BAZUUKULU BA BUGANDA RADIO INTERNET.COM 88.8/89.2

OMUZIRO:NGEYE

 

AKABBIRO

KKUNGUVVU OR

EMMUNYUNGU

 

OMUTAKA

KASUJJA NKALYESIIWA

 

OBUTAKA

BUSUJJU

 

ESSAZA

BUSIRO

 

OMUBALA

Tatuula asuulumba busuuluumbi

 

 

Tewali nsonga eneetulemesa kumaliriza Masiro - Katikkiro:
Kakati 21st November, 2021 nga ne Ssabasajja naye agenyigiddemu okugazimba. Wangaal ayi Ssabasajja wa Buganda.
 
Posted 2nd February, 2015
 
By Dickson Kulumba
 
KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti okusoomoozebwa kwayolekedde kwe kutaasa Bassekabaka abagalamidde mu Masiro e Kasubi omusana mu kiseera kino ogubookya ate n’okuteeka ekifo kino ku mutindo gw’ensi yonna.

Yazzeemu okuwera ng’Amasiro gano bwe galina okuggwa mu mbeera yonna n’agamba nti, “Nziramu okuwera nti tewali nsonga egenda kutulemesa kumaliriza mulimu guno. Enkuba ketonye, kibuyaga kaakunte, omusana ka gwake, tulina okumaliriza amasiro.”

Bino Katikkiro yabyogedde bwe yabadde alambuza Obuganda omulimu ogukolebwa ku Masiro e Kasubi eggulo ku Ssande n’asiima bonna abali ku mulimu era n’agamba nti omulimu guno gulina okutambuzibwa okusinziira mu mitendera.

Ssentebe w’olukiiko oluvunaanyizibwa ku kuzzaawo Amasiro, Al- Haji Kaddu Kiberu yategeezezza ng’okutusibwa kwa langi ebadde emaze ebbanga eddene ng’erindirirwa bwe kiguddewo essula empya mu kuzzaawo Amasiro gano.

 

Kaddu yagambye nti “ Essa kwe tutuuse, omulimu guno gusigadde mu mikono gy’abantu babiri ate bonna nga bataka; Kasujja ne Muteesasira era mubadde mugamba nti tubadde tutambudde mpola naye nange ngenda kubakanda ebyetaagisa ebirala okuli essubi, emmuli, amavuvume n’ebirala.

Omutaka Muteesasira Tendo Keeya yagambye nti ttiimu ye ey’Abagirinya yamaze dda okugitendeka era yeetegese okutandika omulimu gw’okulasa akasolya k’enju Muzibu Azala Mpanga ate n’oluvannyuma akwase Wabulakayole ( Omusige okuva ewa Kasujja), omulimu gw’okusereka.

“ Omulimu oguddako muzito era muzibu. Mu mbeera eno gugenda kutambula mpola kubanga eby’obuwangwa tebikubibwamu mavuunya n’olwekyo tulina okugendera mu mitendera,” Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Minisita w’obulambuzi, obuwangwa n’ennono Haji Muhamood Sekimpi bwe yagambye.

Langi ebadde erindiriddwa okuva e Girimani yatuusibwa wiiki ewedde nga kwajjirako omukugu era nga gulondoolwa aba kkampuni ya langi Peacock ng’olunaku lw’eggulo ( Ssande) baalaze abantu abaabadde e Kasubi engeri langi eno eyatereddwaako gy’egenda okutaasaamu Amasiro.

Allan Kibirige ku lwa Peacock yannyonnyodde nti, “ Langi eno eyamba okutaasa omuliro ne gutasanyawo Masiro okumala essaawa bbiri ng’abazinyamwoto bwe bajja. Mu ngeri

y’emu egenda kuyamba okuwangaaza enju eno.

 

Omuwanika w’olukiiko lw’Amasiro, Gaster Lule Ntakke yalangiridde ensimbi 5,019,700/- nga ku zino Pius Mugalaasi n’omutuba gwa Katulami e Kisunku mu ssiga lya Jjumba mu kika ky’enkima gwakulembera yaleeseeko obukadde buna. Ntakke yagambye nti ensimbi zino zigenda kusigala Kasubi okukola ku nsonga ez’enjawulo okuli amasannyalaze n’amazzi agatawaanya abagasulamu.

OMUZIRO:NKIMA

AKABBIRO

KAMUKUUKU

LU.

OMUTAKA

MUGEMA.

OBUTAKA

BBIRA.

ESSAZA

BUSIRO.

OMUBALA:

 Talya nkima

senya enku

twokye ennyama. Mugema bwafa tutekako mulala

OMUZIRO

NKULA.

 

KABBIRO

Obutiko bwa Nakasogolero.

 

OMUTAKA

MUWANGI.

 

OBUTAKA

LWENTUNGA

 

ESSAZA

BUDDU.

 

OMUBALA:

WANKULA SSEJJEMBE LIMU TAKYUKA

 

Obuvunanyizibwa ku kivundu ekiri e Muyenga:
Kampala, Uganda.
 
Posted 22 March,  2015
 
By Kizito Musoke
 
Amazzi g’omwala
(omugga) gw’e Nakivubo mu bitundu by’e Bukasa, mu kiseera kino maddugavu bwe zzigizzigi. 
 

MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi, Flavia Munaaba Nabugere, agenze buku¬birire e Muyenga awali ekivundu ekisaanikidde ekitundu n’atuula n’abakulembeze b’ekitundu ne bayisa amateeka amakakali aga¬naayamba okunogera ekizibu kino eddagala.

Olukiiko luno olwatudde ku Muyenga Community Hall, ku Lwokuna lwetabiddwaamu n’abakungu okuva mu bitongole nga KCCA, National Water n’ekya NEMA, ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’ensi.

Olukiiko lwakubiriziddwa, Yasin Omar, ssentebe wa LC 1, owa Muyenga Hill. Minisita yennyamidde olw’ebitongole bya gavu¬menti eby’enjawulo okuba nga biremeddwa okukolera awamu okulwanyisa abantu abazimba mu ntobazzi.

Yanenyezza KCCA okuwa abantu pulaani z’okuzimba mu ntobazzi. Minisitule y’ebyettaka y’efulumya ebyapa ku ttaka ly’entobazzi ate ekitongole kya NEMA kiwa abazimba ebbaluwa ezibakkiriza okuzimba mu nto¬bazzi kuno gattako ekitongole ky’amazzi ekya National Water, ekitafuddeeyo ku kukuuma ettaka eririna okulekebwayo nga tonanatuuka ku mazzi.

Abakulembeze ba LC okuva mu bitundu by’e Bugoloobi ne Bukasa ebisinze okukosebwa baategee¬zezza minisita nti wadde bulijjo embeera ebadde mbi, mu kiseera kino olw’okuba ng’omusana gwase nnyo, beesanze ng’amazzi tegakyasobola kutambuza bikyafu ebitambulira mu mwala ekivundu ne kyeyongera.

Ssentebe Yasin yagambye nti, baasazeewo okutandika kaweefube w’okuggya abantu mu ntobazzi gavumenti enaatandikira awo. Kaweefube waabwe ono baamutuumye ‘Bukasa - Bu¬goloobi Wetland Relocation.’

AMATEEKA GE BAAYISIZZA

1 Bannannyini mayumba agali mu ntobazzi bagenda kutandika okuwa omutemwa buli mwezi era ssente ze banaasonda, gavumenti kw’egenda okwongereza okugulira abatuuze bano ekifo ekirala gye banaasengukira.

2 Abakulembeze bagenda kukola ebikwekweto nju ku nju , nga bafuuza buli mutuuze alage kaabuyonjo ye. Abanaasangibwa nga tebalina, bagenda kuweebwa ebibonerezo omuli n’okugobwa ku kyalo.

3 Abalimira mu lutobazzi, balagiddwa okukuulayo ebirime byabwe mu bwangu.

4 Abazimba amayumba nga tegasussa ffuuti 200 okuva ku nnyanja, bayimirizibwe. Ate abazimba nga tebasussa mmita 100 okuva ku mwala gwa Nakivubo bayimirizibwe.

5 Aba LC tebagenda kuddamu kuteeka mukono ku ndagaano yonna egula mu ntobazzi. Ebyapa by’abo abaagula mu ntobazzi, minisita alabe nga bisazibwamu.

6 Minisita yalagidde ekitongole kya KCCA okuteekawo olusalosalo olwawula ekitundu ekitakkirizibwa kukoleramu kintu kyonna n’abantu kye bakkirizibwa okusengamu.

Minisita yagambye nti amateeka gano singa tegassibwa mu nkola, eggwanga lyolekedde okufuuka eddungu kubanga mu kiseera kino ennyanja evunze, nga yeetaaga okutaasa mu bwangu okusinziira ku mbeera y’omugga gw’e Nakivubo nga bwe guli. Kibi nyo okutabula amazzi amabi namalungi awamu.

KATTIKIRO WA BUGANDA AZEEMU ABALANGIRA

Posted on 28th October, 2014
Katikkiro Mayiga alaze Abalangira we bakoma:
 
Kampala | Oct 28, 2014
       Katikkiro nga ali mu lukiiko  mu USA.

Bya DICKSON KULUMBA NE LILIAN NALUBEGA

 

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga ayatulidde Abalangira nti mu nnono za Buganda tebateekeddwa kusemberera wadde okuliraana Kabaka.

Yayongeddeko nti Abalangira era tebalina na kusemberera kiwu wadde Nnamulondo nga Kabaka tagituddeko kubanga bamanyiddwa nti okuva edda bayinza okukozesa omukisa guno ne bagiwamba.

Bino yabyogeredde mu lukiiko lwa Buganda eggulo, bwe yabadde ayanukula omubaka Ffeffekka Sserubogo eyasoose okutegeeza nga bwawulira nti Ssaabalangiratayisibwa bulungi.

Katikkiro yatangaazizza nti mu bitiibwa nga bwe biddiring’ana, Ssaabalangira ssi yasooka okwanjulwa, ayanjulwa oluvannyuma lw’okwanjula Mugema, ne kuddako Kasujju akuuma Abalangira olwo ye Ssabalangira n’ayanjulirwa mu Bataka abakulu b’ebika.

           

Mu lukiiko luno Katikkiro yalambise ebintu musanvu ebigenda okukolwako okuli okumaliriza ennyanja ya Kabaka, okukunga abantu okulima emmwaanyi, okwongera amaanyi mu kusimba emiti, okukwasanga abasika enkumbi mu nnyimbe, okwongera amaanyi mu nsiisira z’ebyobulamu, okumaliriza Amasiro

g’e Kasubi ne Wamala, okumaliriza Masengere n’okutandika okuddaabiriza amasiro amalala.

Era wajja kubeerawo n’okwongera amaanyi mu by’obulambuzi n’okufuba okulaba nti ebyassibwa mu ndagaano ne Gavumenti bissibwa mu nkola.

Yayogedde ku bisoomooza Obwakabaka omuli; ebyassibwa mu ndagaano wakati wa Kabaka ne Gavumenti okuba nti bingi ku bino tebinnassibwa mu nkola ng’ebyapa ebingi ebitannakomezebwawo, ebbanja eddene erikyabanjibwa, n’ebirala bingi.

Yayogedde ku bika n’agamba nti omukulu w’ekika yenna omupya assibwawo ateekeddwa kumala kuyisibwa wa Katikkiro olwo n’alyoka ayanjulwa ewa

Kabaka era okuggyawo abaddewo kisaana kukolebwa nga bayita mu kkooti ya Kisekwa.

Mu nteekateeka y’okutereeza emirimu e Mmengo, Katikkiro yalangiridde nti bagenda kugoba abakozi basatu olw’okukukusa fayiro za Kabaka.

 

Make A Comment

Characters left: 2000

Comments (1)

Banange Namulondo ya Buganda tenyaggwa bunyaggwa nga omwaana enjala gweluma nga talina sente zigula kindazi. Olwo omwaana nasalawo okunyaga obunyazi ekindazi naye alye aleme okufa enjala. Abalangira, baganda ba Muteesa I nga baggwawo okuttibwa awo e Kyebando, batandika okwelwanako. Muganda wabwe Mbogo yabalabula nti Baganda banange Namulondo etulibwaako omu.
Mpozzi ate oluvanyuma essalambwa lye Wamala bwe lyakisa omukono abatabani, Mwanga, Kiweewa, ne Kalema nezidda okunywa nga no ne ba Kattikiro bezingiddemu okukamala.
89.2