BAZUUKULU BA BUGANDA RADIO INTERNET.COM 88.8/89.2

Abavubuka mwenyigire mu bulimi - Kabaka awadde amagezi:

 

8th December, 2014

 

By Dickson Kulumba ne Paddy Bukenya

 

Kabaka ng’awuubira ku bantu be ku mbuga y’eggombolola y’e Buwama mu ssaza ly’e Mawokota e Mpigi ku Lwomukaaga ku mikolo gy’Abavubuka mu Buganda.

 

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abavubuka okwongera okwegatta 

beenyigire mu bulimi nga balima ebirime eby’ettunzi okusobola okwekulaakulanya.

Omutanda ng’ali ku mikolo gy’abavubuka mu Buganda ku mbuga y’eggombolola y’e Buwama mu ssaza lya Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi ku Lwomukaaga, yawadde abavubuka amagezi okukozesa ebifo ku masaza ne ku magombolola okukolerako emirimu egy’enjawulo egy’enkulaakulana

n’asiima abatandiseewo emirimu ne bayambako n’abalala okwebeezaawo.

 

 

Ente Omubaka Kenneth Kiyingi Bbosa (Mawokota South) gye yatonedde 

Ssaabasajja ku Lwomukaaga. 

 

Kabaka alagidde abavubuka okwekebeza Kabaka yakubirizza abavubuka okwekuuma:

 

“Omwaka guno tujjukiziddwa ensonga y’ebyobulamu. Abavubuka tusaanye okwekuuma nga tuli balamu, okwekebeza buli mwaka kubanga si kirungi okugenda mu ddwaaliro nga tumaze okugonda ate omuvubuka alina okulya obulungi.”

 

Katikkiro Charles Peter Mayiga yakunze abavubuka okukozesa emikisa Kabaka gy’abatee

reddewo; mu by’obulimi beekwate BUCADEF n’okuyingira Ssuubiryo Zambogo SACCO.

 

Omulamwa gwabadde; Omuvubuka omulamu ate nga mukozi ye nnamuziga w’enku

laakulana mu Buganda, era wano Minisita w’abavubuka e Mmengo, Henry Ssekabembe, we yategeerezza nga bammemba ba Ssuubiryo Zambogo SACCO bwe batuuse ku 1,500 nga kati balinawo n’obukadde 285.

 

Abamu ku Baamasaza ku mukolo gw’Abavubuka mu Buganda e Mawokota ku Lwomukaaga.

 

Omukolo gwetabyeko; ssentebe w’abavubuka mu Buganda, Richard Kabanda, Kayima David Ssekyeru, Katikkiro eyawummula Dan Mulika, sipiika wa Buganda Nelson Kawalya n’omumyuka we Ahmed Lwasa, Minisita Amelia Kyambadde, Omubaka Kenneth Kiyingi Bbosa (Mawokota South) ssaako baminisita b’e Mmengo, abakulu b’ebika n’Abaamasaza.

Abayimbi; Mathias Walukagga ne Fred Ssebbale be baasanyusiza abantu ba Kabaka.

The first bank in The Ganda Kingdom:

By Henry Lubega
 

Posted  Sunday,1 st March,  2015 

  

Before 1906, there was no banking institution in Uganda until November of the same year when the national Bank of India opened its first branch in Entebbe, and four years later it opened the first bank in Kampala, although it was later taken up to become Grindlys Bank.

The National Bank of India was followed by Standard Bank of South Africa Limited when on September 19, 1912, it opened its first branch in Kampala. And a few years later it opened another branch in Jinja.

Barclays

Barclays followed in 1927 when it opened two branches in Kampala and Jinja. In 1954 three more banks; Bank of Baroda, Bank of India and The Nedelandsche Handel-Maatschappij M.V (Netherlands Trading Society) opened in Uganda.

According to Saben’s commercial directory and handbook of Uganda, as early as 1949 the banking system had been established in Uganda but did not control much of the financial liquidity that was in circulation across the board in the country.

“Much of the money was controlled in the bazaars and other channels which were predominantly controlled by people of the Asian origin. These people played a key role in the buying of cotton.

However, areas where banks were non-existent, merchants in those areas played the part of the banks. This was through taking drafts in exchange for cash or physical items in exchange for hard cash,” Saben wrote.

By 1950, it was realised that to bring more Africans into the business there was need to provide them with credit. Unfortunately, the commercial banks at the time would not extend credit to Africans because of the nature of their securities.

Under Ordinance number 20 of 1950 the Uganda Credit and Saving Bank was created purposely to extend credit facilities to Africans with the aim of furthering agriculture, commercial building and co-operative society purposes.

On October 2, 1950, the bank was opened and by 1961 it had spread to places like Arua, Fort Portal, Jinja, Soroti, Gulu, Masaka and Mbale, taking only African deposits.

Building Society

Two years later, the first Building Society in Uganda was opened as a subsidiary of a Kenyan owned firm Savings and Loans Society Limited. 

More financial institutions continued to open up in Uganda with Lombard Bank from Kenya, in partnership with Uganda Development Corporation, opening the Lombank Uganda Limited in 1958. It was this bank which first introduced the hire purchase system of shopping in Uganda.

It was not until 1966 that through an act of Parliament that Bank of Uganda was created. Prior to this, issues to do with money were handled by the East African currency board which had its head offices in Kenya.

MAY NGA 24 BULI MWAKA OMUGANDA ALINA OKUJJUKIRA OLUTALO LW'OBOTE OKUWAMBA OBUGANDA. OBWAKABAKA BWA BUGANDA BWAVAWO. ENSI REPUBLIC NEYIYIZIBWA.
 
Mmengo erabudde abawandiisa abantu abali ku Ttaka ly’Obwa
Kabaka:
Posted 5th May, 2015
 
By  Bukedde reporter, Uganda
 
Kyewalabye (ku ddyo) ng’ayogerera mu musomo.
 

AKULIRA ekitongole ky’ebyettaka mu bwakabaka ekya Buganda Land Board (BLB):

 

Kyewalabye Male, alabudde abaami ba Kabaka abagenda okwenyigira mu kuwandiisa ebibanja by’abasenze ku ttaka ly’Obwakabaka beewale obukumpanya n’emivuyo kuba bayinza okusibwa.

Yagambye nti wadde ng’enteekateeka eno egenderedde kuyamba bantu ba Ssaabasajja kufuna biwandiiko ebituufu mu mateeka ku bibajnja byabwe, wandibaawo bannakigwanyizi abayinza okukozesa omukisa guno okwenoonyeza ebyabwe.

Bino Male, eyabadde n’abakozi ba BLB ne katikkiro w’ebyalo bya Kabaka,  Lubega Mutunzi, yabyogedde   mu kuggalawo omusomo ogwetabiddwaamu Abaamagombolola, Abeemiruka n’Abatongole mu ssaza ly’e Kyaggwe ku mbuga ya Ssekiboobo e Mukono ogwategekeddwa okubabangula ku nkola gye bagenda okugoberera nga basomesa n’okuwandiisa abasenze ku ttaka ly’Obwakabaka. Enteekateeka eno yatandika nga May 4, 2015.

Ssekiboobo Benjamin Kigongo yagambye nti ebibanja ebitalambuddwa si bya kuwandiikibwa olw’okwewala enkaayana. Nb

Ekizibu ky'abaami ba Ssabasajja kyelaga kyoka. Baddidde abobuyinza babiri babateese mu kalo ka Buganda akedda. Ebyawandiikibwa bitugamba ki? Toyinza kuwuliriza bakama bo babiri. Oleka ko omu okumuwulira nowulira omulala. Tugambe ki? Mufumbiro bwemufumbiramu abafumbiro abangi Mmere kiki eyo evayo?

Genda mukalo kafe wano e Buganda. Owe Gombolola atuuka okubuuza ettaka lye kitebe kye werikoma. Bamugamba kimu. LC 1 yaliteekako ba Investor abava e Buyindi. Ate ekubo elyaffe eryedda elyayita wano ku Saza lya Kangawo. Olwo Kangawo abuuza: Bamugamba kimu. Disi yasibawo Sengenge ensonga zino ziri mu National Land Board. Okunsiba Sebo Mwami tekulimu. Tonda bwatakuuma abakuuma bakumira bwerere Jjajja. Kugwa mubunya bwewesimira nga olaba. Kitalo nyo.

 

Bazudde obulyazama

nyi bwe ttaka lya Buganda  mu ofiisi ze Wakiso:

 

By Rogers Kibirige

 

Added 30th September 2016

 

Ying. Sabiiti (owookubiri ku ddyo) ne babaka banne nga baliko bye babuuza omukozi mu minisitule y’ebyetta e Wakiso (ku ddyo).

 

EMIVUYO egiri mu ofiisi ya  minisitule y’ebyettaka esangibwa  e Wakiso ku kitebe kya disitulikiti  giwuniikirizza ababaka.

Ng’oggyeeko okuba ng’abakozi  abamu tebasobola kunnyonnyola  ngeri gye bakolamu emirimu,  bangi mu ofiisi zaabwe bawunyamu  mpunye. Batuuka kikeerezi  ate bwe ziwera 6:00 ez’omu  ttuntu ng’abamu bannyuka.

Bakozesa bboggo eri abatuuze  ate abalala empapula zaabwe  teziwera.  Ono ye kacica muyite cculugu  ababaka ba palamenti abaalambudde  ofiisi za minisitule  y’ebyettaka zino ku Lwokusatu  gwe baasanzeeyo.

Ababaka abaakulembeddwa  ssentebe w’akakiiko akalondola  enkola y’emirimu aka (Physical  infrastructure Committee) Ying.  Denis Sabiiti (Rubanda) baategeezezza  nti kyannaku okulaba  ng’abakozi ba Minisitule ab’e  Wakiso babonyabonya abantu ne  babatambuzanga okubakolera  ku nsonga z’ettaka kyokka bwe  bamala ne babamma ebyapa.

Sabiiti yayongeddeko nti baazudde  nti abakozi ba Minisitule  balina obutakkaanya n’abakola  mu ofiisi y’ebyettaka eya disitulikiti  y’e Wakiso ekireetedde entambuza  y’emirimu okuzingama.

Kwe kusaba minisitule  n’abakulembeze ba disitulikiti  okugonjoola ensonga eno mu  bwangu.

Yayongeddeko nti n’abakozi  abasangibwa mu kifo abantu we  batuukira, engeri gye bakwatamu  bakasitoma n’abagenyi eraga nti  si batendeke kimala era beetaaga  okuddamu okubangulwa mu  bwangu.

Yategeezezza nti byonna bye  baasanze e Wakiso, bagenda  kubikolamu lipooti bagitwale mu  palamenti y’eggwanga ekubaganyizibweko  ebirowoozo.

 Baalabudde nti ssinga minisitule  y’ebyettaka tetereeza bizibu biri  Wakiso, eggyibwewo kuba ebeera  tegasa Bannayuganda.

Ye ssentebe  wa disitulikiti  y’e Wakiso,  Matia Lwanga  Bwanika yategeezezza  nti ebbanga lyonna abadde  yeemulugunya ku ngeri abakozi ba  minisitule gye bakolamu emirimu  nga teri avaayo.

Yasabye nti ababaka bye bazudde  bireme kukoma mu lipooti,  wabula abavunaanyizibwa ku mivuyo  egiri mu minisitule ne ofiisi  y’e Wakiso, bakolweko.

Nb

Abakozi bano batukiriza mulimu gwa Bible ogwayogerwa ko Jjajja Isa Masiya 10/40 AD. E Buganda nakatono kolina nako kalikujjibwako nekaweebwa alina ekingi enyo.

  

EKIKA NJOVU.

 

OMUZIRO:NJOVU

 

AKABBIRO

NVUBU.

 

OMUTAKA

MUKALO

 

OBUTAKA

KAMBUGU

Buliji.

 

ESSAZA

BUSIRO

 

OMUBALA

Esimbye amasanga, Nakate ajja.

 

 

EKIKA MBWA

 

OMUZIRO:MBWA

 

AKABBIRO

Kyuuma kye basiba mu Mbwa.

 

OMUTAKA

MUTASINGWA.

 

OBUTAKA

KIGGWA

 

ESSAZA

BUSUJJU.

 

OMUBALA

Goba Omukazi oleete Embwa.

INTERNET RADIO BAZUUKULU BA BUGANDA

Posted on 23rd July, 2016

BAZUUKULU BA BUGANDA RADIO 88.8/89.5 FM

Make A Comment

Characters left: 2000

Comments (0)

89.2