P O Box 5946, Kampala, Uganda
Mob: 0712-845736, 0712-810415
Date: 18th May, 2018
Ssabasajja Kabaka,Muwenda Mutebi,
Lubiri - Banda,
Kampala.
Ayi Ssabasajja Businze,
Ensonga:
BUGANDA N'ABALABE BAAYO:
Ayi Ssabasajja tukwebaza nnyo olwa kaweefube gw’okoze, gw’okola ne gw’onookola olw’okutaasa n’okuzimba Nyaffe Buganda. Ayi Magulunnyondo, tukwebazizza nnyo nyini.
Mukama waffe Ssemunywa, olw’okubanga Buganda n’obwakabaka biringa bye wamerusa obumerusa, abazuuzuzuuzi n’abalabe baabyo baafuna omwagaanya munene nyo obwakabaka okubuwagikamu ebizuulezuule n’ebitetenkanye ebitufuukidde ekyambika ekinene olw’engeri gye bitaataaganya n’okuwabya entambula n’okubeerawo kwa Nyaffe Buganda! Ebyembi ennyo, abazuuzuzuuzi baakozesa nyo omwagaanya gwe twogeddeko waggulu, okukwefunza bo ne bakuteekako akakomera akaakugobako ab’obusolya n’abazzukulu, ne bafuna omukisa munene nyo okukuwabya n’okukukozesa eby’obuzuuzizuuzi n’ebitetenkanye byabwe, nga tolina akuyamba kukuwabula!!!
Kwini bwe yakakaatika Nyaffe Buganda mu kitondekye ekya Uganda mu 1962, awo ekizibu kya Buganda e kinene ennyo we kyatandikira!! Ekigendererwa kya Kwini okutondawo Uganda kyali era kiri kusigala ng’amawanga gaffe gannansangwa ng’akyagasibidde mu njegere z’obuddubwe, ng’asinziira mu United Nations!! Awo kye yava agattika amawanga gaffe agaatondebwa nga buli limu lirina emigabo gyalyo egy’obwebange era egy’enjawulo nga gikuumibwa Nono bulombolombo obwa buli gwanga eryo.
Omugabo ogusookera dala Tonda gwe yawa buli gwanga ky’ekitundu (territory) eky’obwebange mwe yaliwanga, n’olw’ekyo ly’erinnya “Ggwanga oba Buwangwa” ebiva mu kigambo “Kuwanga”!!!.
Mukama waffe, kati emyaka gyekulungudde mingi ng’abeewaayo okulumirirwa Buganda eve mu Buddu bwa Kwini, n’olwekyo obwa Uganda, nga bakiraba era nga bakikakasa nti “Okuggyako Nyaffe Buganda ng’ekutudde enjegere z’obuddu ezaamusibirwa mu Uganda, siwayinza kubeerawo suubi, wadde akatono, lya Nyaffe Buganda kufuna wadde akanyiikuuli k’emirembe egyamutonderwa!!!
Ayi Magulunnyondo, olw’okubanga Eddiini, obuyigirize ne sente byatuziba amatu, amaaso, emimwa wamma n’amagezi, Tonda afubye nyo okutusumulula mu njegere z’obuddu bwa Kwini, naye nga .ffe b’agezaako okununula tuli ng’ebikoko ebirundire mu kiyu, ebiwebwa eddembe ly’okuva mu kiyu byetaaye ate byo ne bidduka nga bidda mu kiyu!!!.
Ayi Ssabasajja, bakadde baffe abaaliwo mu 1962 nga Kwini akakaatika Buganda mu kitondekye ekya Uganda, baasobola nabo okuwaliriza Kwini okukola endagaano eyafuula Uganda ensi entongole, n’ekakaatika Nyaffe Buganda n’amawanga amalala mu Uganda, n’etondaawo gavumenti ya Uganda n’ebigigenderako era Buganda mwe yapangisiza gavumenti ya Uganda Sq. mile emu ey’ettaka e Kampala ne ika 10 e Ntebe gavument ya Uganda ekolerengako emirimu gyayo.
Mu 1966, gavumenti ya Uganda yamenyawo endagaano eyali egitondawo wamu nebirala bye tulabye!!! Kyennyamiza nyo okulaba nga okuva mu 1966 n’okutuusa kati, Abaganda amaaso, amatu, emimwa, n’emitima gyaffe tebituyambanga kumanya nti Tonda yamenyesaawo gavumenti ya Uganda endagaano eyali egitondawo n’ebirala, Tonda nga akigendereramu kununula, Nyaffe Buganda!!! Endagaano ya 1962 weetali, ate bye yatondawo byonna bisigalawo bitya, bwe tuba nga tetuli bakateeyamba ba kumanya, kutegeera na kufaayo!
Ggwe ate olaba tukooloobya oluyimba lwa federo okumala emyaka n’emyaka nga tetufangayo kumanya makulu ga federo, egasaki, biki by'etasobola kutuwa, eyogerwako ddi? Esabwabusabwa era egabwabugabwa?, efunibwa etya n’ebirala!! Ekizibu kyaffe, Ai Ssabasajja, ssi butabeera na federo, wabula ekizibu kyaffe bwe bufuge n’Obuddu bwa Uganda, n’olwekyo obwa Kwini, bwe tulimu. Olw’okubanga oluyimba lwa federo lwe tukooloobya lutegeeza kukaabirira kulya kibanja mu Uganda ekiyitibwa “Federo” n’olwekyo, tuba tukaabirira Buganda kugizzaamu lwambalizo lwa bufuge na buddu Kwini lwe yatuteekamu mu 1962!!
Ekigambo “federo” ffe Abaganda ssi ffe twakireeta.
Oluvannyuma lw’Obuganda okugaanira dala okuyingira n’okuyingizibwa mu mugattiko gw’amawanga oguli mu Uganda, Obuganda ne butuuka n’okusalawo okukomya endagaano ze bwali bukoze ne Kwini wamu n’okulangirira okwefuga kw’eggwanga Buganda mu 1959, Kwini Obuganda okubusuuzaawo okwefuga kwe bwali bulangiridde, Obuganda yabuwa enfuga ya federo ng’abulimbye nti federo nayo yali yenkana n’okwefuga, naye ng’esinga okwefuga Buganda kwe yali erangiridde mbu, kubanga federo yali ejja kusobozesa kabaka wa Buganda okufuuka kabaka wa Uganda yonna!! Ku lunaku lwa 09-10-1962 ekiro, Abaganda e Kololo twavaayo nga tutolotooma olw’obutalaba Kabaka Muteesa II ng’afuuka Kabaka wa Uganda yonna. Wabula ng’obuyinza Kwini ngabukwasiza Obote kulwa Uganda gyatalina nayo ndagaano!!!
Buno obujulizi bumala bulungi okwoleko federo nga bwe luli olwambalizo lw’obufuge n’obuddu!!!.
BUGANDA OBUTABEERA KU MAP YA UGANDA
Ai Ssabalongo, Kwini bwe yamala okukakaatika Nyaffe Buganda mu kitondekye ekya Uganda, awo map ya Uganda yonna n’ekubwa mu butongole nga n’eggwanga Buganda kweriri!!!
N’olwekyo, Buganda okubeera ku map ya Uganda ssi kintu kya sanyu na kwenyumirizaamu eri Abaganda abafaayo okulondoola ensonga za Nyaffe Buganda.
Mukama waffe Ssabasajja, ow’eryanyi bw'amala okukuwamba n’akusibira era n’akukuumira mu makaage n’akutuuma n’erinnya ly’ekikakye, oluvannyuma ekisenge mw’osula n’akikugobamu era n’awera okuwulira erinnyalyo mu makaage, olwo ate ng’okaabirira okukuddiza ekisenge oddemu okubalirwa mu maka ago??!!! Manyanga aba akuddizza eddembelyo weetambulire!!! Endagaano eyatukakaatika mu Uganda gavumenti ya kwini gye yaleka wano yagimenyawo, federo eyakozesebwa okutulesaawo okwefuga kwaffe okwa 1959 tumale tuyingizibwe mu Uganda, federo baagituggyako, ku map ya Uganda baatusangulako, olwo atubaguliza tulinze wa kigwo?!! Kati ate ebintu nga bino tukaabirira byaki? Awo tetufuuse bikoko bizungu bye baddiza eddembe ly’okwetaaya ate ne bidduka nga bidda mu kiyu??!!! Ebintu nga bino twandibadde tubyogerako mu ngeri ya kwetakkuluza n’okwenunula mu bufuge, obuddu n’omugattiko gw’amawanga ebitutadde wakati mu gazibu agangi ennyo, so ssi kubikaabirira bukaabirizi ne lufuuka oluyimba. Kati Buganda okugizza ku map ya Uganda tukifunamu kalungi ki??
KABAKA WA BUGANDA N’ENDAGAANO
Mukama waffe Magulunyondo, Appolo Kaggwa Katikkiro wa Kabaka MwangaII bwe yeekobaana n’Abangereza ne bawandiika endagaano ya 1894, bwe baagireetera Kabaka Mwanga yagaana okugiteekako omukono kubanga okusooka, ebyalimu byali bya kuwaayo Gwanga Buganda eri Abangereza, ekyokubiri, Obuganda ssi bwe bwali bugiwandiise.
Omulyolyomi Appolo Kaggwa bwe yagiteekako omukono, ye, n’Abangereza bwe baatanula okugiteeka mu nkola, awo Kabaka Mwanga II we yatandikira olutalo lwe ku Bazungu!!!
Olutalo lwa Mwanga II ku Bazungu lwakomekkerezebwa mu kumuwangangusa na kutwala Katikiro Appolo Kaggwa, Mwanga II gye yali, Kaggwa n’amukuba amasasi abiri (2) mu bulago agaamutta, basobole okuteekako Omulangira Chwanabakka eyali ow’omwaka ogumu!!!.
Omulangira Chwanabakka olwalya Obuganda, Katikkirowe Appolo Kaggwa n’aggyayo empapula n’ekkalaamu n’akola endagaano ye eya 1900 n’Abangereza!!! Kabaka Chwanabakka II bwe yaweza emyaka 18 egy’obukulu, Kaggwa n’Abazungu ne bamuleetera Endagaano yaabwe eya 1900 agiteekeko omukono Kabaka Chwanabakka II yagaana okugiteekako omukono. Kubanga, okusooka, ssi ye yagikola, ekyokubiri, Obuganda ssi bwe bwali bugikoze. Okunyigirizibwa ennyo ku nsonga eno, kwe kwavaamu Kabaka Chwanabakka II okwabulira obulamu bw’ensi eno!!!
Ayi Ssabasajja, gavana wa Kwini bwe yalagira Kabaka Muteesa II okuteeka omukono ku biwandiiko Obuganda bye bwali butamanyi, Kabaka Muteesa II yagaana okubiteekako omukono ebbanga gwanvu nyo ekyamuviiramu okumuwangangusa mu 1953!!
Mukama waffe, ebyafaayo bya ba Ssekabaka abasatu tubiggyeeyo olw’okwagala okwoleka nti, nga bwe kiri nti Kabaka wa Buganda takola oba tayogera Obuganda kye butamugambye, ne ku nsonga y’endagaano Obuganda tabukolera ndagaano era ne bwe kuba kugissaako mukono, Obuganda bwe bumala okugiwandiika ne bulyoka bugimuwa agisseeko omukono, bwe buba bwagadde.
Ai Ssemunywa, wano jjo ly’abalamu, mu 2013, Kabaka wa Buganda yakkiriza Katikkirowe Mayiga okumukukusa n’amutwala ewa Pulezidenti Museveni, Kabaka n’ateeka omukonogwe, mbu kulwa Buganda, era mu kyama, ku bipapulapapula ebyayitibwa, mbu “Endagaano” wakatiwe ne Gavana wa Kwini, Museveni!!!
Wano Kabaka wa Buganda yawubisibwa kinene nyo n’amenya empisa n’akalombolombo K’obwakabaka bwa Buganda!!! Wadde ebipapulapapula bye yateekako omukono bonna abaali mu butaliimu buno baalowooza nti baali basobola okubikuuma nga bya kyama, naye Obuganda bwasobola bulungi okubifunako kopi nyingi buli eyayagala okubifuna n’abifuna.
Ebipapula bwe tubisoma, obutafaanana na ba Ssekabaka, Mwanga II, Chwa II ne Muteesa II abaawaayo obulamu bwabwe baleme okuwaayo Ensi yaabwe, ku luno Kabaka wa Buganda yakkiriza okugabulira Gavana wa Kwini, Museveni amasaza g’obwakababwe, nga Bugerere, Buruuli n’amalala, okwo kwe yagatta ettaka eriri wano na wali!!!
Na buli kati tukyawulira enkiiko ezituuzibwa olw’okulondoola n’okuteeka mu nkola ebiri mu bipapulapapula bino eby’Ekivve!!!
Wangaala Buganda onunulwe mu Buddu.
Awangaale Ssabasajja Kabaka.
Jjunju-Kamulali
Ssentebe