Ennaku zino bayinza okukwata omuntu ku luguudo bonna ne bamutunuulira ne wabulawo ayamba! Ekyennaku nti bangi be bakwata, si bakuumaddembe be babakwata, wabula ebibinja by’ababbi ebifunye ebikozesebwa bya poliisi omuli emmundu, empingu n’emmotoka ezirimu ttinti. Kalondoozi wa Bukedde akulaze abali emabega wa bino.
OBADDE okimanyi nti waliwo abantu baabulijjo abalina empingu ne batuuni z’abaserikale, bye bakozesa okulijja abantu n’okubakuba mu Kampala wakati emisana ttuku?
Bano bakukwata ne ba kukubisa batuuni, nebakulijja ku mpigu wakati ku miggo n’ensambaggere nga ggwe olowooza nti bapoliisi oba magye sso nga bantu baabulijjo.
Tebatya muntu yenna wadde poliisi ezirawuna oba abaserikale. Bwe bakukwata n’owoggana nga bakubatika engalo mu kamwa. Buli kimu bakikola mu ddakiika ntono nnyo obutakwatibwa, oba okutuusibwako obulabe abantu babulijjo.
Sula Kaddu, omutuuze w’e Kawempe- Mbogo mu Kampala, ekintu kye kimu kye yaguddeko ku lunaku lw’Abajulizi. Yakwatiddwa wakati wa Uganda Museum ne Pyramid ku ssaawa munaana ez’emisana ne bamusikambula mu mmotoka ye ne batandika okumukuba batuuni n ‘ensambaggere.
Obwedda bamukuba nga waliwo abaleekaanira waggulu nti, ‘ono mubbi’, okubuzaabuza abayise baleme kubakolako bulabe!
Aba punta nga bali mukukuba ettaka lya Buganda
Takyasobola kuweta kugulu, ebisambi byonna byakubwa nnyo era obusuwa obumu obw’obusimu bwayonooneka, mu bufunze Kaddu yafuuse kadduwannema!
“Ng’oggyeeko obulumi, mukyala wange asulirira kuzaala, ssente ze nnali nkung’aanyizzaawo zonna abasajja bano bankuba baazibba,” bw’agamba.
BYAJJA BITYA?
Kaddu akola bwabbulooka bw’ettaka era atuula ku kizimbe kya Sunset akeedi mu Kampala. Byonna ebyamutuukako abinyumya bwati;
Waliwo bakasitoma abankubira essimu nti baagala ettaka mu bitundu by’e Kisaasi, Kkulambiro ne Kyanja. Waliwo bbulooka omu ayitibwa Kiggundu Sam eyankubira essimu nti waliwo desimoolo 2.5, kyokka nze nnali nnoonya 20.
Kiggundu yangumya nti, kuliko ekkubo ate nga ne nnannyini lyo alina ebizibu. Ettaka lino lyali Najjeera 2. Nnakubira kasitoma wange ayitibwa Jeffrey Lukejja naye nze nga mmuyita Jeff, eyajja ne mmutwala awali ettaka eryo n’alisiima.
Kaddu baamumenye evviivi n’omugongo, atambulira ku miggo.
Nakubira ne looya wange Noordine Ssegujja agende mu ofiisi y’ebyettaka anoonyereze ku ttaka lino oba ttuufu. Naye yazuula nti ttuufu, liri mu mannya ga Moses Kisembo. Bino nnabitegeeza kasitoma wange nti ddala ettaka teririna mutawaana.
Naddamu ne nkubira Kiggundu ampe ku ssimu ya nnyini ttaka Moses Kisembo abeera e Mubende.
Ono yankakasa nti ddala ettaka lirye naye ekyapa mukazi we y’akirina era balitunda. Nti ssente bajja kuzigabana naye wadde baayawukana.
Nnamusaba ajje tusisinkane ku ttaka era yajja ne twogera. Yakubira mukyala we essimu n’amugamba nti, ye ali ku Jinja road awali Sports View Hotel e Kireka ye nga w’ayagala tumusange.
Twagenda ne tumusanga nnali ne bba Kisembo, ne kasitoma wange Jeff , ne tukkiriziganya obukadde 40.
Kyokka tetwamaliriza nga waliwo ebiwandiiko ebitaliiwo, ye Jeff yalinayo okuziikwa kwa Katumba owa Jobia Hotel eyafiira mu kabenje.
Yatuleka tuttaanya obuguzi. Twasalawo tudding’ane enkeera. Bwe bwakya looya Noordine yankubira essimu nti ettaka liri wasava nnyo naye alyegombye, ne mmugamba nti ssaagala kwekyusakyusa kubanga nnali nakkiriziganyizza dda ne kasitoma wange Jeff.
BABBULOOKA ABALALA
Mba nkyalinda Jeff ne wabaawo bbulooka wa Noordine eyankubira essimu nti bo ettaka balyagala, liri wasava era nti balifunidde kasitoma alipaazizza ebbeeyi ate ng’asasulirawo.
Yammatiza nti gino mirimu oli mutegeeze nga bwe waliwo alipaazizza. Nategeeza Jeff nti ettaka lituvudde mu ngalo balipaazizza, era ye yang’amba kimu nti waakiri ayongeremu ku ssente kuba yali ayagaddewo.
Babbulooka bano bansanga ndi ne nnyini ttaka Kisembo ku ttaka ne bamumatiza nti basasula obukadde 50. Kisembo yakyuka nze n’anvaako nga takyayagala kumpuliriza nadda ku babbulooka abapya!
Nuwagira yakutuka omugongo
KADDU agamba: Omu ku babbulooka yagamba nti ye kasitoma we yeetegese okusasulirawo, era twatuula mu mmotoka ye ne tugenda ew’omugagga gwe yali afunye ayitibwa Julius Nuwagaba.
Twadda ku lw’e Ntinda awali minisitule y’ensonga z’omunda .Twasanga Nuwagaba ne batandika okwogera. Kisembo ne Nuwagaba batuuka ekiseera nga boogera Lunyankoye ekyamwongera obuvumu okumwesiga.
Ku ofiisi za Nuwagaba twavaawo n’atussa mu mmotoka ye ne tuvuga nga tudda e Ntinda , tuba tugenda nga kasitoma wange Jeff ankubira nnyo amasimu ku byettaka eryo, wabula Nuwagaba n’amboggolera nti, “Ggwe toddamu okukwatira mu mmotoka yange amasimu! Nninamu ssente zange nnyingi, ensi ngimanyi!
NUWAGABA ASASULA
Tuba tugenda mu mmotoka, Kisembo n’abategeeza nti ekyapa mukyala we y’akirina. Omukyala ono nnategeerako lya Peace. Kisembo yasaba Nuwagaba aleme kusasula ng’omukyala alaba kuba ssente zonna yali ayinza okuzimuggyako kubanga yamulekera abaana nga baawukana.
Olwo Nuwagaba yamusuubiza okumwongeramu obukadde 5 ziwere 55, Ssente twazijja wakawe e Ntinda olwo netudda ku mamerito Hotel omukyala wa Kisembo gye twamusanga.
Ono naye baayogera mu Lunyankole ne Nuwagaba era n’amulaga ne kkaadi. Kisembo ne mukyala we baasooka kwegeyaamu bokka era ne badda. Olwo Kisembo n’ategeeza nti omukyala afune obukadde 35 era ne bazimuwa ye n’agenda ate Kisembo ne tugenda naye ewa looya we okukola endagaano n’okufuna ssente ze obukadde15 kw’ogatta n’obukadde obutaano obw’ebbali.
Julius yawandiika endagaano awo ey’amangu.
Naye n’agamba nti agenda wa looya kubakozesa ndagaano. Nze bbulooka wa Kisembo yampaako 1,200,000/- ne nzira ewange.
Bano baateesa enkeera baddeyo ku ttaka ne Kisembo abalage obuyinja, ate n’endagaano ne bazimuwa atwalire mukyala we asseeko omukono. Kisembo bwe yagenda teyaddamu kulabika, enkeera nnakuba ku ssimu ye nga takwata nga njagala kumanya oba byonna abimalirizza. Yaggyako n’essimu ye!

OLUKWE LW’OKUNKWATA
Kisembo teyaddayo kulabika era bbulooka we bwe yankubira nti, Kisembo talabikako n’endagaano tazireetanga ono namuddamu nti nga bwe yatulaga ettaka ate nga liri mu mannya ge mwe mugende mubeere ku ttaka lyammwe.
Kisembo kirabika yali mufere era ne kasitoma wange Jeff yawona okubbibwa. Nuwagaba ye yalugwamu naye nze byonna ssaabimanya. Bbulooka wa Nuwagaba yankubira essimu ng’agamba nti jjangu ondage ettaka eddala waliwo omugagga alyagala.
Nze nengenda kubanga nalina awali ettaka eddala eritundwa era nagenda. Olwamala okulimulaga netukomawo mu mmotoka yange ne mmusuula e Ntinda nze ne nvuga okudda eka.
Mba nzira eka nga ntuuse awo ku Uganda Museum ne bankiika mmotoka Premio , ne muvaamu abasajja babiri ne batandika okunkuba bbatuuni emisana ttuku .
Nnawoggana naye nga bang’amba kimu kubawa obukadde bwabwe 50, nti ettaka lya Kisembo teryaliyo.
Banzigyako amasimu gange gonna ate n’obusente bwe nnali nfunyeeko bwonna baabutwala. Nagezaako okuwoggana nga bankuba naye nga Nuwagana anteeka engalo mu kamwa. Bansika mu mmotoka ne banteeka mu yaabwe olwo ng’enda okulaba nga bbulooka gwe mbadde naye nga mmulambuza ettaka y’avuga Premio eno!
EMPINGU
Baavuga badda Bwaise, bwe twatuuka ku Eden Pub ne baggyayo empingu bbiri ne bansiba ne bankuba nnyo ne nzirika. Bantwala eka ewange ne baggulawo ne baaza buli kintu kyonna nga banoonya ssente zaabwe. Ekyennaku waaliwo ssente za mukyala wange 1,800,000/- nga ziterese za ddwaaliro ne bazitwala.
KU POLIISI E KIRA
Bankuba nnyo ne balaba nga nzirise, sikyasobola kutambula. Bansuula ku poliisi ya Kira divizoni n’emmotoka yange, olwo okugulu kwange bakumenye sirina kye mpulira.
Abapoliisi ya Kira nabo tebanfaako, waliwo n’eyansamba mu bbwa ne mpulira nga nfa! Bansuula mu kaduukulu naye waliwo akulira abasibe (RP) eyannyamba n’ampa ku mazzi ga kaabuyonjo ne nnywa nga nfa enkalamata.
Yateekako abasibe basatu abannyamba okunsitula okutwala emmanju. Kyokka akadukulu kaali kazibu nnyo kubanga kaliimu abasibe abaakwatibwa e Namugongo nga bangi. Era yanyamba ne bampa ekyanya mu kadukulu nsobole okufuna empewo kubanga nali sissa bulungi ono nno yasaba 20,000/-.
Julius Nuwagaba mugguddeko omusango ku poliisi e Kawempe ogw’okunkuba okutuuka okunzita nga si nze nnatwala ssente ze . Guli ku fayiroSD/46/10/06/2015. Ate ne mukyala wange agguddewo omusango gw’okubba ssente guli ku fayiro SD/44/10/06/2015.
Dr. Kalyemenya M.W.M, eyeekebejja amagumba mu poliisi yagambye mu bbaluwa ye nti eggumba ly’okugulu baalikyusa!

Kaddu ng’alaga omugongo gwe baakuba
NUWAGABA
ONO yantegeezezza nti ekyapa ekyamulaga ekya Kisembo kyali kicupuli kuba mu ofiisi y’ebyettaka baakizuula nti kyali kyakyusibwa.
Abo bonna abeenyigira mu bubbi buno ekitongole kya Flying Squad kibanoonya. Ate si nze nnakuba Kaddu naye nnataasa mutaase. Kaddu ne banne babbi nnyo, bali mu kibinja. Nabawa obukadde 50 era njagala bazinzirize.
POLIISI
Omwogezi wa Poliisi mu Uganda, Fred Enanga yagambye: Kikyamu abantu okukozesa ebintu byonna ebyefaanaanyirizaako ebyabaserikale. Muno mulimu yunifoomu, batuuni, ebidduka n’empingu.
Eno y’ensonga lwaki ebintu byonna eby’abaserikale ba Poliisi, byatongozebwa. Kyokka abantu abamu basobola okubifuna mu bumenyi bw’amateeka, era y’ensonga lwaki abaakwata n’okukuba Kaddu tubanoonya tubavunaane.
Make A Comment
Comments (0)