BAZUUKULU BA BUGANDA RADIO INTERNET.COM 88.8/89.2

Abavubuka mwenyigire mu bulimi - Kabaka awadde amagezi:

 

8th December, 2014

 

By Dickson Kulumba ne Paddy Bukenya

 

Kabaka ng’awuubira ku bantu be ku mbuga y’eggombolola y’e Buwama mu ssaza ly’e Mawokota e Mpigi ku Lwomukaaga ku mikolo gy’Abavubuka mu Buganda.

 

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abavubuka okwongera okwegatta 

beenyigire mu bulimi nga balima ebirime eby’ettunzi okusobola okwekulaakulanya.

Omutanda ng’ali ku mikolo gy’abavubuka mu Buganda ku mbuga y’eggombolola y’e Buwama mu ssaza lya Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi ku Lwomukaaga, yawadde abavubuka amagezi okukozesa ebifo ku masaza ne ku magombolola okukolerako emirimu egy’enjawulo egy’enkulaakulana

n’asiima abatandiseewo emirimu ne bayambako n’abalala okwebeezaawo.

 

 

Ente Omubaka Kenneth Kiyingi Bbosa (Mawokota South) gye yatonedde 

Ssaabasajja ku Lwomukaaga. 

 

Kabaka alagidde abavubuka okwekebeza Kabaka yakubirizza abavubuka okwekuuma:

 

“Omwaka guno tujjukiziddwa ensonga y’ebyobulamu. Abavubuka tusaanye okwekuuma nga tuli balamu, okwekebeza buli mwaka kubanga si kirungi okugenda mu ddwaaliro nga tumaze okugonda ate omuvubuka alina okulya obulungi.”

 

Katikkiro Charles Peter Mayiga yakunze abavubuka okukozesa emikisa Kabaka gy’abatee

reddewo; mu by’obulimi beekwate BUCADEF n’okuyingira Ssuubiryo Zambogo SACCO.

 

Omulamwa gwabadde; Omuvubuka omulamu ate nga mukozi ye nnamuziga w’enku

laakulana mu Buganda, era wano Minisita w’abavubuka e Mmengo, Henry Ssekabembe, we yategeerezza nga bammemba ba Ssuubiryo Zambogo SACCO bwe batuuse ku 1,500 nga kati balinawo n’obukadde 285.

 

Abamu ku Baamasaza ku mukolo gw’Abavubuka mu Buganda e Mawokota ku Lwomukaaga.

 

Omukolo gwetabyeko; ssentebe w’abavubuka mu Buganda, Richard Kabanda, Kayima David Ssekyeru, Katikkiro eyawummula Dan Mulika, sipiika wa Buganda Nelson Kawalya n’omumyuka we Ahmed Lwasa, Minisita Amelia Kyambadde, Omubaka Kenneth Kiyingi Bbosa (Mawokota South) ssaako baminisita b’e Mmengo, abakulu b’ebika n’Abaamasaza.

Abayimbi; Mathias Walukagga ne Fred Ssebbale be baasanyusiza abantu ba Kabaka.

The first bank in The Ganda Kingdom:

By Henry Lubega
 

Posted  Sunday,1 st March,  2015 

  

Before 1906, there was no banking institution in Uganda until November of the same year when the national Bank of India opened its first branch in Entebbe, and four years later it opened the first bank in Kampala, although it was later taken up to become Grindlys Bank.

The National Bank of India was followed by Standard Bank of South Africa Limited when on September 19, 1912, it opened its first branch in Kampala. And a few years later it opened another branch in Jinja.

Barclays

Barclays followed in 1927 when it opened two branches in Kampala and Jinja. In 1954 three more banks; Bank of Baroda, Bank of India and The Nedelandsche Handel-Maatschappij M.V (Netherlands Trading Society) opened in Uganda.

According to Saben’s commercial directory and handbook of Uganda, as early as 1949 the banking system had been established in Uganda but did not control much of the financial liquidity that was in circulation across the board in the country.

“Much of the money was controlled in the bazaars and other channels which were predominantly controlled by people of the Asian origin. These people played a key role in the buying of cotton.

However, areas where banks were non-existent, merchants in those areas played the part of the banks. This was through taking drafts in exchange for cash or physical items in exchange for hard cash,” Saben wrote.

By 1950, it was realised that to bring more Africans into the business there was need to provide them with credit. Unfortunately, the commercial banks at the time would not extend credit to Africans because of the nature of their securities.

Under Ordinance number 20 of 1950 the Uganda Credit and Saving Bank was created purposely to extend credit facilities to Africans with the aim of furthering agriculture, commercial building and co-operative society purposes.

On October 2, 1950, the bank was opened and by 1961 it had spread to places like Arua, Fort Portal, Jinja, Soroti, Gulu, Masaka and Mbale, taking only African deposits.

Building Society

Two years later, the first Building Society in Uganda was opened as a subsidiary of a Kenyan owned firm Savings and Loans Society Limited. 

More financial institutions continued to open up in Uganda with Lombard Bank from Kenya, in partnership with Uganda Development Corporation, opening the Lombank Uganda Limited in 1958. It was this bank which first introduced the hire purchase system of shopping in Uganda.

It was not until 1966 that through an act of Parliament that Bank of Uganda was created. Prior to this, issues to do with money were handled by the East African currency board which had its head offices in Kenya.

OMUZIRO:NGEYE

 

AKABBIRO

KKUNGUVVU OR

EMMUNYUNGU

 

OMUTAKA

KASUJJA NKALYESIIWA

 

OBUTAKA

BUSUJJU

 

ESSAZA

BUSIRO

 

OMUBALA

Tatuula asuulumba busuuluumbi

 

 

Tewali nsonga eneetulemesa kumaliriza Masiro - Katikkiro:
Kakati 21st November, 2021 nga ne Ssabasajja naye agenyigiddemu okugazimba. Wangaal ayi Ssabasajja wa Buganda.
 
Posted 2nd February, 2015
 
By Dickson Kulumba
 
KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti okusoomoozebwa kwayolekedde kwe kutaasa Bassekabaka abagalamidde mu Masiro e Kasubi omusana mu kiseera kino ogubookya ate n’okuteeka ekifo kino ku mutindo gw’ensi yonna.

Yazzeemu okuwera ng’Amasiro gano bwe galina okuggwa mu mbeera yonna n’agamba nti, “Nziramu okuwera nti tewali nsonga egenda kutulemesa kumaliriza mulimu guno. Enkuba ketonye, kibuyaga kaakunte, omusana ka gwake, tulina okumaliriza amasiro.”

Bino Katikkiro yabyogedde bwe yabadde alambuza Obuganda omulimu ogukolebwa ku Masiro e Kasubi eggulo ku Ssande n’asiima bonna abali ku mulimu era n’agamba nti omulimu guno gulina okutambuzibwa okusinziira mu mitendera.

Ssentebe w’olukiiko oluvunaanyizibwa ku kuzzaawo Amasiro, Al- Haji Kaddu Kiberu yategeezezza ng’okutusibwa kwa langi ebadde emaze ebbanga eddene ng’erindirirwa bwe kiguddewo essula empya mu kuzzaawo Amasiro gano.

 

Kaddu yagambye nti “ Essa kwe tutuuse, omulimu guno gusigadde mu mikono gy’abantu babiri ate bonna nga bataka; Kasujja ne Muteesasira era mubadde mugamba nti tubadde tutambudde mpola naye nange ngenda kubakanda ebyetaagisa ebirala okuli essubi, emmuli, amavuvume n’ebirala.

Omutaka Muteesasira Tendo Keeya yagambye nti ttiimu ye ey’Abagirinya yamaze dda okugitendeka era yeetegese okutandika omulimu gw’okulasa akasolya k’enju Muzibu Azala Mpanga ate n’oluvannyuma akwase Wabulakayole ( Omusige okuva ewa Kasujja), omulimu gw’okusereka.

“ Omulimu oguddako muzito era muzibu. Mu mbeera eno gugenda kutambula mpola kubanga eby’obuwangwa tebikubibwamu mavuunya n’olwekyo tulina okugendera mu mitendera,” Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Minisita w’obulambuzi, obuwangwa n’ennono Haji Muhamood Sekimpi bwe yagambye.

Langi ebadde erindiriddwa okuva e Girimani yatuusibwa wiiki ewedde nga kwajjirako omukugu era nga gulondoolwa aba kkampuni ya langi Peacock ng’olunaku lw’eggulo ( Ssande) baalaze abantu abaabadde e Kasubi engeri langi eno eyatereddwaako gy’egenda okutaasaamu Amasiro.

Allan Kibirige ku lwa Peacock yannyonnyodde nti, “ Langi eno eyamba okutaasa omuliro ne gutasanyawo Masiro okumala essaawa bbiri ng’abazinyamwoto bwe bajja. Mu ngeri

y’emu egenda kuyamba okuwangaaza enju eno.

 

Omuwanika w’olukiiko lw’Amasiro, Gaster Lule Ntakke yalangiridde ensimbi 5,019,700/- nga ku zino Pius Mugalaasi n’omutuba gwa Katulami e Kisunku mu ssiga lya Jjumba mu kika ky’enkima gwakulembera yaleeseeko obukadde buna. Ntakke yagambye nti ensimbi zino zigenda kusigala Kasubi okukola ku nsonga ez’enjawulo okuli amasannyalaze n’amazzi agatawaanya abagasulamu.

The First Ganda(Buganda) Catholic students who were posted to study abroad 1890:

The Bishop with some of the young converts in Buganda from which he picked the

11 boys to go and study abroad.

Courtesy Photo

By Henry Lubega

Posted  Saturday, April 25  2015

When Christianity came to Uganda, the missionaries combined it with education. Not only did they want to teach their converts religion, but also other matters.

When the Roman Catholic Church missionaries set foot in Buganda, one of their leaders, also known as the founder of the Catholic Church in Buganda/Uganda, Léon-Antoine-Augustin-Siméon Livinhac, took it upon himself to expose some of his converts to further foreign education.

In 1890, a group of 11 Baganda Roman Catholic youth converts were handpicked by Bishop Livinhac to go and study abroad. They had to trek from Uganda to the East African coast, weathering life on the sea to get to Europe on a journey that lasted nine months.

The 11 boys set off on the grilling journey to France, then Rome and finally to Algiers, where they were separated, with others going to Malta. 
The 11 boys are also believed to be the first Ugandans to go to Europe and the first to have met the head of the Catholic Church. To get to their final destination, they went through Paris, Rome and then Tunisia. 

While at Lyons in France, one of the boys, Leo Lwanga, describes the experience of having his photograph taken for the first time in Europe. His account was first published in Uganda by the Uganda Argus newspaper in its independence supplementary issue of October 9, 1962.

“You will be happy to hear how one makes those pictures of which you are fond, I shall tell you. There is a box which has three legs; it is dressed in a black cloth. The one who wants to make the picture says to us, you sit there in front of the box, you, and the others stand up and look this way.”

“Then he hides his head in the black cloth, in which the box is clothed, and then he brings a paper holding it, also hidden in under the cloth. May be he feared that those who were there will learn how to make the pictures.

Suddenly, he says to us “Do not move.” He opens the box on the other side, he closes it and he says it is finished. All our faces had entered the box, it takes a long time to make them come out, and we haven’t seen them.”

First destination
The group’s first European destination was Paris, where they arrived in September 1890, nine months after leaving Buganda. 
“We were allowed one month of rest in Paris. 
Some of us were sick, not being used to the food, and the weather. We were being looked at the way we looked at the whites when they first came to our land. After a month in Paris, we went to Rome, where we met Pope Leo XIII,” Lwanga narrates.

According to the 1908 entry in the Catholic information archives, it is stated that the 11 boys were destined to go to Carthage in Tunisia, where the Roman Catholic Church had opened an Institute in 1876. The institute was founded with the sole purpose of training young Africans. It was founded by Cardinal Lavigeria, the founder of the White Fathers’ mission.

According to the Uganda Argus independence supplement, when the group went to Rome to meet the Pontiff, he suggested to Bishop Livinhac, who was their guide and translator, that “some of the boys from Buganda be considered as possible candidates for religious life and possibly for priesthood.”

Final destinations
Of the 11 boys, seven followed the Pontiff’s suggestion to the letter by joining the White Fathers’ training base in North Africa. Among those who took to priesthood was Tobie Kizza, who happened to be the last surviving member of the group, dying in 1961 at Virika Cathedral in Kabarole District.

“Other boys went to Malta to train as medical doctors. But before they could finish their course, the institute was closed and they were transferred back to France, where they completed their training. Those who opted for priesthood stayed in Carthage and were trained at the White Fathers’ mission.

The 11 Ugandans
Yowana Ngapi 
Izidoro Kayinabiri 
Charles Bazibubura 
Etyeni Mungoya 
Marsaile Ntwatwa 
Yozefu Kyobe 
Karoli Nampagi 
Tobie Kizza 
Stefan Kiwanuka 
Leo Lwanga 
Paulo Kiwanuka

lubegah@ug.nationmedia.com

THE REAL BEGINNING OF THE TRANSLATION OF THE AFRICAN LUGANDA(GANDA) LANGUAGE INTO ENGLISH AND THEN INTO ALL THE OTHER WIDELY SPOKEN LANGUAGES OF THE WORLD.

 

 

THIS LUGANDA(GANDA) LANGUAGE IS WIDELY SPOKEN IN THE COUNTRY OF UGANDA AND THE SURROUNDING COUNTRIES OF KENYA, TANZANIA, RUANDA AND BURUNDI, THE CONGO AND SUDAN.

 

THIS AFRICAN NATIVE LANGUAGE HAS THE SUPPORT OF THE UNIVERSITY OF MAKERERE AND THE REST OF THE MANY UNIVERSITY COLLEGES IN THE COUNTRY.

INDEED IT IS A MAJOR DEGREE STUDY IN SOME OF THESE LOCAL INSTITUTIONS.

Click on the information below for more.

 The British Protestant Bishop Tucker in fellowship with African Christians of the

Ganda Kingdom 1900.

Below is the Agenda in finding the words in ALPHABETICAL FORM ON THE VARIOUS PAGES OF THIS LARGE DICTIONARY.

Part No.       Alphabet                              Pages start                    Pages  stop

Part 1            A----B                                 3                   up to          38---39

Part 2            B----G                                 40—41         up to          86---87

Part 3            E-----K                                88—89         up to          136---137

Part 4            K-----K                                138—186     up to          186—187

Part 5            K-----K                                188---189     up to          236----237

Part 6            K-----L                                238---239      up to         286----287

Part 7            L----M                                 288---289     up to          338---339

Part 8            M---M                                 340---341      up to         390---391

Part 9            M---N                                 392---393      up to         440---441

Part 10          N----S                                 442---443     up to         492---493

Part 11          S----T                                 494---495      up to         542---543

Part 12          T----W                                544---545      up to         594---595

Part 13          W---Z                                 596---597      up to         646---647

Part 14          Z----Z                                 648---649      up to         650---651

Click on the information below for the Thesaurus: 

A NEW LUGANDA-ENGLISH DICTIONARY IS NOW AVAILABLE ON THE MARKET:

14 November, 2016

TITLE: Luganda dictionary and grammar: Luganda-English and English-Luganda dictionary with notes on Luganda grammar, by Alan Hamilton, Naomi Hamilton, Phoebe Mukasa, David Ssewanyana, Cephas Ssentoogo (General Editor) and Christine Kabuye (Botanical Editor). Published 2016

 

AVAILABILITY. Order on Amazon.co.uk or Amazon.com. Go to the ‘Books’ section and type ‘Luganda dictionary’. Find this dictionary listed among others. It has a grey patterned cover with red writing. Price: £19.50 (UK), $24.00 (USA).

 

DESCRIPTION: This two-way Luganda-English and English-Luganda dictionary, with over 10,000 Luganda and 8,000 English entries, offers an easy guide to translating commoner words and concepts between the two languages. There are numerous examples of usage. The six-person team responsible for its compilation include a former Minister of Culture (Kingdom of Buganda) and the former Secretary of the Luganda Language Society. There are forewords by His Majesty the Kabaka (King) of Buganda and the Secretary of State for Education.  Assistance is provided to readers to locate Luganda entries, necessary because of the changeable nature of the beginnings of many Luganda words. The equivalence of parts of speech in Luganda and English is explored, and there are over 40 pages on Luganda grammar. Vocabulary associated with certain features of Kiganda society and culture is covered in extra detail such as social structures, religion, music, agriculture, food, backcloth manufacture, basketry, and healthcare and medicinal plants. There are lists of historic kings, traditional counties, and clans and totems. An outline of the history of the Luganda language is presented. The scientific names of over 300 types of plants are given, together with their Luganda equivalents. Book size: 254 x 178 mm (10 x 7 inches), 432 pages. Paperback.

 

EXTRACTS FROM FOREWORDS

 

By His Majesty Ronald Muwenda Mutebi II: “It is with exceptional enthusiasm that I welcome the undoubtedly important book … The dictionary will benefit all Luganda users irrespective of their linguistic backgrounds.

 

By Oweek. Nankindu Prosperous Kavuma (Minister of State for Education, Kingdom of Buganda): “By writing this bilingual reference book …, Professor Hamilton has bridged a very big gap in the acquisition of both Luganda and English in Uganda, and of Luganda in the rest of the world. [It] provides up-to-date information on Luganda and English for users at all levels.”

(Ssemakula, Sam Kiggwe, Dorothy, Please post on networks for all. Thanks)

Abakyala nga 20,000 mu Buganda bateberezebwa okuba ne fisitula(olubuto lwa nabaana olunafu) 

Apr 02, 2015

Bya HERBERT MUSOKE,  Ssennabulya Baagalayina  NE ANDREW MUGONZA

OBUKADDE 169 bwe bwakung’aanyizibwa mu misinde gy’okukuza amazaalibwa ga Kabaka omwaka oguwedde nga ku buno obukadde 50 bwaweebwayo mu ddwaaliro e Kitovu okuyambako mu kujjanjaba abakyala abaalina obulwadde bw’okutonnya.

Minisita w’ebyobulamu mu Gavumenti ya Buganda, Dr. Ben Mukwaya agamba nti abakyala 83 be bajjanjabibwa nga ku bano 77 baalongoosebwa ne baddamu okubeera mu bulamu obweyagaza era basobola n’okuddamu okuzaala obulungi.

“Abakyala abali wakati wa 18,000 ne 20,000 be basuubirwa okubeera n’obulwadde buno mu  ggwanga era nga bangi balemererwa okufuna obujjanjabi olw’okwetya nga kiva ku mbeera gye babeeramu.

Ekirala obujjanjabi bwa bbeeyi kuba omukyala okujjanjabibwa n’atereera kyetaagisa obukadde obuli wakati wa busatu ne butaano”, Dr. Mukwaya bw’agamba.

MUZAALIRE MU MALWALIRO

Akubiriza abakyala okujjumbira okuzaalira mu malwaliro n’okwewala bamulerwa abatasobola kumanya mbeera ya mwana gy’alimu mu lubuto ekivaako okuyulika nga bazaala ate nga tebasobola kubajjanjaba.

Sr. Rita Wanyanze owa Mukwaya General Hospital, agamba nti wabaddewo obuzibu bw’abasawo abakugu mu kujjanjaba obulwadde buno wabula mu kiseera kino bakwataganye n’abakugu okuva mu Ethiopia naddala okuyamba mu kutendeka abasawo abaliwo okufuna obukugu mu bulwadde buno.

Obuzibu buno buva ku bawala okuzaala nga bakyali bato, obutafuna buyambi bw’abakugu mu kuzaala, obuteerabirira bulungi ng’omukyala ali lubuto, amawanga agasala abakyala ebitundu byekyama n’ebirala.

Dr. Mukwaya agamba nti olw’obuzibu bw’obulwadde buno, Gavumenti ya wakati etaddewo ofiisi ey’enjawulo mu minisitule y’ebyobulamu okukola ku bakyala abalina obuzibu bw’okutonnya.

Ate Mmengo egenda esomesa abantu mu bitundu eby’enjawulo ku by’obulamu.

 

 

 

"Stop punishing pupils for speaking their vernacular languages" a Buganda State minister has advised teachers:

Hajj Abbas Kawase addressing the Muslim teachers’ convention in Kampala

last Saturday.

Photo by Farahani Mukisa

By FARAHANI MUKISA

Posted  Monday, May 4  2015

KAMPALA, BUGANDA STATE.

The Buganda Kingdom education minister, Hajj Abbas Kawase, has cautioned teachers against punishing students for speaking vernacular [Luganda] at schools.

“We would like to caution all teachers who punish students for speaking Luganda at schools to stop,” Hajj Kawase said. “We studied Luganda during our days at school, aren’t we better products compared to students produced nowadays?” he questioned.
Addressing the 26th Uganda Muslim Teacher’s Association (UMTA) convention last Saturday, Mr Kawase said Luganda as a subject taught in classes, should be like any other medium of interaction among students at school.
Government recently introduced a new thematic curriculum policy dictating that during the first three years of primary education, pupils must be taught using their mother tongue as the medium of instruction, with English taught as a separate subject, before switching to English as a medium of instruction in year four.
With more than 50 ethnic groups in Uganda, each with its own dialect, the policy was rooted in the idea that children pick up foreign languages more easily if first grounded in their mother tongue. Prior to the policy change, English was the official language of instruction in all school years.
Mr Kawase said punishing a student for speaking Luganda is illegal given that the Constitution of Uganda has never criminalised vernacular. 
“Such schools’ policies banning students from speaking a language they are taught in class, we won’t tolerate them,” he warned. “Besides, in actual sense these languages help students to comprehend subjects more than in foreign languages,” he argued.
Hajj Bruhane Mugerwa, the Kawempe Muslim Secondary School head teacher and the chairperson UMTA National Executive Council, urged schools to promote vocational studies as one way to promote hands-on-skills to help curb the high unemployment in the country.
The minister also advised teachers to promote quality effective and affordable education to avert “issues of a Primary Seven teacher failing a Primary Two exam.”
The convention brought together Muslim teachers from across the country.

fmukisa@ug.nationmedia.com

 

 

 

 

Engeri yintaneeti gy’ekuzeemu n’okuyamba Okukulaakulanya Obuganda:

UGANDA, Kampala  Jul 02, 2015

Enkozesa ya yintaneeti mu Bizinensi mu Uganda n’ebibaawo nga takozeseddwa – Engeri yintaneeti gy’ekuzeemu n’okuyamba Okukulaakulanya Uganda


Bingi ebiraga nti enkulaakulana ya Uganda tekyasobola kudda mabega n’akatono bw’osinziira ku maanyi g’emisingi egy’enjawulo egyegatta awamu okuleetawo enkulaakulana y’eggwanga.

Eggwanga ery’abantu obukadde 37 ku kawumbi akalamba n’obukadde 150 obw’abantu abali mu Africa (okusinziira ku muwendo gw’abantu bwe guyimiridde mu mwaka 2015), enkulaakulana mu Uganda ereeteddwaawo emisingi egikwataganira awamu mu bitundu eby’enjawulo eby’eggwanga ng’ewagirwa Gavumenti eriko obutafaananako bwe gwali emabega embeera y’enkulaakulana bwe yali embi mu ggwanga.

Uganda yali emanyiddwa ng’emu ku zisinga obwavu mu Africa olw’ebyenkulaakulana ebyali bikwatiddwa obubi, kati egenda edda engulu era bamusigansimbi abawera okuva ebweru batandise okugyettanira. Emisingi egiwanirira eggwanga nga ebyobusuubuzi girina kye gikoze okuleetawo

Enkulaakulana ya Uganda nga muno mwe muli ensuubulagana eyaabulijjo n’eyo eyeesigamye ku tekinologiya/yintaneeti.

 

Okugula n’okutunda ebyamaguzi mu Uganda nga yintaneeti tennajja 

 

Ng’okusuubulira ku yintaneeti ku ‘bibanja’ nga Kaymu tekunnajja, omuguzi owaabulijjo mu Uganda yalina ebifo n’ebizimbe ebiwerako aw’okugula ebintu eby’ebika eby’enjawulo – ebyonooneka amangu n’ebitoonooneka.

Ebbanga si ddene bukya bantu batandika kufuna ku ssente ezeegasa okusobola okuba n’obusobozi obwetuusaako ebyetaago by’obulamu obwabulijjo naye emabega nga bagagga na balambuzi okuva ebweru be bagula mu supamaketi z’omu bibuga mu ggwanga okuli n’ekibuga ekikulu Kampala, ebintu omuli eby’okwejalabya n’ebyamaguzi ebyabulijjo gye bitundibwa gamba ng’ebyamasannyalaze, ebyokulya (ebirime), ebyokwambala n’ebirala.

Abalambuzi nga be bokka abettanira ebitundibwa ebyaffe wano gamba ng’emikeeka gy’omu Buganda, ebibbo n’obusawo obuluke, eby’okwewunda ebyekifirika ng’ebikomo, emikuufu n’ebiri ng’ebyo ebyalabibwanga nga biteereddwa ku makubo, ssaako okwettanira ebiruke n’amaduuka ku kisaawe ky’ennyonyi agatunda ebintu ebitawoozebwako musolo.

Olwo nno nga mu byalo n’obubuga obutonotono ebyamaguzi ebyonooneka amangu gye byatundibwanga awamu n’ebyetaago by’obulamu obwabulijjo gamba ng’ebyokwerongoosa n’ebizigo, ng’obutale bw’omu buulo nga be baana baliyo.

Awo ng’omuntu yeetegeka n’olukalala lwe olw’ebintu by’anaagula mu katale n’alinda olunaku lwe kanaabeerawo.

Wabula ng’okugula n’okutunda kimala obudde n’ebiseera wamu n’amaanyi kyokka nga tewali kya kukola anti nga y’engeri yokka mu biro ebyo omwalinga muyitibwa okugula n’okutunda nga tewali magezi malala.

 

Okujja kwa Yintaneeti


Mu bitundu bingi eby’olukalu lwa Africa omuli ne Uganda, yintaneeti y’oku ssimu eyongera okwettanirwa obutafaananako bwekiri ku yintaneeti y’oku kompyuta.

Okutwaliza awamu, yintaneeti egenze ewamba mpolampola era kibalirirwa nti abantu abasukka mu 8,500,000 be bagikozesa ekitegeeza nti bali ebitundu 23 ku kikumi eby’omuwendo gw’abantu mu ggwanga omwaka 2014 we gwatuukidde mu makkati.

Olw’obwangu mu nkozesa n’okuba nga buli w’oli otambula n’essimu, kyanguyirizzaako yintaneeti y’oku ssimu okwettanirwa mu Bannayuganda bangi abaagala okuwuliziganya ne mikwano gyabwe nga bayita ku mikutu nga Facebook ne Twitter.

Olw’omuwendo gw’abakozesa yintaneeti y’essimu mu Uganda ogweyongedde nga kivudde ku kwongera amaanyi mu kuyunga ebitundu eby’enjawulo ku mutimbagano, kyeraga lwatu nti okusaasaana kwa yintaneeti mu ggwanga kwa kweyongerera ddala n’amaanyi mu myaka egijja.

We twogerera, yintaneeti eya sipiidi eya waggulu (broadband) ku maanyi ga 3G ne 4G egenda ebuna buli wantu era abantu egenda ebakwata omubabiro naddala abo abasobola obulungi okwetuusaako ebyetaago by’obulamu obwabulijjo mu bibuga ebikula nga Kampala.

Okuyigiriza Bannayuganda ebyakompyuta naddala abaana b’amasomero kye kyandisinzeeko ssinga wabaawo amasannyalaze agamala ate n’ebizibu ebirala ne bikolwako gamba nga emiwendo okugulirwa yintaneeti egiri waggulu, bannabyabufuzi/abakulembeze obutafaayo kuzimba bikozesebwa ebya tekinologiya eby’amaanyi n’okisookera ddala eky’okutuusa kompyuta mu masomero eri abayizi okusomerako ebyakompyuta.

Mu Africa, sipiidi yintaneeti kw’esaasaanira okutuuka mu maka g’abantu ekyali wansi nnyo ng’amaka 11 gokka ku buli kikumi mu Africa ge galina yintaneeti mu nnyumba.

 

Obusuubuzi bw’oku yintaneeti


Ensuubulagana y’oku yintaneeti ezingiramu okugula n’okutunda ebyamaguzi n’empeereza okuyita ku mikutu gya yintaneeti y’oku ssimu ne ku kompyuta.

Mu ngeri ennyangu kwe kugula n’okutunda ng’omuntu ayitira ku yintaneeti. Mu myaka egiyise, ensuubulagala y’oku yintaneeti ebadde ezing’amizibwa lwakuba nti yintaneeti ebadde mbi era nga tennasaasaana bulungi mu Uganda bw’ogeraageranya n’amawanga ga Africa amalala.

Wandisuubidde nti omwaka 2015 we gwandituukidde, okusinziira ku kweyongera kwa yintaneeti mu ggwanga-okusingira ddala ey’oku ssimu, nga eby’ensuubulagana ku yintaneeti biri waggulu; naye ebyembi biri wansi kuba Uganda eri bubi mu kiti kino eky’enkulaakulana.

Ekitongole ky’Ebyempuliziganya mu Uganda (UCC) kikirambika ng’abali ku yintaneeti y’oku ssimu mu ggwanga (we lwatuukira nga June 2012) nga baali abantu akakadde kamu n’ekitundu ne balinnya okutuuka ku bantu obukadde buna (4) n’emitwalo 10 mu mwaka 2014 nga kino kirungiko era abakugu bateebereza nti omuwendo gugenda kweyongera mu myaka egijja.

Era mu mwaka gwe gumu ogwa 2012, abaali bakozesa yintaneeti y’oku kompyuta baali 92, 000 era omuwendo ne gulinnya okutuuka ku 106,900 mu 2014.

Bwe tufuba okwongera ku miwendo gino, yintaneeti mu byobusuubuzi egenda kweyongera okweyambisibwa mu katale n’okukula mu Africa.

Ebirina okukolwako mwe muli okulongoosa eby’ensasula n’entambuza y’ebitundibwa, emiwendo gya yintaneeti okukka, okufuula yintaneeti eyeesigika n’enteekateeka za Gavumenti ennungi.

Mu buufu bwe bumu, abantu (abagula n’abatunda) balina okusomesebwa emigaso egiri mu kugula n’okutundira ebintu ku yintaneeti, amagoba/emiganyulo egikirimu n’okubabuulira nti yintaneeti yeesigika era nnungi ekimala okukolerako bizinensi.

Okwongereza kw’ebyo, nga kati bwe waliwo abeenyigidde mu busuubuzi buno gamba nga; OLX, Dondolo, Remdak, Kaymu, Home Duuka, TakeAwayUG ne Jumia ssaako abalala bangi, era ng’ensimbi nnyingi zissiddwaamu, kyeragirawo nti ensuubulagana oba okugula n’okutundira ku yintaneeti kugenda kweyongera era kufuuke okw’omuzinzi.

Obusuubuzi bw’oku yintaneeti n’ensuubula eyaabulijjo (eteri ya yintaneeti): Kye bwongedde ku nkulaakulana ya Uganda

Wadde okuyambibwako okuva mu mawanga g’ebweru kukendedde, enkulaakulana ya Uganda ebadde nnungiko olw’emisingi gy’enkulaakulana egyeyongedde amaanyi.

Mu lipoota eyafulumizibwa ekitongole ky’ensi yonna ekiwozi kya ssente (IMF), enkulaakulana y’eggwanga ewa essuubi era erina okweyongera ng’omwaka gw’ebyensimbi 2015-2016 tegunnaggwaako n’ebitundu 5.8 ku buli kikumi eby’ebintu ebifulumizibwa n’ebikolebwa mu ggwanga bw’oba obibaliridde mu nsimbi.

Guno omuwendo munene ku gw’ebitundu 4.5 ku buli kikumi mu mwaka gw’ebyensimbi 2013-2014.

Egimu ku misingi egivuddako enkulaakulana eno ekweyongera by’ebyobusuubuzi omuli eby’oku yintaneeti n’ebitali bya ku yintaneeti.

Bizinensi z’oku yintaneeti zikolerwa ku kompyuta oba essimu obutafaananako ne bizinensi ezaabulijjo omutali kukozesa yintaneeti y’oku kompyuta oba essimu.

Obusuubuzi obwabulijjo buzingiramu okussaawo edduuka oba ekifo aw’okutundira, okukola ku bakasitoma maaso ku maaso, attending to shoppers face to face; okusasulirawo mu kaasi mu kifo ekyo n’obudde obwo bwennyini ekintu we kiba kiguliddwa, okusimba layini mu matundiro ne supamaketi, okussa amasa n’ebikozesebwa mu kifo awatundirwa, n’ebirala ebiteekeddwa okubaawo okusobozesa ensuubulagana okubaawo.

Wabula obutafaananako na nsuubula eyo waggulu, yo ey’oku yintaneeti teyeetaaga kusisinkana muntu maaso ku maaso okutuusa ng’ebitundibwa bimaze okuweerezebwa gye biraga. Wano nga bituusiddwa, okugula n’okutunda we kukomekkerezebwa ng’omuguzi asisinkanye atunda.

Amaanyi n’ebiseera ebyonoonebwa mu nsuubula eri eyaabulijjo (eteri ya yintaneeti) byewalibwa mu kusuubulira ku yintaneeti sso ng’ate mmwo era mulimu n’okutuuka ku katale akagazi munda mu ggwanga n’ebweru, obusuubuzi busobola okukolebwa obudde bwonna (essaawa 24 ku lunaku lwonna olwa wiiki), enkangaga z’ebitundibwa eziwerako, obwangu mu kunoonya ebitundibwa okuyita ku mutimbagano, n’okwewala eby’okusimba layini empanvu.

Wabula abantu bangi bagamba nti ensuubula eri eyaabulijjo eteri ya yintaneeti nnungi kuba yo okwatirako ddala n’okulaba ekintu ekigulibwa okusinga lw’okozesa yintaneeti n’osigala ng’oteebereza buteebereza omutindo oba mulungi oba mubi.

Kyokka wadde ekyo kiri bwekityo, okugula n’okutundira ku yintaneeti tekubuusibwabuusibwa nti kwe kusinga obwangu era okuyinzika mu mbeera ennyanguko.

Eri abatundira ku yintaneeti, batuuka ku baguzi butereevu; emiwendo egikikola giri wansi kuba tekyetaagisa kusooka kussaawo dduuka, n’ekirala ebizibu ebiri mu kutuuka w’otundira bibabigonjoddwa.

Obusuubuzi obw’ebiti byombi (obw’oku yintaneeti n’obutali bwa yintaneeti) bulina kye bwongedde ku nkulaakulana ya Uganda mu ngeri emu oba endala, era olw’okuba ng’ebyobusuubuzi bw’oku yintaneeti mu ggwanga bikyali wansi, abakugu mu byenkulaakulana n’ebyenfuna bateebereza nti bijja kugatta kinene ku nkulaakulana y’eggwanga mu myaka mitono mu maaso kuba gwe gumu ku mikutu egiyinza okuyitibwamu okutuuka ku nkulaakulana.

Mu ngeri eyo, okwesigama ku busuubuzi bw’ebyamaguzi mu nkola enkadde kukendeezebwa kinene nnyo ate enkulaakulana esigale ng’egenda mu maaso.

Kikulu nnyo okumanya nti okweyongera mu nsuubulagana y’oku yintaneeti, bizinensi nnyingi zijja kumerukawo gamba ng’okuva ‘ebibanja’ eby’okutundirako okugeza Eye Trade tebyetaaga ssente nnyingi okutandika. Ekirala, emirimu mingi gya kutondebwawo.

 

Ebiseera by’Obusuubuzi bw’oku yintaneeti eby’omu maaso mu Uganda

 

Bannannyini bizinensi mu ggwanga (wadde si bonna) balina okutunula mu ngeri gye bakolamu era olw’obutasigalira mabega, beeyunge ku nkozesa ya yintaneeti mu busuubuzi.

Mu ngeri y’emu, abategeka okutandikawo bizinensi nabo bakubirizibwa okwegatta kun kola y’emu baganyulwe mu birungi ebiri mu kukola bizinensi nga weeyambisa yintaneeti wakati mu kuyambako eggwanga okukulaakulana.

Ng’ebisoomooza byonna eri obusuubuzi bw’oku yintaneeti bimaze okukolwako ne bivaawo, okugeza ng’enneeyunga ku yintaneeti ekyali embi, obutamanya nkozesa ya kompyuta n’ebyuma bikalimagezi n’enkola za Gavumenti ezeekiika mu kkubo lya yintaneeti; awo bizinensi y’okugula n’okutundira ku yintaneeti ejja kuba eyogerwako ng’enneetegefu okutuusa eggwanga ku biruubirirwa by’enkulaakulana yeegombese n’amawanga ga Africa amalala.

Olw’okuba obusuubuzi bw’oku yintaneeti bugenda bukula era nga n’ensimbi ez’okubusigamu zikyeyongera okujja, waliwo essuubi lya maanyi nti wajja kubaawo okusenvula okuyise mu mitendera okw’ensuubulagana evudde ku kika ky’obusuubuzi obw’edda (obutali bwa yintaneeti) okudda ku bwa yintaneeti wadde ng’era si mu bujjuvu anti kiba kyetaagisa buli kika okukwanyizibwa obulungi ne kinnaakyo enteekateeka eno ereme kubaamu bituli.

89.2