ABABAKA ba Palamenti abava mu Buganda baasisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Bulange e Mmengo eggulo ne bamwanjulira ensonga mukaaga ze baamusabye okubaanukula ku lw’obulungi n’enkulaakulana y’obwakabaka.
Ensonga zino kwabaddeko okumusaba abatuusize okusaba kwabwe eri Kabaka nti balina ennyonta ey’okumusisinkana era Mayiga n’abategeeza nti waakutuusa okusaba kwabwe kuno era alangirire kyonna kyannaabera amuzeemu.
Ssentebe w’ababaka bano, Godfrey Kiwanda Ssuubi nga ye yasomye ekiwandiiko omwatereddwa ensonga zino yagambye nti baagala okutangazibwa ku ndagano eyakolebwa wakati wa Gavumenti eya wakati n’Obwakabaka bwa Buganda n’okubabuulira ebyakaanyizibwako we bituuse.
Mu kwanukula, Katikkiro yagambye “ Nsooka okutangaaza nti ekyakolebwa ndagaano wabula si kutegeeragana butegeeraganyi ng’abasinga bwe bakyogera.
Pulezidenti Museveni yateekako omukono ku lwa Gavumenti ate Kabaka n’ateekako omukono ku lwaffe abantu ba Buganda. Endagaano yakazza ebyapa by’ebintu byaffe 213, n’okutusasulako obuwumbi bubiri ku bbanja ery’obuwumbi obusukka 20 ze tubanja gavumenti mu bupangisa.”
Mayiga yayongedde nnanyonnyola ku nsonga eno nagamba nti Obwakabaka bwamaliriza dda okuwereeza gavumenti byonna ebikwata ku kuliyirirwa okwa Poloti 52 okuli King Fahd, emmotoka ekika kya Rolls Royce ezaali eza Ssekabaka Muteesa II wamu n’ebikwata ku Muteesa House e Bungereza bwatyo n’alaga nti wakyaliwo n’ebirala bingi ebikyabanjibwa n’abasaba okwongera okugatta eddoboozi lyabwe ku nsonga zino.
Eky’okusatu kye bamusabye kwabadde kubategeza wa Buganda weeyimiridde ku nsonga z’ennoongosereza mu Ssemateeka w’eggwanga era essira basaanye kuliteeka ludda wa?
Katikkiro Mayiga eyabaddeko akamwenyumwenyu, yagambye nti ensonga za Buganda kuva ku kakiiko k’Omulamuzi Odoki naka Polof. Ssempeebwa mu 2005, zafunzibwa mu nsonga Ssemasonga taano okuli Buganda efugibwa Kabaka, okugabana obuyinza mu nkola ya Federo, Okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda, okukola obutaweera wamu n’obumu nagamba nti ssemateeka alina okulaba ng’atumbula bino.
Ku kulwanyisa obwavu, ababaka basabye Kamalabyonna ababulire, Buganda we yimiridde nabaddamu nti essira lisinze kuteekebwa ku kuzzaawo obulimi bw’emmwaanyi n’ebitooke era emyaka etaano egijja atunulira okulaba ng’ebitundu ebisukka 80 ku 100 nga bali mu bulimi buno ate olunaku buli muntu okuyingiza waakiri 3,000/- olunaku.
“
Tukusaba Ssebo Katikkiro okuzaawo olukiiko olwali lwatondebwawo wano e Mmengo okukwanaganya awamu n’akabondo kano naddala mu biteesebwa mu Palamenti,” Kiwanda bweyasomye.
Kino Katikkiro yasuubiza okukitunulamu n’olukiiko lwa Baminisita okulaba ng’olukiiko luno luzzibwawo kubanga lwamugaso.
Mu ngeri y’emu ababaka baasabye Katikkiro okuvaayo n’eddoboozi limu okunenya ku bantu abaagala okwesimbawo naye ne bakozesa erinnya lya Kabaka nti y’abatuumye okwesimbawo. (ddala kimenya mateeka ga M7)
Mayiga yazzeemu nti “ Mwenna mukozesa erinnya lya Kabaka mu by’obufuzi byammwe kyokka temusaanye kulikozesa mu ngeri mbi eraga okwawula. Naye amagezi amalala gembawa kwe kulaga abantu bammwe nti ensonga za Buganda temuzitiirira ng’oli ne bwakulima atya empindi ku mabega ng’omulaga nti nawe oli munywevu.”
Katikkiro Mayiga atesezza nabakola ku masiro bateeke ebiragiro bya Ssabasajja mu nkola:Kampala | Jul 04, 2015
KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agenze mu masiro e Kasubi n’alagira abagavunaanyizibwako okuteeka ekiragiro kya Kabaka mu nkola n’agamba nti ekiragiro kya Kabaka tekiddibwaamu era n’abawa ennaku nnya okubeera nga kiteereddwa mu nkola.
KABAKA ATUUZA OLUKIIKO MU MASIRO
Kabaka Mutebi II yatuuza olukiiko mu masiro e Kasubi ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nawa ebiragiro okwali okuddamu okukyusa akasolya k’enju Muzibwazaalampanga oluvannyuma lw’Abakugu abali ku mulimu guno okumutegeeza nti
ebizizi by’akasolya kano akaserekebwa nga bwe kawanikibwa waggulu ennyo n’olwekyo nga kalina okukakanyizibwa era n’awera n’okusamira mu masiro gano.
Mayiga yagambye nti “ Ssaabasajja bye yalagira birina okugobererwa. Wano waliwo abantu bangi saagala kwogera kinnadirira eri oyo atagoberere Ssaabasajja Kabaka kye yayogera.
Kabaka bw’ajja awantu n’agamba nti ensonga etambule bw’eti saagala ate kuddayo kuwulira muntu agamba nti ate waliwo kino na kino.
Nnina bye mbadde mpulira era bwe kitaatereezebwa wiiki eno, mujja kutegeera nti nze Kamalaby’onna alina Ddamula.
MUJJA KUTEGERA NTI NZE NNINA DDAMULA
Ebiragiro Kabaka bye yalagira bwe bitaateekebwa mu nkola muntunuulire ababeera wano mu masiro wiiki eno nneeggwaako nga tebiteereddwa mu nkola, mujja kutegeera nti nze nnina Ddamula.
Ssemasonga ya Buganda esooka egamba okunyweza, okutaasan’okukuuma Nnamulondo, Kabaka bw’ayogera ekintu ate oli addamu atya?” Katikkiro yayongeddeko nti omulimu guno gulina okutambuzibwa mu nnono ne mu bukugu kubanga Ssekabaka Muteesa I ennyumba teyagirekamu byuma ngab’omulembe guno okugiteeka mu ebyuma bubeera bukugu.
Bino Katikkiro yabyogeredde ku mukulu kwe yalambuliza Obuganda omulimu ogukolebwa mu masiro e Kasubi nga
yasookedde mu nju Muzibwazaampalampanga nga mu kweyanjula eri Bassekabaka yagambye nti alina okulumwa olw’omulimu gw’amasiro okutambula akasoobo.
OMUZAANA YAGOBEDDWA MU MASIRO GANO
Mu kuteeka ekiragiro kya Katikkiro, abavunaanyizibwa ku masiro okuli Nnaalinya Beatrice Namikka, Katikkiro w’e Edward
Mulumba n’Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro wa Buganda, Hajj Mohamood Ssekimpi, basazeewo okugoba omuzaana
wa Ssekabaka Walugembe Muteesa I, Nabalyo Munyeenye ku bigambibwa nti yeenyigira mu bintu by’obusamize mu
masiro.
Abantu bazze mu bungi nga Mayiga yaweerekeddwako baminisita Christine Mugerwa Kasule ne Noah Kiyimba ng’ensimbi 672,000/- ze zaasondeddwa okwabadde abakyala okuva e Ssingo abaleese 400,000.
Kikulu nyo okuwuliriza obulungi nokuganyulwa mumagezi agakuweebwa nga ozimba enyumba. Amasiro gano gatekwa okufuna ebbaluwa eyo bugumu bwekizimbe, eyomuliro okugutaasa, etc nga ekibuga Kampala bwekiri mu matteeka ge nsi zonna agataputa ebibuga. KCCA ensonga zino bazimanyi okuyamba mukuzimba kuno.
Make A Comment
Comments (1)
Buganda terina kyefunye mukufugibwa obumbula obwemyaka 30 bukya abantu baffe battibwa wano e Luweero mu Ssaza lye Bulemezi ate era nemu nsi yonna Buganda. Kikyamu okuwa Obwami abamawanga amalala. Oluvanyuma newabawo okubegayirira okufugibwa obulungi nekisa nokwagala kwa Tonda!