatta si lye ttemu erisoose okubeerawo mu ggwanga kuba n’ekittabakazi kyaliwo omwaka oguwedde. Wakati wa May 3 ne September 4, 2017, abakazi abawera 21 battibwa mu bifo eby’enjawulo e Nansana ne Katabi Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso. Emirambo egyasuulibwa e Nansana gyali gisobezeddwako n’okusonsekebwa ebiti mu mbugo.
Poliisi yategeeza nti ettemu lyalimu ensonga z’omukwano, eby’okusaddaaka, enkayaana z’ettaka, ebya Yiruminati awamu n’obutabanguko mu maka. Okwandibadde okutereera ate we wajidde eby’okuwamba abantu nga bwe basaba ssente.
Omwaka gwa 2008 gujjukirwako nnyo olw’okubeeramu eby’okusaddaaka abaana. Ettemu lya Joseph Kasirye 12, eyasalibwako omutwe omusawo w’ekinnansi Umar Kateregga ng’ayambibwako mukyala we Mariam Nabukeera abaakolera ku biragiro by’omugagga Kato Kajubi, eyasalirwa okusibwa amayisa e Luzira lyatiisa nnyo abantu.
Museveni lwe yasisinkana Shamsa Nakitto (ku kkono) eyasimattuka ng’ali ne mugandawe.
ABAWAMBIDDWA BASUKKA 50 BUKYA MWAKA GUTANDIKA
Ashraf Bukenya 4, yawambibwa abantu abataategeereka oluvannyuma ne bamusuula e Kawanda ku ntandikwa ya January w’omwaka guno. Eyamuwamba wadde nga yakubiranga bazadde be essimu ng’ayagala bamuwe ssente naye takwatibwanga. lBetty Namwirya 34, ow’e Bugoloobi nga mukozi mu Opportunity Bank e Kampala yawambibwa n’asuulibwa ku luguudo lw’e Masaka.
Abantu bataano baakwatibwa nga bateeberezebwa okuba nga baliko kye bamanyi. Marion 5, owe Kasubi yawambibwa nga February 1, 2018 kyokka oluvannyuma n’asangibwa ng’asuuliddwa ku kkanisa ya Innerman Church e Kasubi ng’akyali mulamu era n’akwasibwa bazadde be.
Tewali muntu yakwatibwa. Fatiima Ssendagire nga muwaabi wa Gavumenti yawambibwa okuva e Kasangati, kyokka oluvannyuma n’azuulwa nga mulamu bulungi. N’okutuusa kati tewali muntu yali akwatiddwa.
Susan Magara 28, eyali omubazi we bitabo mu kampuni ya Bwendero Dairy Farm yawambibwa nga February 8, 2018 oluvannyuma lwa wiiki ssatu baasanga omulambo gwe gusuuliddwa e Kigo mu disitulikiti ye Wakiso. lAbantu mwenda baakwatibwa ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road eyabasindika ku limanda e Luzira okutuusa nga June 1, 2018. lNorman Wegulo yawambibwa nga January 14, 2018 kyokka oluvannyuma n’asangibwa ng’asuuliddwa e Makindye mu Kampala.
Waliwo abayiggibwa abateeberezebwa okumuwamba. Diamond Kyabakera 20, yawambibwa nga January 17, 2018 oluvannyuma n’asuulibwa ku luguudo lwa Kafumbe-Mukasa mu Kampala. Yasangibwa ali mu mbeera nnungi era ng’agambibwa okumuwamba takwatibwanga.
Waliwo omwana eyawambibwa oluvannyuma n’asuulibwa e Katooke era ng’omusango guli ku fayiro CRB 53/2018 ku poliisi ye Katooke. Bazadde b’omwana baamufuna nga mu kiseera kino abantu babiri okuli; Hudson Mugala ne Godfrey Musanje banoonyezebwa okusobola okuyambako.
Molly Nayebale 30, yawambibwa oluvannyuma n’asuulibwa e Ruwamanje Kamwenge. Omusango guli ku CPS mu Kampala ku fayiro SD FREF44/08/02/2018. James Kakuli ateeberezebwa okuba nga ye yamuwamba anoonyezebwa. lDesire Kahunde Resty 3, yawambibwa okuva e Kyenjojo n’asuulibwa e Mubende. Yusuf Atuhairwe anoonyezebwa olwe bigambibwa nti yali embaega w’okuwamba kuno.
Generous Kyahairwe yawambibwa oluvannyuma omulambo gwe ne gusuulibwa e Nalukolongo. Monday Baliraine y’ateeberezebwa okuba emabega w’ettemu. lNdagijemana yawambibwa era omusango ne guggulwawo ku poliisi ye Najjanankumbi ku fayiro namba SD REF; 06/10/04/2018. Timothy Kisolwa eyali atambulira ku piki yawambibwa abantu abatategeerekeka, kyokka ye wadde baamuta naye piki ye baagendanayo.
Waliwo abaana abaawambibwa ne basangibwa mu bifo ebyenjawulo e Katooke mu munisipaali ye Kawempe. Omusango guli ku poliisi ye Katooke ku CRB 53/2018. Waliwo abaakwatibwa bayambeko mu kunoonyereza. lImmaculate yabula naye oluvannyuma n’azuulibwa ng’ali e Mbuya mu kitundu mwe yabulira. Kigambibwa nti yandiba nga yali abuze bubuzi, kuba oluvannyuma yeekomyawo yekka awaka.
Dick Muzoora yabula, kyokka Poliisi yamunoonya n’emuzuula ng’ali e Mbarara. Kigambibwa nti yali yeebuzizzaawo. Paul Mukonyezi 11, yawambibwa okuva e Kyenjojo, kyokka Poliisi bwe yanoonyereza yamusanga yeekukumye mu maka g’owoluganda lwe omu e Kyenjojo.
Tendo Nakitende 2, yawambibwa okuva e Kawempe n’asangibwa e Kayunga ng’akyali mulamu bulungi. lKassim 3, yawambibwa Yaaya okuva ewaka e Mubende n’asuulibwa mu ppaaka ya takisi mu Kampala, oluvannyuma lw’okukitegeera nti baali bamulinnya akagere buli w’alaga.
Paul Mukonyei 11, yawambibwa nga April 13, 2018 bwe yali ava ku ssomero e Kyenjojo. Oluvannyuma kyazuuka nti ekituufu baali tebamuwambye, wabula yali yeggamye nkuba mu maka agamu era yasangibwa ali bulungi.
Rehema Naluze 17, yawambibwa ng’ava e Lugazi ng’agenda e Luweero nga April 14, 2018 n’asuulibwa e Kawempe abantu abataategeerekeka. Yategeeza nti abaamuwamba baamusobyako n’oluvannyuma ne bamusuula ku kkubo.
Abeera Ttula Kawempe ne bazadde be. lAgnes Nyangoma 29, n’omwana we ow’omwezi ogumu n’ekitundu baawambibwa nga bava e Bundibugyo bajja e Kampala. Denise Aboo, Michael Mark Kawalya ne Rabson Kisembo baakwatibwa okuva e Maganjo nga kigambibwa nti baliko kye bamanyi.
Lowena Ella Murungi yawambibwa okuva mu kabuga ke Kinoni mu disitulikiti ye Mbarara era yasangibwa attiddwa. Abantu abawerako abagambibwa okwenyigira mu ttemu baakwatibwa okuli; Benson Ngasirwe, Amon Kamugisha, Martin Mujuni ne Oben Mujuni.
Sandra Namakula 21, yawambibwa okuva e Nateete nga April 18, 2018 era omusango ne guggulwawo ku Kakajjo Police Post ku fayiro namba SD 15/18/04/2018. Abanoonyereza baakizuula nti yali akwatiddwa amagye nga balowooza nti yaliko byamanyi ku ttemu lya Susan Magara.
Slarah Nasirye yeebuzaawo okuva e Kireka n’alowoozesa abantu nti yali awambiddwa. Yakwatibwa n’atwalibwa ku poliisi ye Kireka nga yasangibwa ali mu mbeera nnungi.lPeace Asiimire yawambibwa okuva e Mitooma mu disitulikiti ye Bushenyi oluvannyuma yasangibwa ng’asuuliddwa okumpi ne kitebe kya Munisipaali ye Lubaga. Julius Atwebembire yakwatibwa ku musango guno n’akwasibwa Poliisi ye Mitooma gye yaddiza omusango.
lSharon Nuwasasira yawambibwa okuva e Lyantonde ne bamusuula e Nakulabye mu Kampala. Alex Mwine akyanoonyezebwa ku bigambibwa nti alina kyamanyi ku by’okuwamba kuno.
lRobert Tusiime 19, omuyizi wa Bubukwanga S.S mu disitulikiti ye Bundibugyo yawambibwa abantu abatamanyiddwa ne batandika okukozesa essimu ye okusaba abantu ssente, kyokka oluvannyuma yazuulibwa.
Edrina Nalule 18, eyali omuyizi wa YMCA yawambibwa abazigu ne bakubira bazadde be essimu nga babasaba obukadde 10 okumuyimbula. Baamusalamu olulimi ne bbeere n’eriiso erimu nga ligiddwamu.
Omulambo gwasuulibwa e Lubaga ku Ssande nga May 6, 2018. Waliwo omusumba Leonad Wambazu eyakwatibwa n’omusamize eyakkirizza nga bwe yeenyigira mu ttemu lino. lBabra Kwaga 30, eyali akola ku bbaala ya Hotline e Kawanda ku lwe Bombo yawambibwa ava mu bbaala mu kiro ekyakeesa ku Lwokutaano nga May 11, 2018.
Baamusobyako ne bamutta omulambo ne bagusuula mu ofiisi za NRM e Kawanda. Francis Katabira ssentebe wa NRM yakwatibwa. lAbatuuze b’omu Kirokole eKawempe baagwa ku mulambo gw’omuwala ateeberezebwa okuba mu myaka 24 nga gusuuliddwa mu kisiko ku Lwokutaano nga May 11, 2018. Abe by’okwerinda baategeeza nti omugenzi yali anyooleddwa ensingo era oluvannyuma omulambo gwatwalibwa mu ddwaliro e Mulago.
Rose Nakisekka 17, yawambibwa okuva mu ppaaka ya takisi enkadde mu Kampala yasangibwa attiddwa ng’omulambo gusuuliddwa e Nalumunye. lOmusajja eyali awambye Teddy Ruzindana 5, muzzukulu we yali omubaka wa Palamenti Joram Pajobo yamutwala n’amusuula ku kikomera kya jajjaawe ku kyalo Nakazadde mu disitulikiti ye Buikwe oluvannyuma lwokumusindikira akakadde kamu ku Lwokubiri nga May 15, 2018. Kyazuulibwa nti olukwe lwalimu Yaaya wa waka era yakwatibwa.
Emirambo gy’abaana babiri okuli; Israel Namaleega 4, ne Dorcus Nakiwunga 2, gyasangibwa kisuuliddwa mu mwala e Naluvule ku kyalo kwe baali babeera ku Lwokutaano nga May 11, 2018.
Abazadde okuli Charles Katende ne Christine Nantume n’okutuusa kati bakyebuuza eyatta abaana baabwe ne kye yabalanga. lShamusa Nakasujja 19, eyawambibwa omusajja omu mu ppaaka ya takisi enkadde yasimattuka okuttibwa oluvannyuma lwokwesimattula n’afuluma mu nju mwe baali bamusibidde mu Kisenyi. Eyamuwamba yali amutwala mu ppaaka ya Usafi gye yamutegeeza nti we waali emmotoka ezigenda e Ndejje ekyaddirira n’amukuba kalifoomu.
Abooluganda ne mikwano gya Christine Nabichwu owe Manyangwa mu Kasangati Town Council bali mu kutya oluvannyuma lw’omuntuwaabwe okubuzibwawo ku Mmande nga May 21, 2018 oluvannyuma lw’abantu abatategeereka okumukubira essimu. Baasembyeyo okufuna essimu nga babagamba okubasindikira obukadde 10.
POLIISI EYISIZZA EBIRAGIRO KU BASIRIKALE ABAKWATA ABANTU Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola alagidde abaserikale wamu n’abeby’okwerinda bonna ababa bagenze okukwata abantu okusookanga okweyanjula n’okunyonnyola gye batwala omukwate kimalewo abantu okulowooza nti bawamba abantu.
Ochola yategeezezza nti nga balwanyisa abawamba abantu, kyokka ate mulimu n’abantu abattukizza enkola y’okwewamba. Abakikola yabasabye okukikomya kuba musango era anaakwatibwa mu mbeera eno ajja kuvunaanibwa mu kkooti z’amateeka. Abasinze okwewamba kizuuliddwa nga babeera baagala kufuna ssente okuva mu beng’anda, abakyayiddwa awamu n’ababa babulankanyizza ssente okuva ku mirimu.
Abantu ababa bawambiddwako abantu baabwe yabasabye obutageza kuwaayo ssente abazigu ze babasaba okusoboola okuyimbula abantu baabwe. Balina kutegeeza Poliisi ku buli ekiba kigenda mu maaso n’esobola okulondoola abatemu.
Era yasabye abazadde obutalagajjalira baana baabwe wabula bafeeyo okumanya entambula zaabwe n’emikwano gyabwe kiyambe okumanya gye balaze n’obudde bwe batambuliramu. Singa omuntu abeera abuze nga kiteeberezebwa nti awambiddwa, ab’oluganda ne mikwano balina okutegeeza poliisi nga bukyali okunoonyereza kusobole okutandikirawo nga bukyali. Yasabye abantu okujjumbira okukubira poliisi essimu ezitali zaakusasulira zeyataddewo okuli 0800199990, 0800199991 ne 0800199992 nga zino zaatereddwawo abantu okutegeza poliisi ku bantu abawambiddwa.
LWAKI POLIISI EREMEDDWA OKUKWATA ABAWAMBA ABANTU
Patrick Onyango amyuka Omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti ekirwisaawo poliisi kiva ku bannanyini bantu ababa babuze okulwawo okutegeera ate ne bwe bamanya tebanguwa kutegeeza Poliisi, ekikeereya okunoonyerezabudde kigiyamba okutambula n’okunoonyereza nga bukyali okusobola okutegeera ebifo abazigu mwe bayinza okubeera n’ebakwata, saako n’okununula awambiddwa nga tebanatuusibwako bulabe. Yagambye nti abantu abawera 14 abali mu kabinja akiwamba abantu bakwatiddwa ate nga n’abalala bangi bakyayiggibwa kuba tebatudde.
Weewale okutambula wekka obudde bwe kiro naddala ng’oli mukazi mu Uganda ya leero. Tomala gakyamuka kugenda kukyakala ng’oli mu mmotoka y’omuntu gwoteekakasa nnyo.
Kizuuliddwa nti olumu n’abavuzi ba boodabooda bakolagana n’abatemu. Bwobeera olina wotambuddeko, beerako abantu waakiri bataano b’otegeezaako. Oyinza okuweereza obubaka ku ssimu ng’obabuulira ekifo w’oli, omuntu gw’oli naye ng’oweereza obubaka ku ssimu.
Bwobeera mu bifo by’abantu abangi bw’obeerako kye weebuuza kirungi okwegendereza omuntu gw’osaba obuyambi. Ebifo naddala eby’abantu abangi, bikuhhaniramu abawamba. Bw’obeera olina essimu eya smart phone, kakasa nti GPS ogitaddeko kuba kiyamba okulondoola ekifo w’oli. Bw’oba ogenda okulinnya emmotoka yonna weetegereze ennamba y’emmotoka era oluba okutuula giweereza omuntu gwe weesiga mu bubaka bw’essimu.
Emmotoka ezisimba ku makubo naddala wabweru wa takisi nazo zizuuliddwamu ebizibu. Bwe weesanga mu buwambe olina okubeera omugonvu ennyo eri abaakuwambye ng’okola buli kye bakugambye. Jjukira tebalina kye bafiirwa bwe bakutta. Gezaako okwogeraganya obulungi n’abakuwambye bwe baba bakuwadde omukisa.
Engeri gyoyinza okwewala okuwambibwaOmwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Emiliano Kayima awabudd ku ngeri gy’oyinza okwewala ekiwamba bantu; • Bwolaba abantu batamanyiddwa mu kitundu kyammwe ng’abatuuze mubabuuze nsonga eba ebaleese n’ebibakwatako nga densite.
• Weewale abantu abakukubira amasimu nga bakusuubiza okukufunira emirimu, Visa, oba diiru ey’ekika kyonna. “Abantu ab’ekika kino ebiseera ebisinga bw’abakuyise akugamba obutajja na muntu yenna.
• Tegeeza abantu bo nga babiri oba basatu wa gyolaga n’ani gwogenda okusisinkana era n’obudde bwosuubira okumalayo.
• Abazadde mu buulirire abaana ku kiwamba bantu bamanye kiki ekigenda mu maaso n’engeri ey’okukyewala. Babuulire obuteesiga muntu yenna newankubadde balaba nga gwe bamanyi kubanga abasibga okuwamba abaana beebo abookulusegere.
• Weetegereze ebikwata ku yaaya gwolese mu maka go okugakuuma n’abaana bo.
• Weekengere takisi oba bodaboda gyolinnya era bwe wabaawo kye weekengedde kuba enduulu ofune obuyambi.
• Ye adduumira Poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola agamba nti ssinga omuntu akukubira essimu n’akusaba ssente ng’akugamba nti awambye omuntu wo, ekisookera ddala tegeeza ku Poliisi ng’oyita ku nnamba z’essimu ezitali za kusasulira okuli; 0800199990, 0800199991, oba 0800199992, basobole okubayamba mu budde.
Nb
Ffe abamu tujjukira bulungi okulemwa kwa Military Police ya Obote 2 okunonya, nokukwata abaali bakulira obumenyi bwamateeka mu myaka emizibu enyo egyensi ya Uganda mu 1980/86! Abafiirwa abantu babwe baali bangi nyo ddala.