KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti okusoomoo
zebwa kwayolekedde kwe kutaasa Bassekabaka abagalamidde mu Masiro e Kasubi omusana mu kiseera kino ogubookya ate n’okuteeka ekifo kino ku mutindo gw’ensi yonna.
Yazzeemu okuwera ng’Amasiro gano bwe galina okuggwa mu mbeera yonna n’agamba nti, “Nziramu okuwera nti tewali nsonga egenda kutulemesa kumaliriza mulimu guno. Enkuba ketonye, kibuyaga kaakunte, omusana ka gwake, tulina okumaliriza amasiro.”
Bino Katikkiro yabyogedde bwe yabadde alambuza Obuganda omulimu ogukolebwa ku Masiro e Kasubi eggulo ku Ssande n’asiima bonna abali ku mulimu era n’agamba nti omulimu guno gulina okutambuzibwa okusinziira mu mitendera.
Ssentebe w’olukiiko oluvunaanyizibwa ku kuzzaawo Amasiro, Al- Haji Kaddu Kiberu yategeezezza ng’okutusibwa kwa langi ebadde emaze ebbanga eddene ng’erindirirwa bwe kiguddewo essula empya mu kuzzaawo Amasiro gano.
Kaddu yagambye nti “ Essa kwe tutuuse, omulimu guno gusigadde mu mikono gy’abantu babiri ate bonna nga bataka; Kasujja ne Muteesasira era mubadde mugamba nti tubadde tutambudde mpola naye nange ngenda kubakanda ebyetaagisa ebirala okuli essubi, emmuli, amavuvume n’ebirala.
Omutaka Muteesasira Tendo Keeya yagambye nti ttiimu ye ey’Abagirinya yamaze dda okugitendeka era yeetegese okutandika omulimu gw’okulasa akasolya k’enju Muzibu Azala Mpanga ate n’oluvannyuma akwase Wabulakayole ( Omusige okuva ewa Kasujja), omulimu gw’okusereka.
“ Omulimu oguddako muzito era muzibu. Mu mbeera eno gugenda kutambula mpola kubanga eby’obuwangwa tebikubibwamu mavuunya n’olwekyo tulina okugendera mu mitendera,” Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Minisita w’obulambuzi, obuwangwa n’ennono Haji Muhamood Sekimpi bwe yagambye.
Langi ebadde erindiriddwa okuva e Girimani yatuusibwa wiiki ewedde nga kwajjirako omukugu era nga gulondoolwa aba kkampuni ya langi Peacock ng’olunaku lw’eggulo ( Ssande) baalaze abantu abaabadde e Kasubi engeri langi eno eyatereddwaako gy’egenda okutaasaamu Amasiro.
Allan Kibirige ku lwa Peacock yannyonnyodde nti, “ Langi eno eyamba okutaasa omuliro ne gutasanyawo Masiro okumala essaawa bbiri ng’abazinyamwoto bwe bajja. Mu ngeri
y’emu egenda kuyamba okuwangaaza enju eno.
Omuwanika w’olukiiko lw’Amasiro, Gaster Lule Ntakke yalangiridde ensimbi 5,019,700/- nga ku zino Pius Mugalaasi n’omutuba gwa Katulami e Kisunku mu ssiga lya Jjumba mu kika ky’enkima gwakulembera yaleeseeko obukadde buna. Ntakke yagambye nti ensimbi zino zigenda kusigala Kasubi okukola ku nsonga ez’enjawulo okuli amasannyalaze n’amazzi agatawaanya abagasulamu.