AKULIRA ekitongole ky’ebyettaka mu bwakabaka ekya Buganda Land Board (BLB):
Kyewalabye Male, alabudde abaami ba Kabaka abagenda okwenyigira mu kuwandiisa ebibanja by’abasenze ku ttaka ly’Obwakabaka beewale obukumpanya n’emivuyo kuba bayinza okusibwa.
Yagambye nti wadde ng’enteekateeka eno egenderedde kuyamba bantu ba Ssaabasajja kufuna biwandiiko ebituufu mu mateeka ku bibajnja byabwe, wandibaawo bannakigwanyizi abayinza okukozesa omukisa guno okwenoonyeza ebyabwe.
Bino Male, eyabadde n’abakozi ba BLB ne katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Lubega Mutunzi, yabyogedde mu kuggalawo omusomo ogwetabiddwaamu Abaamagombolola, Abeemiruka n’Abatongole mu ssaza ly’e Kyaggwe ku mbuga ya Ssekiboobo e Mukono ogwategekeddwa okubabangula ku nkola gye bagenda okugoberera nga basomesa n’okuwandiisa abasenze ku ttaka ly’Obwakabaka. Enteekateeka eno yatandika nga May 4, 2015.
Ssekiboobo Benjamin Kigongo yagambye nti ebibanja ebitalambuddwa si bya kuwandiikibwa olw’okwewala enkaayana. Nb
Ekizibu ky'abaami ba Ssabasajja kyelaga kyoka. Baddidde abobuyinza babiri babateese mu kalo ka Buganda akedda. Ebyawandiikibwa bitugamba ki? Toyinza kuwuliriza bakama bo babiri. Oleka ko omu okumuwulira nowulira omulala. Tugambe ki? Mufumbiro bwemufumbiramu abafumbiro abangi Mmere kiki eyo evayo?
Genda mukalo kafe wano e Buganda. Owe Gombolola atuuka okubuuza ettaka lye kitebe kye werikoma. Bamugamba kimu. LC 1 yaliteekako ba Investor abava e Buyindi. Ate ekubo elyaffe eryedda elyayita wano ku Saza lya Kangawo. Olwo Kangawo abuuza: Bamugamba kimu. Disi yasibawo Sengenge ensonga zino ziri mu National Land Board. Okunsiba Sebo Mwami tekulimu. Tonda bwatakuuma abakuuma bakumira bwerere Jjajja. Kugwa mubunya bwewesimira nga olaba. Kitalo nyo.
Bazudde obulyazama
nyi bwe ttaka lya Buganda mu ofiisi ze Wakiso:
By Rogers Kibirige
Added 30th September 2016
Ying. Sabiiti (owookubiri ku ddyo) ne babaka banne nga baliko bye babuuza omukozi mu minisitule y’ebyetta e Wakiso (ku ddyo).
EMIVUYO egiri mu ofiisi ya minisitule y’ebyettaka esangibwa e Wakiso ku kitebe kya disitulikiti giwuniikirizza ababaka.
Ng’oggyeeko okuba ng’abakozi abamu tebasobola kunnyonnyola ngeri gye bakolamu emirimu, bangi mu ofiisi zaabwe bawunyamu mpunye. Batuuka kikeerezi ate bwe ziwera 6:00 ez’omu ttuntu ng’abamu bannyuka.
Bakozesa bboggo eri abatuuze ate abalala empapula zaabwe teziwera. Ono ye kacica muyite cculugu ababaka ba palamenti abaalambudde ofiisi za minisitule y’ebyettaka zino ku Lwokusatu gwe baasanzeeyo.
Ababaka abaakulembeddwa ssentebe w’akakiiko akalondola enkola y’emirimu aka (Physical infrastructure Committee) Ying. Denis Sabiiti (Rubanda) baategeezezza nti kyannaku okulaba ng’abakozi ba Minisitule ab’e Wakiso babonyabonya abantu ne babatambuzanga okubakolera ku nsonga z’ettaka kyokka bwe bamala ne babamma ebyapa.
Sabiiti yayongeddeko nti baazudde nti abakozi ba Minisitule balina obutakkaanya n’abakola mu ofiisi y’ebyettaka eya disitulikiti y’e Wakiso ekireetedde entambuza y’emirimu okuzingama.
Kwe kusaba minisitule n’abakulembeze ba disitulikiti okugonjoola ensonga eno mu bwangu.
Yayongeddeko nti n’abakozi abasangibwa mu kifo abantu we batuukira, engeri gye bakwatamu bakasitoma n’abagenyi eraga nti si batendeke kimala era beetaaga okuddamu okubangulwa mu bwangu.
Yategeezezza nti byonna bye baasanze e Wakiso, bagenda kubikolamu lipooti bagitwale mu palamenti y’eggwanga ekubaganyizibweko ebirowoozo.
Baalabudde nti ssinga minisitule y’ebyettaka tetereeza bizibu biri Wakiso, eggyibwewo kuba ebeera tegasa Bannayuganda.
Ye ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika yategeezezza nti ebbanga lyonna abadde yeemulugunya ku ngeri abakozi ba minisitule gye bakolamu emirimu nga teri avaayo.
Yasabye nti ababaka bye bazudde bireme kukoma mu lipooti, wabula abavunaanyizibwa ku mivuyo egiri mu minisitule ne ofiisi y’e Wakiso, bakolweko.
Nb
Abakozi bano batukiriza mulimu gwa Bible ogwayogerwa ko Jjajja Isa Masiya 10/40 AD. E Buganda nakatono kolina nako kalikujjibwako nekaweebwa alina ekingi enyo.