DANIEL Lukyamuzi Aliwaali yaleka ettaka e Bulemeezi Block 25 plot 11 erikunukkiriza mu yiika 42 ku kyalo Kayindu ekiri mu ggombolola y’e Kalagala e Luweero. Aliwaali nga tannafa mu 1944 yaleka alaamidde omwana wa mukulu we okumusikira kubanga abaana be baali bato.
Wabula abeng’anda baaziringitanya obusika, abaana ne basaasaana ekyawa omugagga omu Michael Kintu omwagaanya okugenda ku kyalo okukumpanya ettaka lino. Kalondoozi wa Bukedde akulaze engeri abagagga gye bakozesaamu balooya ne ofiisi z’ebyettaka okubbako abantu ettaka lyabwe.
Micheal Kintu yawamba ettaka lya bamulekwa ku kyalo Kayindu e Bulemeezi n’assaako ffaamu ng’agamba nti ettaka lirye. Ekyewuunyisa ekisooka, Kintu agamba nti ettaka lino liri ku Bulemezi Block 10 plot 8, nti liwezaako yiika 20 n’obutundu ekitali kituufu!
James Musoke Kamya, omu ku baana b’omugenzi Aliwaali bwe yakizuula nti ettaka lyali liwambiddwa, yatandika okunoonya engeri gy’alinunulamu wabula abantu be yatuukirira okumuyambako okwali mukulu we n’omusika kitaabwe gwe yalaamira, baafa mangu mu ngeri ya kibwatukira.
Musoke yatandika okwekubira enduulu mu bitongole by’amateeka omuli n’ebitongole ebiramuzi kyokka tannafuna kuyambibwa.
JAMES MUSOKE KAMYA
Taata yafa tukyali bato, nze nnalina emyaka munaana. Olw’okuba twali bato, yalaamira omwana wa muganda we Lozio Mukajanga y’abeera amusikira nga ky’anoonya nti oyo ayinza okukuuma emmaali yaffe abato.
Bwe yafa mu 1944, waliwo ab’ekika abamu abaakyusa obusika ne budda mu ffe abaana olwo ne batusindika e Masaka bo ne batwala ebyaffe kumpi kubimalawo.
E Masaka twavaayo mu 1947, ne tuddamu okubeera ne maama Solome Najjuka ku ttaka lya taata era ono yayamba nnyo kubanga taata yali amubuuliddeko nti yali aguze ttaka.
Maama bwe yafa, nnagenda e Masaka gye nnatandika okukolera nga mmala ebbanga ddene nga sikomawo ku Kayindu. Nakomawo mu 1999 nga nzize kulambula ku Bataka!
Nneewuunya nnyo okusanga nga Kintu yali akoze ffaamu ku ttaka lyaffe! Nabuuza muganda wange Peter Katongole eyali abeera ku ttaka engeri Kintu gye yajjamue n’antegeeza nti Kintu yamusindiikiriza ng’agamba nti ttaka lirye, nti ffe twajjawo mu bukyamu!
James Musoke Kamya amaze emyaka egisoba mu 10 nga yeezooba ne Kintu.
Ebintu byayongera okunsobera kubanga kulowooza nti osanga Kintu yagula ku Katongole. Kwe kugenda ew’omusika waffe Lozio Mukaajanga e Ntebe ne mmusaba okuyamba ku nsonga eno kyokka ono yafa mu ngeri gye tutaategeera. Twali twakamala okumuziika, ne mukulu wange Katongole eyali abeera ku ttaka e Kayindu naye n’afa kibwatukira!
Abantu bange bwe baamala okufa, abakulu b’Ekika bampa obuyinza okunoonyereza ku nsonga z’ettaka lino mu 2001. Natandika okuyigga Kintu twogere ng’abantu abakulu naye nga muzibu wa kukwasa.
Lumu nnamukubira ne mmuyitiramu ensonga era n’ansaba tusisinkane wa Ssentebe e Kayindu twogere. Nakung’aanya abakulu mu Kika ne mbatwala kyokka bwe twatuuka ewa Ssentebe, Kintu teyalabikako!
Bwe nnali ntegese okumuwaabira, yansaba tuddemu tusisinkane ewa ssentebe. Nnali ne looya wange, eyo gye yang’ambira nti ettaka lirye!
Ku olwo looya wange yansaba emitwalo 40 anfunire ekyapa naye bwe nnazimuwa yanfera n’azitwala ng’ampadde ekipapula ekyokyemu ekitali kyapa!
Mu KKooti e LUWEERO
Nasalawo okutwala omusango mu kkooti e Luweero nga nvunaana Kintu wabula omusango gwali gukyagenda mu maaso ne funa obulwadde obw’amaanyi nga sisobola kugenda mu kkooti ebbanga eddene.
Kyokka looya wange n’agaana okutegeeza kkooti ekyaleetera omulamuzi okulowooza nti nnali ng’aanye okugenda mu kkooti.
Bwe nnawona naleeta ebbaluwa zonna ez’eddwaaliro nga bwe baali bannongoosezza naye kkooti yagaana okumpuliriza n’egoba omusango gwange!
Olw’okuba nga nnalaba ng’ekkubo lyokka lye nnalina okuwangula Kintu, nasalawo okufuna looya omulala atwale mu maaso n’omusango guno.
Waliwo eyandagirira mu kitongole ekikola ku mateeka ekya Legal Aid Project. Nnagendayo nga February 15, 2012 ne bampa looya gwe nnategeerako erya Moses akole ku nsonga zange.
Bwe nnazaayo omusango mu kkooti e Luweero, ekyennaku, looya ono ate ekifo ky’okunnyamba yatandika okwebulankanya mu biseera bya kkooti era tewali n’olunaku n’olumu lwe yajjako mu kkooti.
Teyakoma ku butajja mu kkooti wabula teyang’ambanga lunaku kkooti lw’egenda kutuula kwogera ku nsonga zange.
Era omulamuzi yaddamu n’agoba omusango gwange omulundi ogwokubiri nga bagamba nti nnali sijja mu kkooti!
Bazzukulu ba Aliwaali nabo Kintu yabagoba ku ttaka
Ng’agoba omusango guno nga 27 September 2012, omulamuzi wa kkooti y’e Luweero, Harriet Namata Nsibambi yasoma emirundi 10 gye bampita mu kkooti nga sigendayo kyokka nga oyo eyalinga looya wange yali tang’amba ate nga nnali mugambye endeetere obubaka ew’omulamuzi nga bwendi omuladde.
Newankubadde nga nnagezaako okunnyonnyola omulamuzi obulwadde bwe nnali nfunye ne mmulaga n’ebbaluwa yagaana okunkwatirwa ekisa.
OMUWANDIISI WA KKOOTI AWAMBA FAYIRO YANGE
Kino kyankwasa obusungu kubanga nnabuuzanga looya olunaku kkooti lw’egenda okutuula ng’ambuzaabuza. Bwe nnamulagira azzeeyo omusango mu kkooti yang’amba nti fayiro yali yamubulako!
Bwe nnalaba yeekwasa, ne mmuwa fayiro eyange kyokka ate yakuulamu empapula ezimu n’agenda mbu agenda kujulira kyokka teyakikola, ate n’empapula zange teyazizza.
Okugaanira empapula ezaali zikwata ku musango kyammala okundabula nti osanga yali alina gw’akolera nze nga simanyi.
Bwe nnalaba nga looya eyali ampeereddwa tannyambye, nnatwala kkopi ya fayiro endala ew’omuwandiisi wa kkooti (court clerk) gwe manyiiko erya Byekwaso e Luweero nga njagala ampe amagezi kiki kye nnalina okukola.
Ekyennaku naye yampambako kkopi ya fayiro gye nnalina nga 21 July 2012 era okugifuna nnamala kulemerako nnyo ate nga nkozesezza amagezi mangi. Nafuna okutya nga ndaba bonna baali bakolagana n’omulabe wange.
‘Ettaka nnaligula n’abaaliriko ne mbasasula’
Peter Katongole yafa mu ngeri etategeerekeka
BALOOYA AB’EBBEEYI
Eyo y’ensonga eyavaako okufuna aba Balikuddembe & Co Advocates ne mbayitiramu omusango gwange. Abo bansaba obukadde 11!
Zino omu ku batabani bange ye yazisasula. Wabula kyambuukako nabo bwe baatandika okuzannya obuzannyo bwa balooya be nnali nfunye mu kusooka. Ng’omusango tegutambula, nga tebambuulira we tutuuse era nga ne kkooti lw’egenda okutuula oluusi simanya!
Lumu nnali mpitaayita ne ngwa ku looya aba kkampuni eno gwe baali bampadde ng’ali mu kafubo ne looya wa Kintu.
Era waayitawo akaseera katono, kkampuni eno n’empita ne bang’amba nti Kintu yali ayagala nzikirize ampe ekyapa awali ebiggya ebintu tubimale era nti bwe mba nga njagala aw’okulimira ajja kunguza yiika ku bukadde 10 kyokka nze ne ng’aana kubanga ettaka eryo lyali lyaffe.
Baddamu ne bampita nti Kintu yali ansabye nzikirize ampe yiika ssatu tubimale naye nga sisobola kukkiriza. Kino kyampa okutegeera nti nabano nabo baali batandise okukolagana n’omulabe wange.
EKyapa kya kintu
Ettaka taata lye yaleka lya yiika 42 ku Block 25 plot 11. Ye Kintu agamba nti erirye liri ku Bulemezi ku Block 10 plot 8 era liwerako yiika 20 ekyewuunyisa!
Ekyapa Kintu ky’alina kigamba nti kyadda mu mannya ga Daudi Muzannyi nga 14/07/1988 ku ssaawa 9:39 ezolweggulo ne kidda mu mannya ga Kasalina Navvuga nga 14/07/1988 ku saawa 9:44 olwo ne kidda mu mannya ga Kintu nga August 25, 1994. Buno bulimba kubanga Muzannyi yali yafa dda nnyo!
MICHEAL KINTU
Bwe nnabuzizza Kintu ku nsonga zino yanteegezezza bwati;
Ettaka eryo baalinguza era nnasasula abantu abaliriko. Mw’abo mwalimu ne muganda wa Musoke, Katongole era y’omu ku be nnasasula.
Era nze ku kyalo bammanyi nti nze nnannyini ttaka omutuufu. Wabula Musoke yalema okubeera omumativu n’agezaako okutwala ensonga mu kkooti wabula ne zigobwa nga balaba nga nze mutuufu.
Olw’okuba nga baali baziiseewo abantu baabwe, nnakwatibwa ekisa ne njagala Musoke mmuweeko ekyapa ky’oku biggya naye ye n’agaana nti ayagala ttaka lyonna kye sisobola kukkiriza.
Egimu ku miri egiri ku ttaka lino Kintu agitemye, ettaka erimu alitunze
Ebibuuzo
1. Bwe kiba nga Muzannyi yafa mu myaka gya 1958, kisoboka kitya okuba ng’ekyapa kyadda mu mannya ge mu 1988?
2. Bwe kiba nga Kintu agamba nti ettaka lye Bulemezi ku Block 10 plot 8 era liwerako yiika 20 kijja kitya ng’ebiwandiiko mu ofiisi z’ebyettaka bigamba nti ettaka eryo liri Bulemezi ku Block 25 plot 11?
3. Bw’aba nga Kintu akakasa nti ettaka lirye, aggya wa omutima ogwagala Musoke akkirize amusalireko amuwe ekyapa?
4. Lwaki buli looya akwata ku musango guno agukola gadibengalye?
Make A Comment
Comments (0)