Katikkiro Mayiga tightens his grip on royal family civil liberties:
THURSDAY, 30 OCTOBER 2014
With a row simmering between Buganda katikkiro and members of the royal family (Abalangira), Charles Peter Mayiga has moved to restrict princes’ access to the Kabaka.
Addressing the Buganda Lukiiko (Parliament) at Bulange on Monday, Mayiga hinted he could enforce cultural norms that regulate the Kabaka’s interaction with princes.
“Our traditions prohibit a prince from getting close to the Kabaka; we had loosened a bit because of cultures copied from monarchies such as England’s,” Mayiga said.
He announced that any prince visiting the Kabaka’s palace and other cultural sites would have to seek the katikkiro’s approval.
Kasubi tombs
Mayiga’s comments came after a September 19 letter written to him by Lukenge Katoogo, the vice chairperson of the governing council of the royal family, denouncing Mayiga’s leadership.
The letter, titled “You are no longer fit to be called katikkiro of Buganda kingdom”, was copied to Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II and clan heads, among others people.
The major source of Mayiga’s problems with the royal family is the reconstruction works on Kasubi tombs, with Lukenge blaming Mayiga for sidelining the royalty.
“You chased the royal family from the tombs because you don’t want our cultural practices; forgetting the tombs are our ancestry, you continued harassing us and also went ahead and named a [reconstruction] committee,” Lukenge wrote.
The letter also accuses Mayiga of treating himself as an equal to the Kabaka, citing the arches and banana trees that decorate the roads during his fundraising tours as well as moving with his own chair, something royalty considers a preserve of the Kabaka.
Mayiga did not directly respond or refer to most of the contents of the three-page letter, but announced that he would not allow the princes to convene any meetings from the tombs.
“None of the structures at Kasubi was designed for meeting purposes,” Mayiga said, further adding that the known ancestral place for the royal family is ekigango (meeting place) on Balintuma road near Nakulabye.
Disappointed
Mayiga also warned kingdom officials against making statements in the media unless sanctioned by him. To further plug holes in the control of information, Mayiga said, three kingdom employees were to be sacked for leaking secrets to the media.
“We have people that are turning themselves into unofficial spokespersons; they have issued media statements [on the progress of the Kasubi tombs reconstruction] without my approval; this must stop,” Mayiga said.
However, the katikkiro admitted that he was disappointed with the slow progress of the reconstruction works. The works are seven months behind the March 16, 2014 deadline he fixed in July last year as he launched the ettoffaali fundraising drive.
He blamed the slow progress on both cultural and technical complexities.
Abalangira baanukudde Katikkiro nate:
Nov 03, 2014
Bya DICKSON KULUMBA
OLULYO olulangira lutiisizza okuwandiikira Pulezidenti Museveni okulungamizibwa ku magye ge yawa Katikkiro, Charles Peter Mayiga oba galiwo kutangira Balangira kuba mu masiro gye balina obutaka bwabwe. Bongede okuwabula abamawulire nti ekigango kikozesebwa nga ofiisi.
Ssabalangira nga anyonyola ennono.
Kino kiddiridde Katikkiro ng’ayita mu mumyuka we Owookubiri, Hajji Mohamood Ssemambo Ssekimpi okuwandiikira Ssaabalangira, Ying Moses Kayima ng’amutegeeza nga bwe watali nkiiko zonna zikkirizibwa mu masiro e Kasubi.
Ebbaluwa eno eyawandiikibwa ku Mmande nga October 27, 2014 yayimiriza n’olukiiko lw’Abalangira olwali lulangibwa ku Leediyo okubaawo nga October 29, 2014 ne lutabaayo nga ku kino Abalangira baategeezezza nti Katikkiro yatadde abaserikale bangi ku masiro e Kasubi nga n’eyabadde agenda ku nsonga endala ng’aziyizibwa!
Omulangira Samuel Bemba ng’ono y’avunaanyizibwa ku nnono n’obuwangwa mu lulyo olulangira era omukwanaganya w’Abalangira ne Mmengo yategeezezza nti “ Katikkiro okugamba nti Abalangira obutaka bwabwe buli ku Kigango, mukyamu era bingi by’atamanyi kubanga Abalangira n’Abambejja obutaka bwabwe busangibwa mu masiro eri Bassekabaka mwe basibuka.”
Ku lwomukaaga lwa wiiki ewedde mu lukiiko lwabwe ku Kigango e Namirembe- Bukesa, baayongedde okwanukula Katikkiro ku bye yayogerera mu Lukiiko lwa Buganda olukulu olwatuula ku Mmande nga October 27, 2014 mwe yagambira nti Abalangira tebalina kusemberera Kabaka ne bagamba nti kirabika Katikkiro afuuse Gavana wa Buganda yonna ng’ayagala buli omu kusooka kuyita wuwe okulaba Kabaka.
Bemba yagambye nti “ ku mulembe guno tewakyali Mulangira ayinza kutuula ku Nnamulondo nga Kabaka waali kubanga buli omu akimanyi ng’ensonga eno Ssekabaka Daudi Chwa II yagirambika bulungi, Abalangira ne Kabaka ne baba nga bali wamu okubugiriza Kabaka kuba kwanywerera ng’alabise eri Obuganda.”
Mayanja Nkangi atanganzizza
Jehoash Mayanja Nkangi eyaliko Katikkiro wa Buganda ku nsonga z’Abalangira zino, yategeezezza nti kirabika Katikkiro Mayiga yabadde ayogerera mu byafaayo eby’eddakyokka teyavuddeyo kugamba nti waliwo Omulangira ayinza okwegeza mu Nnamulondo n’agamba nti ensonga zino zirina okutunulwamu n’obwegendereza.
Nkangi yayongeddeko nti, “ Mu nnono za Buganda, Katikkiro y’avunaanyizibwa ku bantu bonna mu Buganda era ng’ono y’avunaanyizibwa ne ku Balangira ng’Abaganda gwe basaba okubalaga Kabaka waabwe.
Mayanja Nkangi
Bwe wabeerawo obwetaavu, Katikkiro agenda mu Kigango n’asaba Kasujju Lubinga okumulaga Omulangira agenda okufuuka Kabaka.”
Abalangira n’Abambejja bagamba nti obumu ku butakkaanya bwabwe ne Katikkiro kwe kubeera nti tayagala kuwabulwa nga bazze bamuwabula enfunda nnyingi ku nsonga ez’enjawulo kyokka n’abajolonga nti bamuwandiikira emikuku gy’ebbaluwa.
“Twagala nnyo okukwatagana ne Katikkiro naye Ssaabalangira azze awandiikira Katikkiro ku nsonga nnyingi kyokka nga tabeerako ky’akola.
Okugeza twamuwabula ku linnya Masengere lye yatuuma ekizimbe ekiri mu kuzimbibwa mu mbiriizi za Bulange kubanga luno lubeera lukiiko nga tasobola kutuuma kizimbe kyaffe erinnya bweriti naye yagaana,” Bemba ku lwa Ssaabalangira bwe yayongeddeko.
Ensonga y’entuula y’Abalangira mu tenti emu ne Kabaka ku mikolo, Bemba yagambye nti ennono eri bweti:
Ssaabalangira atuula ku mukono gwa kkono ate Katikkiro ku mukono ogwa ddyo kyokka ng’Abalangira n’Abambejja ba Mujaguzo nga bali emabega okubugiriza Kabaka naye kirabika Katikkiro asindiikiriza Ssaabalangira olw’okwagala okulaga nti y’afuga buli kimu.
Omwogezi w’Obwakabaka ayogedde ku nsonga zino
Wabula Omwogezi w’Obwakabaka, Denis Walusimbi Ssengendo yagambye nti ensonga z’Abalangira Katikkiro yazirambika bulungi mu Lukiiko lwa Buganda kyokka n’alaga nti ekikulu mu kino, buli luuyi lulina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwalwo era n’asuubiza nti bajja kwongera okuwuliriza ensonga zonna ezireetebwa Abalangira.
Embiranye etandikira wano;
Katikkiro Mayiga alaze Abalangira we bakoma
Abalangira bangi babano nga batekayo okwemulugunya kwabwe: