Now it is seven years for the Katikkiro of Buganda:
By World Media
11 May, 2020
The Katikirro of Buganda, Charles Peter Mayiga had a press conference to mark his 7th year as the Prime Minister of Buganda. On the same event, he told the press about a book that he was soon to launch and unveiled some of the achievements of his seventh year.
Yet, behind the press conference was a coded message. It was the Katikirro’s farewell speech. We can now reliably confirm that as soon as the Lockdown is fully lifted, the Kabaka will unveil a new Katikirro.
According to our sources, the Katikirro had planned to use the press conference to prempt the news of his replacement. “He had not planned to mark his 7th anniversary. But he felt it best to set the record straight on his achievements before his replacement is announced. He has not had it easy. There have been many unfriendly forces,” Mugwanya tells us.
Mugwanya continues; “one of the things the Katikirro did was to streamline processes. He put in place things such as approval matrix. He formalized the procurement process at the Kingdom. By doing this, he earned himself many enemies. Take an example of the Majestic brands, it meant that to work with the Kingdom, you had specific targets and deliverables. This did not go well with many people. Many were selling off land in the Kingdom without following process, Katikirro made it practically impossible for all this to continue.”
As such, Katikirro told the press that although the journey had not been easy, there were some things to celebrate. He talked of Masengere for example. But he could not explain the flattening of Ngule as the Kingdom beer brand.
But his body language was revealing. It revealed a hurting man, hurting, angered, betrayed and feeling like his reign had been nipped short in the bud. He took swipes at some of his public enemies, Tamale Mirundi and Frank Gashumba.
He described Mirundi as a drunkard and Gashumba as a conman. Only a man on his way out could afford to go bareknuckle. We can confirm that Mayiga has begun delagating most of his duties as he prepares to handover. “He tried to ask for an extension. But the Kabaka thinks it is time for a fresh pair of gloves. His replacement is equally young though less charming. Kabaka thinks after seven years, there is not so much someone can turn around. Katikirro will be remembered for etoffali and kyapa mu ngalo,” Mugwanya opines.
The Central Government will have Katikirro to thank for a fonder relationship between Buganda and the NRM government. It is these ties that he fought hard to mend. A part of him realized that he could win more through friendship than having rifts. Yet never before had many people dared to attack the institution of Buganda than in his time. “Remember when Sheikh Muzaata took him on. Remember when many poor Baganda defied the kyapa mu Ngalo. At some point Mayiga’s problem was shooting beyond his reach. He had to temper his ambitions. He tried to catch more than he could handle. It is this humility that was lacking. He saw himself as Mr. Superman, Iron Man. He thought past Katikirros were docile. He did not bother to learn from them but little did he know that Buganda was not built in one day. We cannot say that he failed to try, let us say he tried and failed.”
It will be the end of a reign for a man who came in seven years ago. The youth in Buganda will miss him. But eventually even the best of dancers exits. To some, Mayiga had become as big as the institution he represented. That has a way of getting into people’s heads. It was his undoing. Over-ambition flared with over confidence.
Bya DICKSON KULUMBA NE STEVEN MUSOKE
KATIKKIRO Charles Peter Mayiga akunze Obuganda obutawuliriza balumba nteekateeka ya kusonda ssente z’Ettoffaali n’ategeeza nti: Abo tebayinza kunziggya ku mulamwa era nkeera Kawempe.
Mayiga ng’ali mu Lukiiko lw’e Mengo olwatudde eggulo mu Bulange yagambye nti: Abaagala okuwa ettoffaali weebali, abalitikkula nabo weebali n’emirimu gye lirina okukola nagyo gikyali mingi!
Bino bijjidde mu kiseera nga waliwo olutalo wakati wa Sheikh Nuuhu Muzaata eyavumiridde ettoffaali ne Bobi Wine eyamuwadde nsalessale wa Mmande (eggulo) okumenyawo ebigambo ebyo era bw’atakikola amwanukule mu ngeri entuufu emugwanidde.
Mayiga yagambye nti abavumirira ettoffaali bagezaako kulemesa kaweefube wa kuzza Buganda ku ntikko.
Yagambye nti abantu ssente bazisonda kyeyagalire n’agattako nti: Ggwe ssebo okukung’aanya obukadde bubiri n’ekitundu eza ddoola okuyita kyangu! Obukadde bubiri obwa ddoola ‘it’s not a joke’. Tugenda kugenda mu maaso n’okusonda ettofaali era enkya (olwaleero) nkeera Kawempe.
Olukiiko lwamukubidde emizira ng’abali waggulu ku ‘kabanyi’ (omwaliilo ogwa waggulu awatuula abantu baabulijjo) bwe baanukula nti “Bagambeko” ate abalala nga boogera linnya “Muzaata”.
Katikkiro okwogera bino yabadde ayanukula ebigambo by’omukiise w’Olukiiko luno Hussein Kato Galiwango (akiikirira abantu ba Kabaka ababeera e Mbale) eyabadde alaze okutya olw’amaloboozi agakolokota ettoffaali n’agabuuza nti “Linaggwa ddi?”
Katikkiro yagambye nti enteekateeka y’ettoffaali eyamba Buganda okukola emirimu egy’enkulaakulana mu ngeri ey’omwoyo gwa Buganda ogutafa.
Yawagiddwa abakiise abaagambye nti abaagala okulaba obukulu bw’enteekateeka y’ettoffaali bagende balambule Amasiro ne ku lwa April 13, bagende mu Bulange nga Katikkiro akwasa Kabaka ekizimbe Masengere balabe enkyukakyuka ezze mu Buganda.
Katikkiro yagambye nti enteekateeka y’okusonda ettoffaali ey’omwaka guno gwonna yawedde okutuukira ddala mu December 2015.
MAYINJA YEEGASSE KU BOBI WINE OKULABULA MUZAATA
Omuyimbi Ronald Mayinja naye yeegasse ku Bobi Wine okugamba Muzaata amenyewo bye yayogedde n’okwetondera Buganda olw’okuvvoola abasonda ez’ettofaali n’abalikung’aanya.
Mayinja yagambye nti kino Muzaata bw’atakikola mangu, agenda kumukubamu oluyimba olumuvumirira.
Mayinja yategeezezza Bukedde eggulo nti Buganda ebadde mu maziga okumala ebbanga ate nti kyasukka Amasiro bwe gaakwata omuliro nti ate mu kiseera ng’etandise okukulaakulanyizibwa bwe wavaayo omukulembeze agezaako okukotoggera, aba alina kulwanyisibwa na maanyi.
Mayinja yagambye nti ekyasinze okumunyiiza y’engeri Muzaata gy’avvoola amasinzizo n’agayita Ebizikitizikiti, n’Ebikanisakanisa ebifaanana leeba z’embwa we zizaalira!
MUZAATA AYONGEDDE OKUNNYONNYOLA
Kyokka Muzaata yategeezezza Bukedde nti obubaka bwe yabuwa okukubiriza abantu okukola emirimu gya Katonda baleme kusoosoowaza za ku nsi zokka.
Yatangaazizza nti obubaka buno yabuwa emyezi nga mukaaga emabega ng’ali Butambala ne yeewuunya ebigendererwa by’abaatandise okusaasaanya obutambi kwe yaweera obubaka obwo nga bataddeko ebigambo ebikuma omuliro mu bantu.
Eggulo Bobi Wine yategeezezza nti akomyewo okuva e Dubai ‘zaabike emipiira’ ne Muzaata!
OBUGANDA BWANDIBA MU SSENGAVUDDEMU NGAZZEMU WANO E BUGANDA:
Buganda Kingdom Attorney General, Apollo Makubuya in the 61st Kabaka Birthday
Cycling race competition at Bulange, April 9 2016.
Ssabasajja Kabaka Mutebi,
Mulubiri e Mmengo,
Kampala Kyadondo.
Gusinze Ai Ssabasajja,
Ensonga: Obuganda bwandiba mu Ssengavuddemu
Ssabasajja Kabaka gye buvuddeko twamuloopera engeri abakungu mu Bulange e Mmengo gye balumba Ennono ya Buganda bwe baazinduukiriza Omulangira Katebe ne bamukuba emiggo wamu n’ab’omunjuuye. Ensonga enkulu bw’etyo elimu n’amawano, teyatwalibwa ng’ekikulu era tekyayogerwako, n’Omulangira Muwenda Mutebi bwe baalya ne Katebe Obuganda teyafaayo. Ekyo kitwoleka nti oba oli awo, twaloopera muganzi mu nzikiza.
Tuzze tusonga ku bikolobero ba katikkiro bye bakoze era bye bakyakola Obuganda, nga bajooga n’okutyoboola Obuwangwa n’Ennono yaffe Abaganda. Ssabasajja twamuloopera kaweefube abalabe ba Buganda gwe baliko okusangulawo Obwakabaka bwa Buganda nga bayita mu kukyusakyusa Obuwangwa n’Obulombolombo bwaffe. Twalambulula enkola zaabwe nga tusonga ne ku bantu ba kaggwensonyi abali mu Bulange, abeeyita Abaganda nti era bafiira ku bya Buganda naye nga mu mazima batukuusa. Buganda bali mu kugilya bagitunda okugimalawo.
Abantu abo, we twogelera bino, bakyaliyo mu Bulange bagenda mu maaso tewali abagambako. Buli kikolobero Abaganda kye babakwatiramu, beesingisa Kabaka Muwenda Mutebi nti y’abeera abatumye okukikola. Eky’ennaku, Kabaka Muwenda Mutebi tavaayo ku bakangavvula ne bwe tumutegeeza, wabula tulaba ayongera kubaweelera okugenda mu maaso. Bwe wabaawo Omuganda avaayo okwesimba mu mukolobezi yenna okumukangavvula nga yeesingisizza Nnamulondo, Kabaka Muwenda Mutebi avaayo bukuukuubira okutaasa basajjabe.
Eky’okulabirako kili mu Masiro e Kasubi. Katikkiro Mayiga yagawamba ng’ayogera lwatu nti ye, omwana wa Kabaka omukulu, Kabaka Muwenda Mutebi amuwadde Amasiro okugazimba nti era tayagalayo bya Buwangwa na Nnono ya Lulyo Olulangira kubanga bimulemesa okutuukiriza ebigendelerwa bye. Eyo Mayiga amazeeyo emyaka nga tewali kanyego okuva ewa Kabaka wadde ng’Abaganda bamulaajanidde nyo okubataasa ku Katikkirowe. Abaganda bwe balabye Kabaka tafaayo, ne basinziira okwelwanako beetaaseeko katikkiro omukolobezi. Kabaka Muwenda Mutebi yalaba guli gutyo, olwo n’avaamu eddoboozi ng’agoba Katikkirowe Mayiga mu Masiro n’abalogo Nnamikka ne bba Mulumba abaliyo. Era Kabaka n’alangilira nti Amasiro e Kasubi Nnabulagala agaggaddewo okutuusa nga gawedde okuzimba.
Abaalowooza nti Kabaka yali avuddeyo okutaasa Obuganda ku Katikkirowe Mayiga, ekya Kabaka omulamu okuggala Amasiro ga Ssekabaka kyatuleetera enkenyera. Tuludde nga tusomesa nti Kabaka omulamu talina buyinza wadde akamu mu Masiro g’abafu, alinayo buvunaanyizibwa ng’Omulangira. Bwe twakyetegereza, twakizuula nti tekwaali kugolola nsozi, wabula kwali kutaasa musajjawe Ssabalabbayi Mayiga obusungu bw’Abaganda abaali baswakidde olwa kaggwensonyi oyo okubanyaga ng’abakana omusimbi gw’ettaffaali n’emitwalo enkaaga mbu ez’obusenze ku ttaka lya Kabaka. Kyokka n’akozesa ensimbi zaabwe z’abakamuddemu okujooga n’okutyoboola Obuwangwa n’Ennono yaabwe.
Twawulirako nti ne bajjajjaffe Abataka abakulu b’Ebika nabo beegaganula ne balagira Kabaka okugoba Katikkiro Mayiga omulabbayi ku bwa Katikkiro. Ekyo kituwa essuubi nti bajjajjaffe baweddemu empewo ne bategeera obukulu n’obuyinza bwabwe ku Kabaka ne mu Bwakabaka. Naye tukimanyi bulungi nti tewali Mutaka, ku baliwo mukaco kano, asobola kwogera kintu kyonna Kabaka Muwenda Mutebi ky’atayagala ekimunyiiza oba kyatamugambye. Awo tukyalinawo okwebuuza nti, ‘ddala ani yawadde Abataka amaanyi n’obuvumu okulagira Kabaka gwe baludde nga beegayilira okusisinkana, nga buli lwe bamulabako ku mikolo bayaayaana buyaayaanyi?’ Awo tulabawo akakodyo.
Kimanyiddwa nti Obwakatikkiro buzze butambulira mu mikono gy’abalabe ba Buganda bokka okuva lwe bwawambibwa Apolo Kaggwa Gulemye, era tekibangawo ne bakkiriza atali omu ku bbo okubulya. Omuganda omutuufu, atali wa kinywi, okubulya asanga obuzibu obutalabwangako. Twalaba ekyaliwo nga Katikkiro Muliika alidde. Omwaka ogumu Muliika gwe yamala ku Bwakatikkiro yakyuusa entegeka z’abalabe ba Buganda ku Bwakatikkiro, era yagenda okubuvaako nga butandise okudda ku buwangwa obutuufu. Walusimbi bwe yajja, enkola Muliika gye yalekawo yamulema okukyusa, era yabuvaako ng’akukkuluma.
Ekyaleeta Mayiga kwali kukola ebyalema Walusimbi. Ekyo Mayiga yakyogelerawo nga tannaba na kukwasibwa Ddamula nti, ‘nzize okumaliriza ebilemye Walusimbi.’ Kye yasookerako kwe kuwamba Obwakatikkiro mu lwatu kubanga ekyo Walusimbi kyali kyamulema. Waaliwo obubonero obwakulembera okujja kwa Mayiga, nga bukolebwa mu bugenderevu, okutegeka Abaganda bakkirize ebikolobero ebijja baleme okubyogerako olw’okuba kilabika Nnamulondo y’esiimye, nti era omuntu oyo muganzi nnyo eri Kabaka. Obubonero bwe bumu butandise okulabika nga bukulembera okujja kwa Katikkiro Apolo Makubuya. Olwa leero obuganzi bwa Makubuya eri Nnamulondo buyimbilirwa buli wamu, ne we kiteetaagisa. Ako kabonero ka nkukunala nti Makubuya ye Katikkiro addako.
Apolo Makubuya abadde nnyo wakati mu buli muvuyo ogukoleddwa ku Bwakabaka bwa Buganda n’Abaganda, naye nga mwegendereza obutaggyaayo bwanga butereevu. Kale abadde teyeelaga ng’ali mabega wa ntimbe. Oyo ye Makubuya omuganzi eri Kabaka.
Wano jjo ly’abalamu, Abalangira baakwata ekyapa nga Makubuya ne Mayiga babbye ne batunda ettaka ly’embuga ya Nnalongo Mawuuno. Wabula beewolereza nti Kabaka Muwenda Mutebi ye yabatuma. Mu kifo kya Kabaka okuvaayo n’agoba abakulu abo olw’okumuwemula, Kabaka Muwenda Mutebi yakyuukira Balangira, okukkakkana nga Ssabalangira Kayima Moses amugobye. Era eyo ye yali entandikwa y’omuvuyo gw’okuleeta ensowole okuva mu kika kye Ngabi (Abalangira abapangilire) okufuga Olulyo Olulangira, nakaakano ogukyagenda mu maaso.
Ani yali akilabye? Enaku zino buli kika e Buganda kilangira. Emmamba ziri ssatu naye zonna zilina Abalangira abenkana n’abaana b’eŋoma, Effumbe nalyo lirina Abalangira ab’enkana n’abaana b’eŋoma, Enkima, Eŋonge, n’ebirala bingi. Kale enkyukakyuka zilaga nti nabyo luliba lumu ne bijja ne bifuga Olulyo Olulangira olw’abaana b’eŋoma omuva Kabaka wa Buganda.
Ebyo byonna Katikkiro Omugole, Apolo Makubuya abilinamu omukono wamu ne Amb. Matovu, Mayiga, Musanje Godfrey n’abalala bangi abakyali mu lutimbe.
Omugole Apolo Makubuya yali ku mwanjo nyo wakati mu kuleetebwa kw’amawano g’ensonga z’omwana matankane “Omulangira” Ssemakookiro Richard. Kale tetuyinza kuwubisibwa ku buwufubwe mu bikolobero by’akoze Buganda. Era kigambibwa nti Apolo Makubuya amanyi bulungi obuzaale bw’omwana Ssemakookiro nga ne bazadde b’omwana abatuufu, taata ne maama (abaddala) abamanyi bulungi nyo, nga ffe bwe tubamanyi.
Abaganda baludde nga bakisongako nti Apolo Makubuya ow’Effumbe muzzukulu w’Omutaka Walusimbi e Bakka, alina endagaano mu kyama ey’okuba Katikkiro alondoole okutuusa ng’omwana Ssemakookiro Richard akuze, si na kindi ng’alidde Obuganda (afuuse Kabaka).
Ekyo nakyo tukirinze okubaawo tukirabeko nga Katikkiro Apolo Makbuya alidde. Kw’olwo tulivaayo ne tuggyayo buli mazima agali mu kyama ekyetoolodde omwana “Omulangira” Ssemakookiro Richard. Tukwagaliza obwakatikkiro obulungi sebo Makubuya Apolo ow’Effumbe.
Tusaba Ssabasajja Kabaka atwale okulabula ku nti kwa nsonga. Waliwo ebilango ebiyita ku zilaadiyo ne mu mpapula z’amawulire nti, “Obuganda buli mu kutegeka Nnaggalabi!?’
Mu buwangwa bwa Buganda, Kabaka bw’akolebwako emikolo gy’e Nnaggalabi taddayo ku linnyayo kigere kye obulamu bwe bwonna. Mu Buwangwa bwa Buganda, buli Nnaggalabi lw’ateekebwa teekebwa waba waliwo Kabaka alidde oba anaalya Obuganda. Kaakano bwetulaba nga Nnaggalabi ategekebwa, tumanya nti eliyo emikolo gya Ssemanobe ku Kabaka alidde oba anaalya.
N’olw’ensonga eyo, enteekateeka (z’okutemula Kabaka asikizibwe omwana) ezaaliwo nga Ssemakookiro Richard aleetebwa, zitandise okuddamu okulabikako. Olaba ne Nnaggalabi ateekebwa teekebwa!!! Tukiraba nti olukwe luno lwe luleeta Makubuya ku bwa Katikkiro kubanga amanyi bulungi amayitire ga Ssemakookiro Richard.
Wangaala ai Ssabasajja Kabaka
Ewangaale Nnyaffe Buganda enunulwe ku babbi b’ettaka lyaffe.
Nze owuwo Jjunju Kamulali,
Ssentebe w’Olukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda.
Make A Comment
Comments (4)